TOP

Engeri gy’olabirira enviiri ezitaweza ppaafu

By Musasi wa Bukedde

Added 22nd September 2018

ABAKYALA n’abawala bafaayo okulabirira enviiri zaabwe, kubanga zikola kinene ku ndabika y’omukyala. Ku bakyala abalina enviiri ezitaweza ppaafu, oluusi okuzikuuma nga zirabika bulungi kiyinza okuzibuwala, naddala bw’oba togenze mu saluuni.

Ta 703x422

Omuwala ng’alaga enviiri ezirimu amayengo.

Ku balina enviiri empanvu, ne bw’aba aludde okugenda mu saluuni, kimwanguyira okuzikwata ppaafu ne zirabika bulungi.

Wabula bwe kituuka ku balina enviiri ennyimpi naddala nga zinyuma zirimu amayengo, kiyinza okumukaluubiriza. Wabula okwewala embeera eno, waliwo ebintu by’oyinza okukola naddala ekiro n’okeera ng’enviiri zo zisobola okusanirirwa ne zirabika bulungi wadde obeera togenze mu saluuni.

Bw’oba ng’enviri zo wazisala mu musono gwa ‘french cut’ nga mu mabbali n’enkoto wazisala n’ozimalawo ate nga wakati we wali enviiri z’ossaamu amayengo, okwewala amayengo okuvaamu, osobola okwambala ka nneeti naye nga kasobozesa enviiri okuyitamu empewo.

Ku makya bw’onookaggyako enviiri zijja kuba nga zikyalabika bulungi. Fuuyiramu sipule ekwatira enviiri awamu.

Ate bw’oba olina enviiri ng’enkoto ne mu mabbali nnyimpi ko okusinga eziri wakati, osobola okuzikwata zonna n’osizza mu maaso era oyambale akakoofi ira akajja okuzikuumira awamu nga tezitaataaganye nga weebase.

Oluvannyuma sibako akatambaala akaweweera, wabula waggulu lekawo ng’empewo esobola okuyitamu. Ku makya ggyako bye wasuze osibyeko, osanirire tojja kufuna buzibu.

Bw’oba olina enviiri nnyingi ku mutwe naye nga teziweza ppaafu, osobola okusula ng’osibyemu ppini ng’otaddemu amayengo. Bw’omala okusibamu obulungi ppini zino ezikola amayengo, sibako akatambaala olwo weebake, w’onoozuukukira ng’osanirira.

Abakugu mu by’emisono gy’enviiri bagamba nti wadde abantu abamu basala enviiri nga balowooza nti y’engeri gye banaasobola okudda obuto, naye ate bw’ozisala ne zikulema okulabirira ate zijja kwongera okukulabisa obulala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Davidssekandingalagaengeriamatookegegyegayonooneddwaenkubawebuse 220x290

Ab'e Mukono beeraliikiridde enjala...

Abatuuze b'e Nassaka mu Mukono beeraliikiridde olw'enkuba eboonoonedde ebirime

Whatsappimage20191021at1439041 220x290

Zani Lady C awera kudda mu nsiike...

Zani Lady C omuyimbi ate nga muzannyi wa ffirimu akomyewo n'akayimba okuddamu okuvugannya mu nsiike y'okuyimba....

Kkobewebuse 220x290

Mwewale okufiira ku mirimu gy’okukozesebwa...

Abamalirizza emisomo bakubiriziddwa obuteesiba ku mirimu gya misaala emigereke bwe baba baagala okwewala ekkomera...

Joseph8webuse 220x290

Bwe mukoledde ebibuuzo mu kizimbe...

Fr. Joseph Ssebayigga asabidde abayizi ba St. Joseph Girls Primary School e Nsambya aba P7 ng'aggulawo ekizimbe...

Vipers 220x290

Vipers yeeweredde BUL

Mu nsisinkana etaano ezisembyeyo,Vipers ewanguddemu emipiira ena (4) so nga BUL gumu.