TOP

Okusereka lwe kutta obulungi bw’ennyumba!

By Musasi wa Bukedde

Added 14th July 2018

KIRUMA omuntu okuzimba ennyumba kyokka olumala okugikomerera ne bakutegeeza nga bwe yakyamye, mbu akasolya bandikawanise ate emigongo tegyateredde n’ebirala.

Waaka 703x422

Ennyumba ennene ng’eno olina okugisereka ng’ogisulise.

Ng’omuntu, omutima gukwennyika kyokka ng’oluusi obuzibu si bubo olwo n’otandika okwejjusa lwaki tewakozesa yinginiya omukugu.

Ennyumba bw’etaserekebwa bulungi kitta obulungi bwayo n’oluusi kiyinza okuviirako ebizibu ebirala ng’okutonnya oba ebisenge okugyamu enjatika.

Engeri akasolya gye kali ak’omugaso ennyo ku nnyumba, bw’otagisereka bulungi kayinza okutuusa obulabe eri abantu ba family.

Ying. Patrick Lubanga agamba nti bw’oba ogula ebikozesebwa, waliwo ebintu by’olina okutunuulira omuli: dizayini y’ennyumba, ekitundu w’ozimbye ennyumba, bbeeyi y’enju n’obuwangaazi bw’enju.

Vincent Bukenya omukugu mu kusereka amayumba agamba nti akasolya okufuuka akalungi waliwo ebintu ebirina okugobererwa.

Ebipimo: Akasolya nga kakolebwa, omuseresi alina okutambulira ku bipimo ebituufu okusinziira ku kika ky’ennyumba.

Ebipimo bino bibeera mu diguli z’ogoberera okwetooloola ennyumba. Bweba Mwamba, olina okugoberera obuwanvu bwebumu ku buli kasolya k’ositula ku nnyumba.

Emiti: Emiti oba embaawo z’okozesezza okusereka zirina okuba nga zeegolodde bulungi ate nga ziva mu miti emikulu. Bw’okozesa emiti egyeweseewese akasolya kakyama ennyumba n’erabika bubi.

Sayizi y’akasolya : Akasolya tekalina kugulumira nnyo era tekalina kubeera nnyo wansi. Bwe kagulumira ennyo ennyumba tebeera na bbaalansi ate n’embuyaga bwejja eyanguwa okukawanulayo.

Ate bwe kabeera wansi ennyo ennyumba terabika bulungi. Ssente za nnanNyini nnyumba : Obusobozi bwa nnannyini nnyumba nabwo bukulu.

Bw’aba alina ssente ntono kimuviirako okukozesa ebintu ebitali bya mutindo n’okukozesa abantu abatalina bumanyirivu olwo ennyumba eyandibadde ennungi n’efundikira ng’eyonoonese.

ENSOBI EZIKOLEBWA MU KUSEREKA

  • Ying. Mudashiru Muganga owa Mudamak Construction Services Limited agamba nti omukomerezi asaana okwegendereza ennyo ng’akuba emisumaali mu nzigi kubanga bwatagikubisa bwegendereza guyitako ne guleeta ekituli mu bbaati ekireetera enju okutonnya.
  • Okukozesa ebintu ebizitowa ennyo okusinga ku nnyumba ky’esobola okuwanirira. Abaseresi abamu bakozesa ebintu ebizitowa ennyo ku kasolya ekiviirako ebisenge by’enyumba okufunamu ennyanfa. Ekyokulabirako ekisenge ekya yinci mukaaga nga tekiriimu kolomu tekisaana kuteekako mategula kubanga gazitowa ate gakozesa emiti mingi nnyo.
  • Obutapima mabaati bulungi. Amabaati bwe gaba gasalibwa wateekwa okubaawo obwegendereza obw’amaanyi n’okukola ebipimo ebituufu. Amabaati bwe gasalibwa obubi, mu kusereka gagenda galekamu ebituli ate ng’ebituli ebyo byetaaga okuzibikira ng’okozesa ebitundutundu by’amabaati, ekireetera akasolya obutalabika bulungi.
  • Obutafa ku mpewo eri mu kifo ennyumba weeri. Abaseresi abamu tebafa ku mpewo y’ekifo nga bakola akasolya. Okugeza ennyumba ezizimbiddwa ku kasozi zandibadde ziteekebwako akasolya ka mwamba akatabeera kawanvu nnyo.
  • Obutakozesa sayizi ya miti ntuufu mu bifo ebituufu: Kino kizibu kya maanyi kubanga olumu kiviirako akasolya okutendewalirwa ne kagwamu.  Okugeza bbuliti ezisookako ng’enju etuuse okuserekabwa zirina okuba nga nnene bulungi. Buliti oba emiti eminene gitambuza obuzito okumalako enyumba yonna, naye bwokozesa egimu nga minene emirala nga mitono obuzito bw’akasolya bwekkatira mu kifo kimu ekiviirako ebisenge okufuna enjatika.
  • Omuntu aseresa amategula yandibadde akozesa akasolya ka diguli 45 okudda waggulu, kubanga amategula geetaaga okusulika obulungi okusobozesa amazzi okukulukutirako obulungi. Amategula gasulikibwa okusinga amabaati kubanga gakola emiwaatwa nga gapangibwa ekigaleetera okulegamya amazzi ne gayita mu miwaatwa gino ennyumba n’etonnya.

ENGERI GY’OLABAMU OMUKOMEREZI OMULUNGI

Ying. Muganga agamba nti omuseresi omulungi wandibadde omulabira ku mirimu gy’akozeeko.

Kikakata ku nnannyini nnyumba okunoonyereza ku museresi nga tannaba kumuwa mulimu.

Osobola okumusaba embalirira (quotation) n’ogitwalako mu bamanyi n’olaba oba bye yabaliridde by’ebyo ddala.

Ssente ze yabaze bwe ziba ennyingi nnyo oba nga ntono okusinziira ku mulimu oyo tabeera mutuufu kuwa mulimu.

Bw’akwata omulimu ateekwa okuba ku sayiti okubayamba obutakola nsobi kubanga y’avunaanyizibwa.

EMISUMAALI

Bukenya agamba nti omuntu yandibadde agula emisumaali okuva mu bakozi abatuufu.

Weewale okugula emisumaali egikolebwa mu sikulaapu kubanga tegibeera migumu engeri gye gikolebwa mu byuma ebikadde ate nga bimala kusaanuusibwa.

Olugukubako ennyondo gukyama bukyami. Olina okukozesa sayizi y’emisumaali entuufu okusinziira ku kifo w’okomerera okusobola okunyweza akasolya kabeere kawangaazi.

Eky’okulabirako bbuliti eya 4*2 bw’oba ogigatta ku ndala okozesa omusumaali gwa yinci 5.

Emisumaali egy’akatiko bw’oba ogikozesa olina okugiteekako akapiira akayitibwa ‘rubber washer’ okuziyiza amazzi obutayita mu kituli omusumaali we guyise.

EMITI

Emiti gy’ogenda okukozesa osaana okugikuumira mu kifo ekikalu nga tonnaba kugikozesa, okulemesa amazzi okugiyingira kubanga gagireetera okuvunda n’okukyama.

Kyandibadde kirungi n’ogigula nga weetegese bulungi ne gitalwawo. Bw’oba ogigula mu kibanda olina okugyetegereza nga tegiwumbye.

Oyinza okugisiiga eddagala eriziyiza ebiwuka okugirya gisobole okuwangaalira ku kasolya okumala ekiseera ekinene.

Wabula abantu abamu bakozesa woyiro avudde mu mmotoka kyokka ono tabeera na birungo byonna. Emiti egikozesebwa girina okuba nga gyegolodde bulungi ate nga mikalu.

OBUSOLYA OBWENJAWULO

Waliwo obusolya obw’enjawulo obuserekebwa okusinziira ku kika ky’ennyumba ne ssente za nnannyini nnyumba.

  • Waliwo akasolya akayiwa erudda n’erudda (pinned roof). Kano katwala amabaati matono ate kaanguwa okusereka kubanga tekeetaaga miti mingi. Kano empewo bw’eba ey’amaanyi kyangu okukatikkulako.
  • Waliwo akasolya aka mwamba nga kano kettaniddwa abantu bangi ensangi zino. Akasolya kano kalabisa bulungi ennyumba ate nga kagumu nnyo tekayuuyizibwa mpewo. Wabula ekizibu kye kalina nti katwala ebikozesebwa bingi omuli emiti, emisumaali n’amabaati okusinga obusolya obulala.
  • Waliwo akaakazibwaako erya kyuyi kimu kubanga kayiwa ludda lumu. Kano ke kasinga okukkekkereza ennyo kubanga kakozesa ebintu bitono nnyo. Ensangi zino kakozesebwa ku bizimbe ebikweka amabaati.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lusuku1 220x290

Endabirira y’olusuku mu biseera...

OLUVANNYUMA lw’okukozesebwa ebbanga eriwerako nga sirina kye nganyuddwaamu nabivaako ne mpangisa ekibanja ne nnima...

Nucafe 220x290

Abalimi b’emmwaanyi babakuutidde...

KAWEEFUBE w’okutumbula okulima emmwaanyi mu ggwanga aba aBi bakwatagangye n’ekibiina ekigatta abalimi b’emmwaanyi...

Crisps4webuse 220x290

Kulisipu ze nsiika mu ndiizi mwe...

Okusoma ebya bizinensi nalina kusiika kulisipu za ndiizi ne nsoboa okusasula fiizi.

Kamunguluze 220x290

Bamuggunze eng'uumi n'awunga

TONY Bellew baamuwumizza ekikonde 'tonziriranga', ne kitakoma ku kumusubya musipi, wabula ne kimuleka ng'awunze....

Suzanmuwonge 220x290

Engeri Susan Muwonge gy’alidde...

Mu mpaka ezaawedde eggulo e Mbale, Super Lady (musomesa), yawangudde Mbale Rally bwe yavugidde essaawa 01:33:38...