TOP

Akaviiri ka ‘Vibration’ tekava ku mulembe

By Musasi wa Bukedde

Added 15th September 2018

EMISONO gy’enviiri gijja ne giggwaako ate ne gittuka bupya. Akaviiri ka ‘Vibration Top piece’ kabaddewo emyaka, wabula ng’abakyala basinga kukakozesa ku mikolo naddala abagole.

Koma 703x422

Winnie ng’alaga akaviiri ka ‘Vibration’. Wano ng’akasibidde ku nviiri ze.

Kano kakozesebwa nnyo okusibwa emperekeze naddala abataba na nviiri ziwera ku mutwe.

Wabula ennaku zino akaviiri kano abakazi n’abawala bakasiba ne bw’eteba mbaga, era ne banyuma okukamala.

Winnie Endong atunda obuviiri ku Galiraaya yagambye nti akaviiri kano kakyase nnyo omwaka guno okuva mu mwezi gw’okutaano n’okutuusa leero.

Katundibwa wakati 10,000/- ne 15,000/-, wabula kisinziira ku ndabika y’amayengo agakalimu n’obuwanvu bwako.

Akaviiri kano kasibwa abakyala ab’emyaka gyonna naddala abalina enviiri empanvu eziweza ppaafu, kubanga kagattibwa ku nviiri zaabwe ne balabika bulungi.

Osobola okukeeteekako nga tosoose kugenda mu saluuni olw’engeri gye kaakolebwamu.

Bakatungirako akatimba akafaanana buno abakyala bwe babikka mu nviiri, wabula bwe bamaliriza okukatunga, wansi bateekayo obuguwa obuliko obuliba obuyamba okukasiba n’okukanyweza ku nviiri.

Bw’oba ogenda okukateeka ku nviiri, olina okukakasa nga ziweza bulungi ppaafu, n’ogikwata, n’olyoka okasiba ku ngulu.

Bw’oba tolina nviiri ziwera, osobola okugenda mu saluuni ne bakukolamu ‘geero’ ne bakasibako, wabula kino abakyala bakikola nnyo nga bagenda ku mikolo. Akaviiri kano tekakaddiwa.

Osobola okukasibira emyaka gy’oyagala nga tekakyuseeko, okutuusa lw’okakoowa n’okasuula. Kangu okulabirira kubanga buli kika kya ‘spray’ kikakolako.

Bw’oba waakukasiba nga wakasibako dda, osooka kukafuuyiramu ‘spray’ ne kanyirira. Bw’oba tolina ‘spray’ osobola okufuuyiramu amazzi, era kajja kulabika bulungi.

Akaviiri kano osobola okukasibira ku nviiri enkole n’ezitali nkole, kasita ziba mpanvu.

Bw’oba n’enviiri ezitali nkole, kirungi ne basooka bazookyamu ne zeegolola bulungi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sky2 220x290

URA eggaddewo SkyLight Arcade abasuubuzi...

WAABADDEWO akassattiro mu kibuga abasuubuzi abakolera ku kizimbe kya Sky Light Arcade bwe baasanze ng'amaduuka...

Ssaavabazigu1 220x290

Abagambibwa okubba Abachina e Nkoowe...

ABAVUBUKA abagambibwa okubbisa eryanyi nga bakozesa emmundu basimbiddwa mu maaso g’omulamuzi wa kkooti Enkulu etuula...

Sooto2 220x290

Embeera ya Ppaaka Enkadde: Okw'enkuba...

Enkuba bw'etonnya Ppaaka enkadde fuula nga kiraalo kya nte!

Kubbiri6 220x290

Olutalo lwa Ssennyonga ne Kakande...

OMUSUMBA Jackson Ssennyonga aguze ekizimbe okumpi n'ekkanisa ya Nabbi Samuel Kakande ku bbiri e Mulago, embiranye...

Kabz 220x290

Kabushenga asiimye KCCA FC

"Kino kigenda kumpaliriza okulaba emipiira gya KCCA nga ntandiika n'ogwa CAF Confederations Cup.