TOP

Abazzukulu bangoba mu poloti gye nagulira mu mannya ga muwala wange

By Musasi wa Bukedde

Added 13th October 2018

Reginah Nengesa 80 ow’e Kisugu - Wabigalo yasooka kubeera Busoga gye yasinziira okugulira muwala we Gorreti Nansamba ettaka mu bitundu by’e Wabigalo mu Central Zooni.

Taka 703x422

Nangesa (wakati) ne bawala be. Akaayana n’abazzukulu abaamubbako endagaano ze.

Kino nakikola okumusanyusa kubanga yali teyazaala ate ffenna tumwesiga nga yaatuterekera n’ebintu byaffe ng’endagaano n’ebyapa.

Bwe namala okusasula poloti eno mu 1992, waayitawo emyaka ebiri ne muweereza ssente endala n’atandika okuzimba emizigo.

Bwe zaggwa, namusaba ezimu aziteekemu abapangisa ate omuzigo ogumu mwaba asula era nga buli kimu akikola bulungi kubanga ssente ze yasoloozanga ng’azimpeereza.

Omwami wange bwe yafa mu 2004, nava mu kyalo ne nzijja mu kibuga okubeera ne muwala wange kuba teyali mufumbo era ebintu nga bitambula bulungi.

Wadde Nansamba teyalina mwana yenna ku nsi, alina abaana ba muganda we basatu be yali alabirira n’okukuza okwali: Willy Masolo 35, Geoffrey Masolo 32 ne Milly Nabukwasi.

Abaana bano yabaleeta ne tubeera nabo e Wabigalo wabula bwe baakula ne bavaawo awaka ne batandika obulamu obupya nze ne nsigalawo ne bawala bange okuli: Gorreti Nansamba, Meere Nanfuna ne Florence Nanfuna eyali atulabirira kuba ye muto waabwe.

ABAZZUKULU BANGOBAGANYA KU TTAKA

Gorret Nansamba bwe yafa mu 2018, abazzukulu babba endagaano za poloti zange Nansamba ze yali yanterekera okwali ez’e Wabigalo ne Namayemba, Busoga gye nabeeranga.

Abaana baatandika okungobaganya ku ttaka lyange era ensonga ne tuzitwala mu b’obuyinza.

Poliisi yabakwata oluvannyuma n’ebata kyokka endagaano baaziremera. Ensonga twazituusa mu ofiisi ya RCC w’e Makindye nga mu kiseera kino ziri mu ofiisi y’eby’ettaka enkulu mu Kampala.

OMWOGEZI WA POLIISI MU KAMPALA AYOGEDDE

Luke Owoyesigire omwogezi wa poliisi mu Kampala yategeezezza nti ensonga z’omukadde ono n’abazzukulu be zaatuuka dda mu ofiisi ye era n’endagaano ya poloti ekaayanirwa eri mu mikono gya poliisi.

Endagaano eraga nti Gorret Nansamba (muwala wa Nangesa) ye yagula poloti wabula tetusobola kugibawa okutuusa ng’ensonga ziwedde bulungi.

Ensonga twazitwala mu kkooti y’eby’ettaka eya Land Division e Makindye era essaawa yonna kkooti ejja kubayita okuzuula ekituufu.

Wabula Nangesa agamba nti ssinga endagaano y’okugula poloti eno yateekebwa mu mannya ge osanga bino byonna tebyandibaddewo kubonaabona n’abantu abaagala eby’obwereere.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kept 220x290

Looya wa Kiwanuka ayanukudde mukyala...

EMIVUYO gyeyongedde mu ffamire y’omugagga Mohan Kiwanuka akulira balooya be bw’ategeezezza nti, mukama waabwe tabawanga...

Temu 220x290

Taata asse omwana n’amusuula mu...

ABAAGALANA bakwatiddwa nga bateeberezebwa okwekobaana ne batta omwana ow’emyaka ebiri, omulambo ne bagusuula mu...

Kat1 220x290

Amaanyi ga Buganda gali mu bavubuka...

Amaanyi ga Buganda gali mu bavubuka abakuziddwa mu mpisa

Pp 220x290

Sabiiti amalirizza lipooti Pulezidenti...

MAJ. Gen. Sabiiti Muzeyi akulembedde badayirekita ba poliisi ne basisinkana Pulezidenti okumwanjulira pulaani yaabwe...

Tek1 220x290

Akulira ebibiina by'obwegassi e...

Akulira ebibiina by'obwegassi e Kawempe avumiridde eky'okuggulawo ebibiina nga tebimaze kunoonyerezebwako