TOP

Engeri gye nnonda engoye ezinnyumira

By Musasi wa Bukedde

Added 22nd September 2018

Bino yabinnyonnyodde PATRICK KIBIRANGO. “Bye nnyambala nfuba okulaba nga bigendera ku kikula ky’omubiri gwange.

Pana1 703x422

Komugisha mu biseera bye eby’eddembe.

OKWAMBALA ebikunyumira oluusi kiba kitone. Wabula oluusi kisingawo. Omuntu okufaayo okwambala ebimunyumira oluusi kiva ku nkula ye n’okumanya ebyo ebimunyumira.

Winnie Komugisha, 23 abeera Najjanankumbi, muyizi ku yunivasite emu mu Kampala gy’asomera essomo ly’ebyamawulire.

Agamba nti afaayo okulaba ng’atambula n’omulembe mu buli ekikwata ku mubiri gwe.

Agamba nti bw’amaliriza okusoma ayagala ayite mu mulimu gw’okuwandiika amawulire oba okuweereza ku mpewo okusomesa n’okwagazisa abawala emisono.

Mu bintu Katonda bye yampa mwe muli ffi ga. Ffiga yange enyumira kyenkana buli musono.

Bwemba nnonda emisono nfuba okulaba nga gujja kuggyayo ekiwato kyange, akabina n’entumbwe.

Kyenva nsinga okwambala engoye ezinkwata omubiri. Wabula n’ezitankwata nzambala, kasita lutaba luwanvu kutuuka ku bigere.

Bawala bannange ku ssomero ne gyempita beewuunya kyama ki kye nnina mu kwambala ebinyumira anti buli lugoye lwe nnyambala lunnyumira.

Kyokka nze olw’okuba nakizuula nti ffiga yange enyumira engoye nfuba okulaba nga ku mbalirira yange okwambala nkuwa ekifo ky’oku mwanjo nti binfuula omuntu ow’ebbeeyi.

Nsinga kwambala obuteeteeyi, ebitengi n’ebinu. Nsinga kwambala ngoye mpya mu bika eby’enjawulo.

Engoye sirina kifo kya nkalakkalira we nzigula, wabula wensanga ekinkolera wengula nga nzigula okuva ku 20,000/- n’okudda waggulu.

Mpozzi n’olumu lwemba njagadde eky’enjawulo ntungisa ebitengi. Nnina omutunzi wange mu Kiyembe era bino bimmalako wakati wa 50,000/- ne 100,000/-.

 innie omugisha Winnie Komugisha

 

Njagala nnyo langi ezaaka omuli emmyuufu, enjeru, kyenvu n’enzirugavu kuba zino zonna zigendera ku langi y’olususu lwange. Ebirala ebimukuumira ku mulembe mulimu;

ENGATTO

Obutafaananako nga bawala bannange nze nsinga kwettanira obugatto ekika kya ‘craft’. Nfuba okufuna ekika ekipya ekiba kizze ku katale kyengula.

Ekinjagaza engatto zino kwekuba nti zimpa emirembe ate zinfuula omukkakkamu, so ng’era nnyuma.

Obukondo mbwambala ku mukolo naye mu nnaku eza bulijjo sibwewanikamu. Engatto nsinga kuzigula ku ku Buganda Road nga zitera kummalako 30,000/-.

ENVIIRI

Enviiri nsinga kusiba ‘dreads’ ennyimpi kubanga mpangaazi ate zigendera ku ngoye ze nnyambala. Nnina omuvubuka azinsiba ku Gazaland ng’ansibira 80,000/- ne ziwangaala ebbanga eritakk-a wansi wa myezi munaana, mpozzi kyenkola kya kuziddaabiriza nga wano banzigyako 20,000/-. Kino nkikola buli myezi ebiri.

FFIGA

Ffiga Katonda yagimpa nga ya kigero kuba emala kuba siri munene atiisa ate era siri mutono nnyo. Kino kinnyamba obutasanga buzibu mu kugula engoye anti kyenkana buli lugoye lunnyumira.

Omulimu gwe nnina kugirabirira na kugikuuma nga tetaataaganye. Kino okukikola nfuba okulaba nga nfaayo ku ndya yange.

Sirya kukkuta wabula ndya ebyo ebigasa omubiri gwange, okugeza ntera okulya emmere erimu amazzi ate egonda ng’obummonde n’amatooke kuba tebituula mu lubuto ne bwemba sikoze mirimu gya maanyi. Kuno kwe ngatta okukola dduyiro naddala ‘sit ups’ n’okunywa amazzi agookya nga ntaddemu enniimu.

Bino tebiganya lubuto kugejja ekinnyamba okusigala nga nnyumira engoye.

OLUSUSU

Olususu lwange lwa ntondo kubanga embalabe zirutawaanya. Noolwekyo ebizigo bye neesiiga nfuba okulaba nga tebikyusa ndabika yaalwo.

Neenyumiriza mu ky’okuba omuddugavu. Neesiiga ebizigo bya ‘Amara Green’, kubanga birimu ekigagi ekinyiriza olususu.

Mpozzi n’ekirala, ndukuutamu n’ekyangwe okukakasa nga lutukudde bulungi. Nnyiikira n’okunywa amazzi kubanga gano galukuuma nga lugonvu ate nga lunyirira.

ENJALA

Zino nasalawo obutazisiiga wabula nzikuuma nga nnyimpi era nga zirabika bulungi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kept 220x290

Looya wa Kiwanuka ayanukudde mukyala...

EMIVUYO gyeyongedde mu ffamire y’omugagga Mohan Kiwanuka akulira balooya be bw’ategeezezza nti, mukama waabwe tabawanga...

Temu 220x290

Taata asse omwana n’amusuula mu...

ABAAGALANA bakwatiddwa nga bateeberezebwa okwekobaana ne batta omwana ow’emyaka ebiri, omulambo ne bagusuula mu...

Kat1 220x290

Amaanyi ga Buganda gali mu bavubuka...

Amaanyi ga Buganda gali mu bavubuka abakuziddwa mu mpisa

Pp 220x290

Sabiiti amalirizza lipooti Pulezidenti...

MAJ. Gen. Sabiiti Muzeyi akulembedde badayirekita ba poliisi ne basisinkana Pulezidenti okumwanjulira pulaani yaabwe...

Tek1 220x290

Akulira ebibiina by'obwegassi e...

Akulira ebibiina by'obwegassi e Kawempe avumiridde eky'okuggulawo ebibiina nga tebimaze kunoonyerezebwako