TOP

Kozesa enniimu okuzigula enkwawa

By Musasi wa Bukedde

Added 29th September 2018

ENKWAWA kye kimu ku bitundu ku mubiri ebitera okukuusiira. Oluusi omuntu ne bw’aba mweru, era weesanga nga mu nkwawa waddugavu.

Ma 703x422

Embeera eno oluusi ereetebwa okuba ng’ekifo kino kiyisibwamu akamwano okwesalira.

Ekizibu nti ku ludda lw’omukyala, bw’aba n’enkwawa enzirugavu, buli lw’ayambala olugoye olwa musalankwawa, talabika bulungi.

EBIVAAKO ENKWAWA OKUKUUSIIRA

Sarah Kiggundu owa Sarie Beauty Salon mu Kampala agamba ebivaako enkwawa okukuusiiera mulimu;

 Okwesalira

 Okukozesa ennyo ebizigo ebiggyamu enviiri mu nkwawa.

 Okutuuyana ennyo.

 Okuba ng’empewo tetuuka bulungi mu nkwawa.

 Obutoffaali bw’olususu olufudde oba olukaddiye okwekuηηaanyiza mu nkwawa. Okukozesa kalifuuwa alimu ekirungo ky’omwenge.

 Olumu kisobola okuva ku mbeera y’obulamu nga; omugejjo, enkyukakyuka mu mpulirizo z’omubiri, eddagala erimu oba kookolo. Bwe kiba nga kiva ku mbeera zino genda olabe omusawo.

Wabula osobola okukozesa ebintu by’obutonde okumalawo ekizibu kino;

1 Lumonde; Asidi asangibwa mu lumonde akola kinene mu kuzigula olususu. Ekirungi tasiiwa. Kwata akatundu ka lumonde gw’osazeemu oyiseeko mu nkwawa.

Osobola n’okumukamulamu omubisi n’osiiga awo awaddugavu okumala eddakiika 15-20 oluvannyuma onaabewo n’amazzi agabuguma.

2 Cukamba; Ono naye ayamba okuziggula era n’aleeta akatangaala mu lususu. Siiga cukamba mu nkwawa oba mukamulemu omubisi ogusiigewo. Kikole emirundi ebiri buli lunaku. Osobola n’okukamula omubisi ogwo n’ogugattamu ekinzaali ekiganda n’omubisi gw’enniimu. Siiga awaddugavu, birekeewo okumala eddakiika 30, oluvannyuma onaabewo. Kikole buli lunaku ojja kulabawo enjawulo.

3 Enniimu; Eno ekola ng’ekyobutonde ekizigula olw’ebirungo by’erina era y’ensonga lwaki ekozesebwa nnyo mu kujjanjaba ensusu nga mw’otwalidde n’okumalawo ebiddugavu wansi mu nkwawa.

Okumalawo olususu olukaddiye n’okutangazaamu mu nkwawa, siiga enniimu ku lususu okumala eddakiika ntono. Leka omubisi ogwo okumala eddakiika 10 oluvannyuma onaabewo. Wabula osobola okumamirirako ssukaali ku nnimu eno okukola obulungi.

4 Osobola okugatta ensaano y’ekinzaali ekiganda, omubisi gw’enjuki oba yogati omwereere mu mubisi gw’enniimu osiige mu nkwawa. Birekeewo okumala eddakiika 10 oluvannyuma onaabewo. Kiddemu emirundi esatu oba ena mu wiiki.

5 Ebikuta by’emicugwa nabyo bisobola okukozesebwa okutangaaza mu lususu lw’omu nkwawa. Teeka ebikuta bitono mu musana okumala ennaku ntono okutuusa nga bikaze bulungi. Bisekule bulungi, gatta ejjiko ezisena sukaali bbiri ez’ensano gye wasekudde mu mata obitabule oluvannyuma siiga mu nkwawa obirekemu okumala eddakiika10.

6 Ekinazzi nakyo kiyambako okutangaaza mu nkwawa. Kirimu Vitamin E ayinza okuyambako okutangaaza olususu. Ekirala kikola ng’akawoowo ak’obutonde.

7 Amata. Galimu amasavu agayamba okukendeeza langi enzirugavu. Gayamba okugonza olususu n’okulutangaaza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Laga 220x290

Aba NRM ababeera mu mawanga g'ebweru...

SSABAWANDIISI wa NRM Kasule Lumumba asabye Bannayuganda abali mu mawanga g’ebweru okukomya okusiiga ensi yabwe...

Pata 220x290

Babakutte balimira mu kibira ky’e...

OMULAMUZI akulira kkooti ento e Masaka, Deogratious Ssejjemba yeesitudde n’agenda e Kasanje mu ggombolola y’e Kyesiiga...

Mate 220x290

Babakutte balimira mu kibira ky’e...

POLIISI y’e Mpigi ngeri wamu n’abakulira ekitongole ky’eby’ebibira mu ggwanga ekya National Forest Authority (NFA)...

Gano 220x290

Omugagga asenze ebintu bya Klezia...

KLEZIA n’abatuuze abalina ebibanja ku kyalo Nkakwa mu ggombolola y’e Ssi - Bukunja mu disitulikiti y’e Buikwe,...

Wanga 220x290

Obwaddereeva buliko emyaka gy’otolina...

OLUVANNYUMA lw’Omulangira Phillip bba wa Kwiini wa Bungereza, Elizabeth okufuna akabenje ng’avuga mmotoka ku myaka...