TOP

Ddi landiroodi lw’alina okutunda ebintu by’omupangisa agaanyi okusasula?

By Musasi wa Bukedde

Added 20th October 2018

JUMA Ssemuddu ow’e Lweza yeevuma olunaku lwe yatunda ennyumba ye n’adda mu bupangisa. Agamba nti ne ssente ze yatunda mu nnyumba n’akolamu bizinensi zaamufaako ne ziggwaawo nga kati n’ezisasula ennyumba takyaziraba.

Tunda 703x422

Abaana nga bazannyira ku bintu by’omupangisa ebyawambibwa.

May w’omwaka guno yagenda okutuuka nga yeeyaguza luggyo nga ne landiroodi we amubanja emyezi ena. Buli mwezi yali asasula 300,000/- nga bw’ogattagatta bamubanja 1, 200,000/- kyokka nga talina ssuubi lifuna ssente zino.

Ssente zino zigenda okuwera nga landiroodi azze amuweereza obubaka obumubanja.

Ekyaddako kyali kya kumuleetera LC n’abaserikale ne bawamba ebintu bye nga landiroodi agamba tayinza kukkiriza Ssemuddu kugenda nga tamusasudde ssente ze ng’ate naye ennyumba yazizimba kumuyamba.

Landiroodi yalaba Ssemuddu taleeta ssente kwe kutunda ebintu bye yeesasule.

Embeera eno ezze etuuka ku bapangisa bangi abalemererwa okusasula ssente z’obupangisa ne babagoba mu mayumba n’okubawambako ebintu byabwe.

Ekyebuuzibwa kiri nti ddi landiroodi lw’alina okuwamba ebintu by’omupangisa na biki by’alina okugoberera.

Wabula n’okutuusa leero abapangisa bakyakukkulumira gavumenti olw’okubakandaaliriza okuyisa ebbago mu Ssemateeka w’eggwanga okubasobozesa okuba n’obuyinza ku bintu byabwe ssinga baba balemereddwa okusasula balandiroodi baabwe.

EMITENDERA LANDILOODI MW’ALINA OKUYITA OKUTUNDA EBINTU BY’OMUPANGISA

lIsah Kavuma munnamateeka okuva mu Luzige, Lubega Kavuma & Co. Advocates yategeezezza nti mu mateeka, landiroodi akkirizibwa okutunda ebintu by’omupangisa ssinga agaana okumusasula ssente. Wabula kino alina okukikola ng’ayita mu mitendera gya kkooti emituufu.

lEtteeka landiroodi mw’ayita okutunda ebintu by’omupangisa liyitibwa: Distress for Rent (bailiffs) Act 1933 Cap .76).

Ebintu bino landiroodi tabitunda nga ye wabula ateekayo okusaba kwe mu kkooti ng’ayita mu bawannyondo ba kkooti. Kkooti ewa wannyondo satifikeeti okukakasa nti afunye olukusa okuyambako landiroodi okutunda ebintu.

lWannyondo tatunda butunzi nga bw’aba ayagadde wabula asobola okulanga mu mawulire ng’alaga nti alina ebintu by’agenda okutunda.

lBw’amala okubitunda, landiroodi aggyako ssente z’aba abanja omupangisa bwe ziba zisigaddewo asobola okuziwa omupangisa.

lYategeezezza nti abawamba ebintu by’abapangisa nga tebayise mu kkooti bakikola mu bumenyi bw’amateeka era omupangisa asobola okumuggulako omusango. Ayongerako nti etteeka ku ludda lw’omupangisa ly’etaagisa wabula terinnayisibwa era mu kiseera kino liyamba landiroodi yekka.

ABAPANGISA BANYIGIRIZIBWA

Hajji Muhammed Katanyoleka, Ssentebe w’ekibiina ekigatta abapangisa ekya ‘Uganda tenants, neddy & Squatters Association’ agamba nti landiroodi yandibadde tawamba bintu bya mupangisa nga tagenze mu kkooti.

‘‘Ffe tetuli basanyufu n’etteeka eririwo era tukubiriza Pulezidenti Museveni omulanga olw’okuba gavumenti lye yateekawo liryazamaanya nnyo abapangisa’’. Ekisinga okutuluma mu Kampala tukolera mu kutiisibwatiisibwa engeri balandiroodi baffe gye bali bannannyini kibuga.

Osanga omuntu omu n’ebizimbe 30 n’abapangisa ng’akakadde kamu ky’ova olaba nga batuyisa nga bwe baagala.

Abantu bangi ssente zibaweddeko ne bizinensi zigudde olw’okunyigirizibwa okuva mu balandiroodi baabwe.

Yasabye ebbago ly’obupangisa liyisibwe era lifuulibwe etteeka nga kino kye kinaayamba okumalawo embeera y’okusika omuguwa wakati wa Landiroodi n’omupangisa.

OMUPANGISA GWE BAAWAMBIRA EBINTU ALOJJA

Robert Lubega 40, omusuubuzi w’engoye ku Mini Price mu Kampala agamba nti emyaka etaano emabega, waliwo omugagga eyaggala ekizimbe mwe yali akolera olw’ebbanja lya myezi ena.

Mu dduuka nalinamu emmaali ya bukadde nga 300 n’abiwamba kyokka n’okutuusa kati sibifunanga kubanga ekizimbe yakimenyawo n’ateekawo ekirala.

Yagambye nti omugagga yamuloopa ng’era alindiridde bwenkanya mu kkooti y’obusuubuzi ku Twed Towers gye yatwala omusango.

EBIREMESA ABANTU OKUSASULA SSENTE Z’OBUPANGISA

Katanyoleka agamba nti balandiroodi abamu babasasuza mu doola kyokka nga ya bbeeyi bw’ogeraageranya ne ssente za wano.

  • Balandiroodi abamu bakambwe nnyo nga si bagumiikiriza ekibaviirako okuwamba ebintu by’abapangisa nga balowooza nti tebagenda kubasasula.
  • Emisolo n’emisoso egisoloozebwa ku basuubuzi gisukka obungi ne bakolera mu kufiirizibwa.
  • Amayumba agamu aga bizinensi ebifo we gali tewali baguzi ekiviirako abapangisa obutafuna magoba gabasobozesa kusasula ssente mu budde.
  • Obwavu, embeera y’ebyenfuna eyekanamye ereetedde eby’obusuubuzi okugootaana ekyongedde obwavu mu bantu.
  • Katanyoleka yategeezezza nti ate balandiroodi abamu bongeza ssente z’obupangisa kumpi buli mwaka omuntu n’asoberwa kyokka ng’oluusi gy’akola tebamwongeza. Olw’ebyetaago ebyeyongera buli lunaku, agenda okulaba nga takyasobola kusasula ssente bulungi n’oluusi emyezi okuwera n’ekiddako kusika muguwa ne landiroodi. Kati bw’osanga landiroodi atanywa guteeka aba alina okukugoba mu nnyumba ze n’oluusi okuwamba ebintu byo. Kyokka yakubirizza n’abapangisa okubeera abatetenkanya kubanga balandiroodi nabo bazimba amayumba okubayamba ku bizibu byabwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

5216 220x290

Kkondomu ezisoba mu kakadde 1 ezirimu...

Bannayuganda abettanira kkondomu za Life Guard baweereddwa amagezi okwekenneenya kkondomu ze bagula nga tebannazikozesa....

Abataka1webuse 220x290

Tetugenda kusirika ng'ebika bisereba...

Bakatikkiro b'ebika balayidde obutaleka bika kusereba ne basalawo okwegatta bakolere wamu okubitumbula

Muzaata 220x290

Ebyabadde mu nsisinkano ya Museveni...

Pulezidenti Museveni asisinkanye akakiiko ka poliisi akafuzi n’alagira abaserikale essira balisse ku kulwanyisa...

Lim21webuse 220x290

Engeri gy'olimira mu kkutiya okufuna...

Omusomesa akulaga bw'akozesa ebikutiya okukola ssente mu kulima enva endiirwa

Bebi 220x290

Aba Ghetto Kids bafunye ku kamwenyumwenyu...

Aba Ghetto Kids bafunye ku kamwenyumwenyu