TOP

Obukooti obuwanvu bunyumira abawala abatonotono

By Benjamin Ssebaggala

Added 28th July 2018

BWE weetegereza abawala naddala abagenda mu bifo ebikyakalirwamu naddala mu budde bw’ekiro, bangi tebakyagwa kwambala ekkooti empanvu ezimanyiddwa nga ‘trench coats’ Omusono guno si mupya kubanga abamanyi eby’ennyambala bagamba nti gwatandikira mu biseera bya ssematalo asooka.

Wattu 703x422

Abawala nga bambadde ekkooti ez’enjawulo.

Zino zaayambalwanga okusinga basajja era zaabanga mpanvu nga zituukira ddala ku bigere. Zino zaayambalwanga abajaasi baleme okukosebwa ennyo obunnyogovu.

Ku mulembe guno ekkooti ez’ekika kino zikomezeddwaawo era nga bakoze ezambalwa abawala n’abakyala.

Zino zikolebwa mu matiiriyo ez’enjawulo omuli ppamba, ‘leather’, ‘poplin’ ne matiiriyo endala. Ekkooti zino ziri mu bipimo eby’enjawulo.

Waliwo ezitungibwa nga zikoma mu bisambi ate endala zituukira ddala ku maviivi.

Bw’oba oyambala omusono guno kirungi ogenderere ekifo ky’ogendamu ssaako embeera y’obudde.

Ekkooti empanvu okutuuka mu maviivi zisinga kunyuma mu budde bw’empewo.

Bw’onoogyambala ku musana ppereketya abakulaba bajja kukwewuunya. Ekirala kirungi n’ogenderera langi gy’ogula.

Okugeza bw’oba waakugyambala mu budde bw’empewo, langi enzirugavu y’esinga obulungi, bw’oba ogenda ku kabaga, osobola okwambala langi emmyuufu ate bw’oba ogenda ku mulimu naddala nga gwa ofiisi, osobola okwambala langi eteri ncamufu nnyo ate nga si nzikivu. Langi endala ezitera okunyuma mwe muli eya maluuni, eya zaabu n’enjeru.

Ekkooti zino zinyumirako engatto empanvu ezibikka ebigere ne kanvaasi naddala mu langi eyaka.

Osobola okuzambalira ku mpale empanvu ng’ekukutte bulungi, sikaati ennyimpi oba ekiteeteeyi ekikoma mu maviivi ate nga kikukwata omubiri.

Victoria Amuge omukugu mu by’emisono yagambye nti ekkooti zino zigula wakati wa 50,000/- ne 100,000/- okusinziira ku kifo w’oguze.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kab1 220x290

Katikkiro asoomoozezza Stanly Ntangali...

Katikkiro asoomoozezza Stanly Ntangali ku lulimi oluganda

Hib2 220x290

Ab'olulyo olulangira bakoze bulungibwansi...

Ab'olulyo olulangira bakoze bulungibwansi

Kab2 220x290

Desabre ayogeeyoge kati tulinze...

Desabre ayogeeyoge kati tulinze kawoowo

Deb2 220x290

Nneekolera ebigimusa okuva mu muddo...

Nneekolera ebigimusa okuva mu muddo ogunneetoolodde

Kat2 220x290

Alunda enkoko ez’ennyama n’amagi...

Alunda enkoko ez’ennyama n’amagi weekwate ekirungo kya ‘INTRACO