TOP

Olususu olunyirira lundabisa nga bbebi

By Musasi wa Bukedde

Added 11th August 2018

SLYVIA Namaganda 30, musawo ng’alina akalwaliro e Mukono mw’akola kw’agatta n’okuzannya firimu z’Ebinnayuganda. Mukyala akuze wabula emyaka gye oyinza obutagimuwa olw’okufaayo okwerabirira. Akasusu ke kanyirira ng’aka bbebi era agamba nti ekyama yakizuula mu lususu kubanga buli lw’olufaako ne lunyirira, n’emyaka gyesala. Bino yabinnyonnyodde PATRICK KIBIRANGO.

Can1 703x422

Namaganda ng'amema

OLUSUSU Omuwala yenna ky’alina okukola kwe kufuba okulaba ng’akuuma olususu lwe nga lwaka buli kadde. Kino osobola okukituukiriza ssinga obeera mu lususu lwo naddala langi yaalwo Katonda gye yakuwa.

Olususu ssinga olulabirira mu ngeri entuufu, ojja kwesanga nga buli lw’okula ate lwo ludda buto.

Wabula bw’otolulabirira bulungi, luyinza okukula ate ne lusookayo n’emyaka gyo.

Be bawala ab’emyaka 20 b’olaba nga bafaanana abakazi abakulu ab’emyaka 40, lwa butafaayo kuyooyoota nsusu zaabwe.

Nze nasalawo okusigala ku langi y’olususu lwange era nkakasa nga kye kinnyambye okuba nga terulaga myaka gyange.

Kino okukituukako ndusiiga woyiro wa ‘Bio oil’ n’ebizigo bya ‘neem jerry’ kuba bino birimu ekirungo ky’enniimu ate nga kino kikola nnyo mu kuyooyoota ensusu ate nga teruvudde mu langi yaalwo.

alt=''

 Ng’oggyeeko okusiigako ebizigo ne woyiro ate era nfuba okulya ebibala n’okunywa amazzi okulaba nga nkuuma omubiri gwange nga gulimu amazzi. Kino kiyamba olususu okuba oluweweevu buli kadde.

Ekirala ku makya ssinga zisukka ssaawa 5:00 nga sinnanywa caayi sitawaana kunywa kuba omusana guba gutandise okwaka ate guleetera amazzi okufuluma mu mubiri.

Amajaani ne kaawa ssinga obyemanyiiza birimu ekirungo kya ‘caffeine’ ekikamula amazzi mu mubiri olwo olususu ne lukala.

Mu bintu ebirala bye nkola kwe kufuba okulaba nga neewala embalabe era kino okukikola nettanira nnyo okulya ebintu bya boyiro ng’enkoko, obummonde n’enva endiirwa.

Zino zinnyamba okufulumya obucaafu mu mubiri kuba buno bwe bubaamu bufuukuula olususu.

Ekirala olw’olumu bwemba wakwesiiga mekaapu oba nga nnina omukolo, nina ekifo gye ηηenda ne bansiiga era ono musasula 70,000/-, kubanga ebintu by’akozesa bya bbeeyi era tebyonoona lususu nga bwe kiba ku by’okwewunda ebimu.

ENGOYE

Zino okusinga nnyambala mpya era nga nnina edduuka ku luguudo lw’e Ntebe we ntera okugula. Njagala nnyo omusono gwa ‘two piece’ .

Okugeza, ntera okwambala ebiteeteeyi ebyetooloovu nga biriko obukooti ate nga tebinkwata nnyo.

Bwemba nkyusizzaamu, nnyambala engoye mu langi emu naddala mu matiiriyo eya jjiini. Engoye ze nnyambala nzigula wakati wa 80,000/- ne 150,000/- okusinziira ku musono.

ENGATTO

Engatto ze nnyambala omwami wange y’atera okuzindeetera bw’aba akomawo kuno kuba abeera mitala w’amayanja gy’akolera. Nsinga kwambala obukondo obumpi nga si busongovu ate olumu nnyambala eza fulaati.

ENVIIRI

Zino nzirabirira mu ngeri entuufu.  Okuva lwe nazuula nti obuviiri bwa ‘human’ bunnyumira, bwe nsinga okwettanira okusiba.

Nnina saluuni yange ennyiriza ea bwemba nsibye enviiri zimmalako 100,000/-.

Enviiri bwe nzisiba ntera okuzirwisaayo kubanga buli lw’oziggyayo nga bw’oddamu okuzisibwa kizitaataaganya.

Nze bwensiba enviiri nzimazaayo emyezi ebiri olwo ne ndyoka nziggyayo.

 njala aziyooyoota buli wiiki bbiri Enjala aziyooyoota buli wiiki bbiri.

FFIGA

Ekisooka okumpaliriza okufa ku ffi ga yange njagala nnyo engoye okunnyumira.

Neewala okugejja okusinga ku sayizi gyendiko era we nsinga okussa essira lwe lubuto.

Nasalawo okwettanira okunywa amazzi agalimu enniimu n’ekirala ndiira mu budde obutuufu.

Oluusi nkolamu ne dduyiro nga ndi awaka, naddala ku makya n’akawungeezi.

ENJALA

Enjala zange nzikuuma nga nnyonjo era nga nzisaze mu musono omulungi era ogusikiriza.

Nziyooyoota buli luvannyuma lwa wiiki bbiri, era nga zimmalako 20,000/- okuzisala n’okuzisiiga.

Langi ntera kusiiga ya ppinka ne bbulu kubanga zindabisa bulungi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ka1 220x290

Carol Nantongo bamukoledde akabaga...

Omuyimbi Carol Nantongo bamusuddeko akabaga k'amazaalibwa n'akaaba olw'essanyu.

Bak1 220x290

Omukazi afiiridde mu dduuka lye...

Omukazi afiiridde mu dduuka lye

Kab2 220x290

Museveni atongozza okugaba bbasalee...

Museveni atongozza okugaba bbasalee Bunyoro

Tum2 220x290

Bbanka enkulu emenyewo byebaayogera...

Bbanka enkulu emenyewo byebaayogera ku kuggala Banka

Rem2 220x290

Bawambye omuwala mu Kampala ne...

Bawambye omuwala mu Kampala ne bamutta