Kiba kirungi bw’oba waakugula kaleega bino obyekkaanye; Gula mu kifo ekirina obuleega obungi.
Kino kijja kukuyamba okulonda ku kingi, okusinga okugula awali obutono, kuba kijja kukukugira olw’okuba olonda ku kitono, weesanga otutte akatali kalungi wabula lwakuba nga ke kaliwo. Genda n’ebika by’obuleega by’oyagala.
Okugeza bw’oba oyagala obw’akatimba, obulimu sipongi, obutaliiko bukoba oba ekika ekirala kyonna, genda ng’obiwandiise ku kapapula. Kino bw’otookikole ojja kwesanga ng’oguze ekikusanyusizza ku maaso naye ate nga kye weetaaga tokifunye.
Era oyinza okutuuka awaka ate ne weesanga ng’ekika kye wabadde ogenderedde okugula ate tokiguze kuba ocamuukiridde n’ebyo ebikusanyusizza amaaso.
Manya ekikula ky’omubiri gwo. Okugeza bw’oba wa kifuba kigazi, londa ekika ekinaakugenderako, okusinga okwambala ate obunyumira ab’ebifuba ebitonotono. Bwe kiba kisoboka tambulayo ne kabbulawuzi akatangaala.
Kino kijja kukuyamba okwetunuulira olabe amabeere bwe gafaanana ng’oyambadde akaleega ako, okusinga okukatwala nga teweekakasa oba kanyumidde bulungi amabeere go.
Totwala kaleega waka nga tosoose kukambalamu okukakasa nti kakutuuka bulungi. Wadde omanyi sayizi gy’oyambala, oteekwa okusooka okukambalamu.