TOP

Abavubuka tebakyagwa kukuba kikalu

By Musasi wa Bukedde

Added 11th August 2018

ABAVUBUKA edda eby’okukuba ekikalu naddala mu biseera byabwe eby’eddembe nga baliraba ng’ekibonerezo. Era abamu ne bwe baabanga ku ssomero nga kibooko zibayitako lwa butakuba kikalu.

Kuba 703x422

Abawala nga bakubye ekikalu.

Wabula ennaku zino bw’ogendako mu bifo ebisanyukirwamu weebuuza gye baggye empisa, anti abasinga bbulawuzi n’emijoozi bagikuba ekikalu.

Emabegako, okukuba ekikalu omujoozi naddala ogutaliiko kitogi ng’abakulaba bakussa mu ttuluba ly’abatamanyi bya kwambala.

Wabula ennaku zino abavubuka bakuba ekikalu kyonna ky’abeera ayambadde, si nsonga wansi ne bw’aba ayambadde mu ngeri ya kisaazisaazi.

Brian Ahumuza owa Abryanz Collection ku Garden City yagambye nti si buli ssaati nti ogikuba ekikalu, kubanga mulimu ezitanyuma ng’ogikubye ekikalu.

Yagasseeko nti, essaati z’abasajja ezirina entobo nga ntereevu (straight) tezikubwa kikalu wabula eno bw’esukka mu buwanvu, awo osobola okugikuba okwewala okukulabisa ng’ayambadde ekkanzu.

Yagambye nti ennaku zino omuvubuka asobola okukuba ekikalu ng’ayambadde jjiini, kakhi,oba sweat pants. Bw’oba agenda mu kivvulu oba mu bbaala, osobola okwambalirako jaketi eya jjiini oba eya ‘leather’ wansi n’oyambalirako engatto ez’ekisaazisaazi, ojja kunyuma.

Omuvubuka, obutafaanana ng’abasajja abakuze, essaati osobola n’okugikubako ekikalu mu maaso wokka oba emabega wokka kasita oba ng’ogenda mu kifo kya kucakaliramu.

Ate abawala, bbulawuzi yonna bw’eba ekukwata bulungi era ng’eggyayo ffi ga yo tewali nsonga lwaki togikuba kikalu.

Kuno osobola okwambalirako empale empanvu oba ‘patra’ okusinziira ku kifo gy’olaga. Ennyambala eno enyuma ng’empale gy’oyambaliddeko ya kika kya ‘high waist’.

Waliwo abawala ennaku zino abakuba n’essweeta ekikalu, wabula Ahumuza kino agamba nti kikyamu, kubanga essweeta tekubwa kikalu.

Bw’oba waakukuba kikalu kakasa ng’essaati oba bbulawuzi gy’oyambadde ekukutte bulungi. Bw’okuba ekikalu nga waggulu ky’oyambadde kinene kijja kuzimba ofaanane nga bbaaluuni.

Bw’oba okubye ekikalu, empale kirungi n’ogisibako omusipi okukutuuka obulungi. Wabula weewale okwesiba omukadde.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Leo 220x290

Omusibe atolose ku baserikale abatuuze...

ABATUUZE ku kyalo Kimuli mu ggombolola y’e Maanyi mu disitulikiti y’e Mityana bavudde mu mbeera ne basuulira poliisi...

Sevo1 220x290

Aba NRM mu Buganda batongozza Museveni...

ABAKULEMBEZE ba disitulikiti za Buganda eziwera 10 bakwasizza Pulezidenti Museveni ekkanzu eya kyenvu, ekyanzi,...

Tta 220x290

Eyatta owa bodaboda akkirizza okutuga...

Poliisi: Okimanyi nti obadde onoonyezebwa? Omusibe: Nkimanyi, kubanga akatambi akaatuleetera obuzibu nange nakalabako...

Pastorbugingo2703422350250 220x290

Bugingo asekeredde abaamututte...

Bugingo yasinzidde mu kusaba kw’omu ttuntu n’ategeeza nti tewali agenda kumugaana kwogera. Era ye talina muntu...

Abasumba 220x290

Abasumba bye baatudde ne basalawo...

ABASUMBA abakulira abalokole mu Uganda batudde ne bateesa ku nsonga za Paasita Aloysius Bugingo. Olukiiko lwakubiriziddwa...