TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Endabika y’olususu lwange y’endeetera bakasitoma

Endabika y’olususu lwange y’endeetera bakasitoma

By Musasi wa Bukedde

Added 29th September 2018

OMUWALA okulabika obulungi kyongera okumuggulirawo emikisa gy’okufuna. Era abawala abategeera obukulu bw’okulabika obulungi bafunamu nga bannaabwe batunula.

Leta 703x422

Martha Nakuya 24, abeera mu Kampala era atunda byakwekolako ku Galiraaya nga mukugu mu by’okukola ku nsusu.

Agamba nti okutambula n’omulembe ate nga bw’okifunamu tekitegeeza kuvumbula misono gya ngoye mipya kyokka, wabula endabika y’olususu nayo nkulu.

Olususu bwe luba lunyirira, buli lugoye lukunyumira anti olususu olunyirira teruboola langi ya ngoye. Bino yabinnyonnyodde PATRICK KIBIRANGO

SISUZA BIZIGO MU FFEESI

Okuva mu buto nga njagala nnyo okuyooyoota ensusu za bannange era kyampa amaanyi okufaayo nange okuzuula endabirira y’olususu lwange.

Kino era kyannyamba okufuuka kafulu mu kulabirira ensusu z’abalala kuba, buli atunula ku lususu lwange ne bw’aba tamanyi mulimu gwe nkola ambuuza kye nkozesa okulabika obulungi.

Kino oluusi ky’ekinfunira ne bakasitoma, era nze mmanyi nti ndya ku lususu lwange. Mu bintu bye neekakasa y’enfaanana y’olususu lwange kuba si lwa kuyiiyiza ng’abawala abamu.

Bw’oba oyagala okuba n’olususu olunyirira, oteekwa okwemanyiiza okweyoteza. Kino nkikola buli luvannyuma lwa nnaku bbiri era kiruyamba nga luweweevu.

Neewala okusuza ebizigo oba meekaapu mu ffeesi kubanga bye bimu ku bisibako abantu embalabe n’ensusu embi.

EMIMWA N’EBISIGE

Ku mimwa n’ebisige ntera kusiigako langi emu. Okugeza lipusitiiki ntera kusiigako ya ‘hot pink’ n’emmyuufu, ate ebisige ntera kusiigako ekkalaamu enzirugavu.

 akuya ngakola ku kasitoma Nakuya ng’akola ku kasitoma

 

ENGOYE

Ng’oggyeeko empale kuba zo nakula tezinkolera, sirina kika kya lugoye kiboola mubiri gwange. Kyokka nsinga kwambala ngoye mpya naddala ebiteeteeyi ebitali biwanvu nnyo.

Njagala nyo langi enjeru, enzirugavu, kitaka ne zaabu kubanga zaaka bulungi ne zongera okulabisa obulungi olususu lwange.

Ebiteeteeyi ntera kwambala ebinkwata omubiri kuba binnyumira ate bimpa emirembe. Ebiteeteeyi mbigula okuva ku 70,000/- n’okudda waggulu.

ENGATTO

Engatto nsinga kwambala eziriko obukondo obusaamusaamu naddala eziraga ebigere. Zino zinnyamba obutatuuyna bigere kuba omulimu gwange oluusi guba gwetaaga okutambula.

Oluusi bakasitoma mba nnina okubakolerako ku mikolo ate abamu bampita ewaabwe gye mbakolerako.

Ntera kwambala eza langi enzirugavu era nzigula mu Kampala nga zimmalako okuva ku 30,000/- okudda waggulu.

ENVIIRI

Nettanira omusono gwa ‘dread locks’ kubanga teguva ku mulembe, ate nga tegutera kuboola ngoye wadde omukolo.

N’ekirala omusono guno muwangaazi kuba nze kati ze nasiba nja kuzimazaayo emyaka ebiri.

Kyenkolamu kwe kuba nti nzikolako ‘repair’ era wano nsasula 35,000/- . Kino nkikola buli luvannyuma lwa myezi ebiri. Ate okuzisiba zintwalako 100,000/-.

ENJALA

Enjala sizisiigako cutekisi kubanga kiyinza okunnemesa okuyooyoota bakasitoma bange.

Enjala zange nzikuuma nga nnyimpi wabula nga zirabika bulungi. Ekirungi nti enjala zange njeru era ne bwe sizisiiga zisigala zaaka.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Namatambaga1 220x290

Muwala wa Katikkiro Mayiga agattiddwa...

Muwala wa Katikkiro Mayiga agattiddwa ne kabiite we mu kitiibwa

Kiru10 220x290

Abavubuka mwagale nnyo ensi yammwe...

Abavubuka mwagale nnyo ensi yammwe nga Kirumira bwe yakola - Bobi Wine

Twa 220x290

Museveni agguddewo olutalo oluggya...

PULEZIDENTI Museveni atongozza kaweefube ow’enjawulo agenderera okumalirawo ddala Siriimu omwaka 2030 we gunaatuukira....

Many 220x290

Eyazadde abaana 5 omulundi gumu...

Honoranta Nakato, 44, abaana yabazaalira mu ddwaliro lya Women’s Hospital ,International and Fertility Centre e...

Dpn6kdew0aa2dy 220x290

Putin asuubizza okuyamba Uganda...

PULEZIDENTI wa Russia, Vladimir Putin, akubagizza Uganda olw’okufiirwa abantu abasoba mu 46 abaabuutikiddwa ettaka...