TOP

Engeri gy’olabiriramu ekisenge ky’abaana mu luwummula

By Musasi wa Bukedde

Added 25th August 2018

Abaana bawummudde, abasinga bali waka. Abazadde abaakola entegeka ne bazimba amayumba bali mu ssanyu beeyagala n’abaana baabwe kyokka abali mu mbeera y’okweyiiya nga basula mu mizigo batakula mitwe engeri gye bagenda okumalako oluwummula nga basula n’abaana naddala abakuliridde.

Contemporarykidsandchildrenscabinetdesignforhomeinteriorfurnituredebedestylecabinetbymathiasdemmer 703x422

Ennaku zino abazadde bagaana okugula engoye, okulya obulungi n’okwerumya mu mbeera ez’enjawulo okulaba ng’abaana babeera bulungi.

Waliwo abalina omusimbi n’obusobozi obukola ebintu ebirungi ebisanyusa abaana naye olw’obutaba na bukugu, bye bakola boonoona bwonoonyi, abaana ne beebaka bubi ebibaleetera okulwala n’okufuna obuzibu n’oluusi ebisenge okucuuma olw’okutegekebwa n’okulongoosebwa obubi.

Omuzadde ayagala omwana wo okusula mu mbeera eyeeyagaza mu luwummula luno olina ebintu by’olina okutunuulira okugeza: Obugazi bw’ekisenge, emyaka gy’abaana, ebitanda kwe basula, enteekateeka y’ekisenge n’enfuna yo.

Abakugu mu nsonga z’abaana bagamba nti omwana ku myaka ebiri abeera atandise okutegeera era wandibadde omuggya mu kisenge ky’abazadde n’ateekebwa mu ky’abaana banne.

ENTEGEKA Y’EKISENGE KY’ABAANA

Ne bw’oba olina ennyumba nfunda, fuba okulaba ng’ekisenge abaana bo mwe basula nga kyetadde bulungi okwewala abaana okulwala, okufuna alaje n’okuziyira.

  • Weewale okuteeka ekinaabiro ne kaabuyonjo mu kisenge ky’abaana kubanga bayinza okulemererwa okubiyonja ate n’ebintu ebikozesebwa okuzirongoosa biyinza okuba eby’obulabe gye bali ne bibalwaza.
  • Abaana abawala baawule ku balenzi naddala nga basukka mu myaka 10. Bonna bwe baba basula mu kisenge kimu wandibadde oteekawo kateni ebaawula ate buli kiro olina okubakeberako obutagwa mu bikemo.
  • Gezaako okulaba nga buli mwana omuwa essuuka ezize, nayiti mw’asula ne tawulo ezitakka wansi wa bbiri naddala mu biseera bino ng’enkuba etandise okutonnya. Abaana bano olina okubatendeka nga tebabikozesa nnaku zisukka mu ssatu nga tebyozeddwa.
  • Ebitanda olina okubiteerako obutimba bw’ensiri obutalwala musujja. Abakulu be bandibadde basula waggulu era kikukakattako okubakeberako ekiro n’oddamu okubabikka.
  • Ebitanda birina okuba nga bikoleddwa bulungi bireme kukalabula baana oba okubatuusaako ebisago nga babirinnya naddala ebya ddeeka. Tokkiriza baana kubizannyirako kubanga bayinza okuvaayo ne bagwa ne bafuna ebisago.
  • Fuba okuggula amadirisa n’enzigi buli ku makya empewo ennungi okuyingira n’embi okufuluma. Bw’okikuuma nga kisibe kijja kucuuma abaana bo balwale.
  • Ebisenge olina okuba nga wabisiiga dda langi ezisikiriza omuli enjeru, pinki ne kacungwa. Oyinza n’okubateeramu ebifaananyi ebibawummuza ebirowoozo oba ebibasomesa ku bisenge kyokka weewale okuteekamu ebitiisa ebiyinza okubalemesa okwebaka.
  • Omwana afuka ku buliri omufaliso gwe olina okuguteekako ekipiira. Buli lwe baba bagenda okwebaka wandibadde obakubiriza okusooka okwetaawuluza oba okubakeberako ekiro ayagala okufuuyisa n’azuukuka. Bw’oleka abaana okufuuyisa mu kisenge kijja kucuuma kibamaleko emirembe n’okuwunyisa ennyumba yonna.
  • Ennyumba yo ne bw’eba nfunda, ebitanda byandibadde tebisukka ddeeka bbiri abaana obutagwa. Bw’oba okikoze olw’ob-ufunda, bateereko amadaala.
  • Abaana abasinga tebaagala kwebikka. Kati olina okubafunira essuuka ne bulangiti ebitazitowa kubakaluubiriza bulamu nga beebase. Wandibadde obafunira essuuka za mirundi ebiri mu langi ezaaka nga zibasikiriza.
  • Ekisenge tolina kukiteekamu bintu bingi ate abaana bwe baba beebaka emitwe tebagitunuza ku madirisa kubanga bayinza okuwulira ebintu ebibakanga nga beebase ne bibamalako emirembe.

OMUKUGU AYOGEDDE

  • Tom Ssemaganda owa Dash Baby’s Decor e Mukono yategeezezza nti omuzadde yenna alina okulambula ekisenge ky’abaana be buli lunaku, okubakeberako ekiro nga beebase n’okufaayo ku ntegeka y’ekisenge. Yabalabudde obutateekamu ebifaananyi ebiyinza okutiisa abaana.
  • Yategeezezza nti ekisenge by’abalenzi kyawukana ku ky’abawala naddala mu langi ezisiigibwamu, essuuka ze bakozesa n’ebifaananyi by’oteekamu.
  • Ssemaganda agamba nti ebitanda by’abaana birina kuba bitonotono, tobawa ppiro nnene eziyinza okubalumya ensingo ate langi z’essuuka ne bulangiti zirina okuba nga zaaka.

Abaana mubaawulire ebisenge

Omukugu agamba nti mu Buganda, abaana bwe batuuka mu myaka gy’ekivubuka (10 okudda waggulu) basaanye okwawulibwa abalenzi basule bokka n’abawala bokka. Kyokka bw’oba oli wafunda, olina okubakeberangako buli kiro obutakola nsobi.

  • Abazadde abasula mu mizigo oba mu nnyumba enfunda mweyambise entimbe okwawula ebisenge by’abaana. Kino kibayamba okukula nga beewa ekitiibwa n’obuteetaba mu bikolwa bya bukaba nga bakyali.
  • Abaana mubawe obudde obusaanidde okusinga okubalekera abehhanda n’abakozi mu kiseera kino eky’oluwummula. Mubayigirize okukola emirimu nga beeyalira obuliri n’okusiimuula ebisenge byabwe mu kifo ky’okubakolera buli kimu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Salawo 220x290

BUKEDDE W’OLWOMUKAAGA AFULUMYE...

Bobi Wine alaze ky’agenda okuzzaako kyokka poliisi nayo erabudde aba People Power ku kugondera amateeka. Mulimu...

Giroud2 220x290

Besiktas eswamye Giroud okumuggya...

Giroud, yali omu ku bazannyi abaayamba Bufalansa okusitukira mu World Cup mu July wabula mu Chelsea, ennamba etandika...

Herreranerojo1 220x290

Abazannyi 4 ogwa ManU ne Wolves...

Rojo tannatereera bulungi buvune wabula okudda kwa Phil Jones kwakuggumiza ManU.

Meeyassenoganomumyukawekansalakaggwangaayogeramulukiikolwampigitowncouncil 220x290

Kirumira bamubbuddemu oluguudo...

Abakiise batenderezza Kirumira omwana waabwe enzaalwa y’e Mpambire mu Mpigi Town Council okubeera omusaale mu kutunda...

Omuvubukaabaddeyefuddeomulalungalikukabangaliyapoliisiempigi 220x290

Yeefudde omulalu n’ayingira ofiisi...

Omuvubuka ono yasoose kwesuula mu kidiba ky’ebbumba mu kabuga k’e Mpigi kyokka poliisi y’e Mpigi n’emunnyululayo...