TOP

Ffiga yange enyumira buli musono gwa lugoye

By Musasi wa Bukedde

Added 13th October 2018

ABAWALA bangi abafaayo okwekuumira ku mulembe essira basinga kuliteeka ku ffeesi, ne beerabira okulabirira emibiri gyabwe okugikuuma nga giri wamu ne gitayiikayiika. Carol Namulindwa mutunzi wa ngoye, muyimbi ng’abeera Munyonyo bwe yabadde ayogerako ne MARY NAMBWAYO yamubuulidde engeri gye yeefaako n’asobola okukuuma ffi ga ye ng’eri wamu kuba kye kintu ekisinga okumusanyusa era ekisikiriza abalabi.

Lembe 703x422

Namulindwa mu misono egy’enjawulo egimunyumira.

“Ffiga ennungi enyuma okutunuulira era omukyala atambula n’omulembe buli amutunulako tayagala kumuggyako maaso.

Ekirala ffiga ennungi enyumira buli musono gwa ngoye era bw’okola ku ffi ga yo n’ebeera nnungi, kitegeeza nti tojja kutawaana ng’onoonya ebikunyumira.

Nze ffiga nfaayo okugikuuma omubiri ne gulema kuboola lugoye. Nfaayo okukuuma ffi ga yange okubeera ng’erabika bulungi era okukola kino, nkeera buli ku makya ku ssaawa 12:00 ne ηηenda mu jjiimu okukola dduyiro.

Eno nkola dduyiro omuli okwetooloolera ku bipiira okusobola okukuuma olubuto lwange obutayiikayiika, okudduka ku kagaali ne dduyiro omulala ayamba omubiri gwange okubeera awamu n’okwewala okugejja.

Ku dduyiro ngattako okulya mu ngeri entuufu nga neewala emmere engezza.

Ekirala ndya omulundi gumu mu lunaku era ngirya lwaggulo kubanga saagala kugejja.

Olunaku lwonna nsiiba ndya ebibala nga bwennywa amazzi okutuusa olweggulo ne nfuna emmere.

ENVIIRI

Enviiri zongera ku kitiibwa ky’omukyala wamu n’obulungi bwe, ky’ova olaba sirwisaayo nviiri bwe mba nzisibye.

Okusinziira ku mirimu gyange gye nkola, gyetaagisa omuntu ng’alabika bulungi abantu basobole okungulako ebintu naddala engoye.

Ate n’okuyimba era kyetaagisa okulabika obulungi ate ng’enviiri zongerako.

Engeri ffeesi yange gy’eri empanvu, nasalawo okusiba wiivu zokka, era nsiba eza buli langi kasita ndaba ng’egenda kunnyumira.

Nsiba wiivu ennyimpi n’empanvu era nga zimmalako okutandikira ku 80,000/- okudda waggulu.

ENGOYE

Engoye ennungi ziweesa omukyala yenna ekitiibwa ate tekiba kirungi okubeera ng’oyambala olugoye lumu buli kiseera.

Engeri gye ntunda engoye nfuba okunoonyeza ku ngoye ennungi ate nnyambala buli kika kya lugoye kuba ffi ga yange teboola ngoye. Langi nayo si nsonga nnene gyendi kuba olususu lwange teruboola langi engeri gyendi wa katakketakke.

 amulindwa mu biseera bye ebyeddembe Namulindwa mu biseera bye eby’eddembe

 

Ntera okwambala engoye ezinkwata omubiri wamu ne mmini kubanga zinnyumira.

Engoye nzambala okusinziira ku mukolo oba ku kifo gyemba ndaga.

Engoye ntera kuzigula wakati wa 50,000/- ne 100,000/- okusinziira ku kifo we mba nguze.

OLUSUSU

Ffeesi y’omukyala esikiriza abantu bangi era nze nfuba okulaba nga ffeesi yange ebeera eyaka.

Ekirala ngisiigamu ebizigo ebituufu okwewala okufuukuuka n’okuggyamu embalabe. Nfuna ennaku ez’enjawulo mu wiiki ne neeyoteza.

Wano nfumba amazzi ne geesera ne nfuna amazzi g’enniimu ne ngatabula mu ‘okra’ gwe mmaze okusalaasala olwo ne neesiiga mu ffeesi ne neeyoteza. Bino biyamba olususu okuggyamu obucaafu bwonna n’okuluzigula ne lulabika bulungi.

Kino nkikola omulundi gumu mu wiiki era kye kimu ku binnyambye okubeera n’olususu olulabika obulungi. Oluusi olususu ndusiigako ovakkedo nga mmusosse, oluvannyuma ne naabamu.

ENGATTO

Zino nzigula buli we nsanze kasita ensanyusa amaaso ate ng’entuuka.

Ebika by’engatto byonna mbyambala omuli ez’obukondo obuwanvu, obukondo obumpi, eziraga ebigere ne fulaati zonna nzambala. Engatto nzigula okuva ku 20,000/- okutuuka ku 100,000/-.

EBYOKWEWUNDA

Nkozesa abantu ab’enjawulo abankolako mu ffeesi naddala nga nninayo omukolo. Bano mbasasula 20,000/- oba okusingako, okusinziira ku kifo wemba ηηenze.

Bwe baba bankolako batera okukozesa, foundation, concealer, lipstick eye pencil eye liner n’ebyokwewunda ebirala.

Olumu nteekako n’obukoowekoowe oba mascara olwo ne ndabika nga ndi wa njawulo era wa bbeeyi.

ENJALA

Sitera kuteekako njala ndala engeri gye nnina enjala zange ennungi era ebiseera ebisinga nzirongoosa ne nsiigako cutekisi.

Ono musiigirako ku saluuni eyooyoota enjala mu Kampala. Bwe baba balongoosezza enjala zange n’okusiigako cutekisi nsasula 15,000/-.

Wabula oluusi ngattako enjala za pawuda. Zino zifaananira ddala ng’enjala z’omuntu era bwe bamala okuziteekako olwo nga nsiigako cutekisi. Zino zimmalako 30,000/-.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omwanangaluaekikajjyo11webuse 220x290

Endabirira y'amannyo g'omwana eneegakuuma...

Okuziyiza amannyo g'omwana okulwala mu bukulu otandika mu buto okugayonja n'okugajjanjaba.

Katereggangalagaapozatundawebuse 220x290

Okutunda apo nkuguzeemu embuzi...

Nasooka kusiika capati e Iganga ne nzija e Kampala okutunda apo mwe nfuna 200,000/- omwezi era nguzeemu embuzi...

Sserunkuuma2webuse 220x290

Ebbumba eryenyinyalwa abasinga...

Bulikye mmumba nkijjuukirirako maama eyambeererawo mu bulamu kyokka n'atabaawo kugabana ku ntuuyo ze.

Kap2 220x290

Agambibwa okusobya ku w’emyaka...

Agambibwa okusobya ku w’emyaka 78 bamulagidde yeewozeeko

Muv1 220x290

Ebizibu ebizze bigwa e Rakai ebitalyerabirwa...

Ebizibu ebizze bigwa e Rakai ebitalyerabirwa Kennedy Kyakuwa