TOP

Emisono gy’ebitengi gy’otolina kusuulirira

By Musasi wa Bukedde

Added 29th September 2018

EKITENGI gwe musono ogutakka bbeeyi. Era n’Abazungu kati babyambala. Omwaka guno, waliwo emisono egijjumbiddwa era nga bw’oba tonnagwambalako ate nga weebala ng’ayambala ebitengi, kye kiseera ogutunuleko.

Tomu 703x422

  • Omusono omulala gw’otolina kubuusa maaso gw’egwengoye ezikoma mu bibegabega. Kiyinza okuba ekiteeteeyi, bulawuzi, oba ‘jump suit’. Omusono guno gunyuma nnyo kuba gw’ongera okulabisa omukazi nti by’ayambala abitegeera. Ate bw’asangibwa ng’alina olususu olunyirira, kiyitirira.
  • Ebitambaala ebisibwa ku mutwe nabyo bikyaliko nnyo era nga byongera kwettanirwa. Kino kisinze kuva ku ky’abakazi abangi ennaku zino abatakyayagala kukola nviiri, ne basigaza ezaabwe ez’obutonde nga si nkole.
  • Omusono omulala ogukutte akati y’essaati etungiddwa mu kitengi. Zino zitungibwa nga ngazi era zinyuma nnyo mu biseera eby’eddembe. Essaati zino wadde zisinga kutungibwa nga za basajja, wabula n’omuwala asobola okugyambala, naddala ng’agyambalira ku kinu oba leegingi n’olabika bulungi.
  • Emikono emigazi. Gino gimanyiddwa nga ‘statement sleeves’ era nga gye gikyaliko. Gino gitungibwa nga miwanvu ate nga gye gikoma migazi ddala. Emikono gino gitungibwa ku biteeteeyi ebiwanvu, ebimpi ne ku bulawuzi.
  • Omusono omulala gwe gw’okugatta ebika by’ebitengi eby’enjawulo ne bitungibwamu olugoye lumu. Kibadde kimanyiddwa nti ekitengi okutunga mu lugoye lumu, wabula kati osobola okugatta ebitengi nga bisatu n’otungamu olugoye lumu era n’olabika ng’oli wanjawulo.
  • Ab’ekika kino be basinga okwettanira okusiba ebitambaala bino ku mutwe, era bibalabisa bulungi. Ekirala, ebitambaala bino bikuuma enviiri nga zirabika bulungi ne zitakosebwa musana.
  • Waliwo n’omusono gwa siriiti ez’oku mabbali. Zino zitungibwa mu mpale ne sikaati.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kib11 220x290

Ba Kansala ku district e Kiboga...

Ba Kansala ku district e Kiboga bakubye ebituli mu budget ya District

Capture 220x290

Emitimbagano gya Vision Group gyakuvaako...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Br3 220x290

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Kit1 220x290

Engeri akasaawe k'e Mulago gye...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

Jit1 220x290

Afiiridde mu kibanda kya firimu...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono