TOP

Ebikozesebwa mu nviiri z’abakazi ebimu bya bulabe’

By Musasi wa Bukedde

Added 14th July 2018

OBUVIIRI, wiivu ne kalonda omulala akola ku nviiri z’abaddugavu azuuliddwaamu ebyobulabe ebiyinza okukosa obulamu bw’abakazi.

Mti1nja1mdkxmde2mzyxotk0 703x422

Ebiragalalagala ebiteekebwa mu buviiri buno okubuteeka ku mutindo omutuufu, ssaako n’ebizigo ebimu ebisiigibwa mu nviiri z’abakazi abaddugavu okuzinyiriza bizuuliddwaamu obulabe era abakugu balowooza nti osanga y’emu ku nsonga lwaki endwadde nnyingi ezeegiriisiza mu bakazi abaddugavu bwe zigeraageranyizibwa ku bakazi abeeru.

Bannassaayansi bagamba nti ebiragalalagala bino birina engeri gye bitaataaganyaamu empulizo z’omubiri ne kivaako okuzaala abaana abatannatuuka, okufuna ebizimba mu nnabaana, okugumbawala, kkansa w’amabeere ne kkansa ow’ebika ebirala.

Bagamba nti ebiragalalagala ebiteekebwa mu bizigo ebisiigibwa mu nviiri okuzinyiriza n’ebyo ebiteekebwa mu buviiri abakazi bwe basiba ebiseera ebisinga tebisooka kwekebejjebwa okuzuula oba nga ddala si bya bulabe eri obulamu bw’omuntu.

Gye buvuddeko bannassaayansi beekebezze ebimu ku bintu ebikozesebwa mu nviiri z’abaddugavu ne bazuula nti ebimu ku byo birimu ebirungo ebyawerebwa mu mawanga g’omukago gwa Bulaaya.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

3f74e568a3684a1eac5d6d555644365318 220x290

Magufuli alagidde abaddukanya ekidyeri...

OMUWENDO gw’abantu abaafiiridde mu kidyeri mu nnyanja Nnalubaale gwongedde okulinnya! Pulezidenti wa Tanzania John...

Sevo 220x290

Ab'e Rubirizi basabye Museveni...

ABAKULEMBEZE b’omu disitulikiti y’e Rubiriizi basabye Pulezidenti Museveni okukoma ku bajaasi ba UPDF okukendeeza...

Budgetkasaijaweb 220x290

Bawera kusimbira kkuuli enteekateeka...

ABABAKA ku kakiiko ka palamenti akavunaanyizibwa ku byobulimi bawera kusimbira kkuuli enteekateeka z’okuyisa embalirira...

Kola 220x290

Mukolerere obukadde bwammwe - Minisita...

MINISITA omubeezi ow’ebyenguudo Gen. Edward Katumba Wamala akubirizza abantu okukolerera obukadde bwabwe nga bakyalina...

42312484102150760182472974931861717081653248n 220x290

Bobi Wine eby’okutulugunya abantu...

BOBI Wine ne banne eby’okubatulugunya babitutte mu kibiina ky’amawanga amagatte (UN ), era boongedde okukungaanya...