TOP

Engeri gy’otetenkanya okuzimba enju nga bw’otunda

By Musasi wa Bukedde

Added 20th October 2018

BULI lw’okola omulimu omulungi ate ne gunyirira ofuna bakasitoma bangi abakweyunira. Emu ku bizinensi ezivaamu ensimbi ye y’okuzimba ennyumba nga bw’ozitunda kuba evaamu ssente z’omuzindo ne bw’oba otandise ate ng’atandise mpolampola.

Pa 703x422

Emu ku nnyumba Lukwago z’atunda.

Jimmy Lukwago nga ye maneja wa ttiimu y’omupiira eya Kira young era nnannyini kkampuni ya Kira Young Construction Company Limited esangibwa mu Munisipaali y’e Kira mu Distulikiti y’e Wakiso yeefunyiridde ku gwa kuzimba mayumba agatundibwa n’okutunda ettaka.

Lukwago agamba nti omulimu guno yaakagukolera emyaka 5 naye gumwerabiza obusomesa bwe yasomerera ku yunivasite e Makerere.

Agamba nti bwe yali yaakamaliriza okusoma mu 2006 yakwatagana ne mikwano gye Patrick Kamoga eyali omupunta ne Siraje Obutu eyali bbulooka w’ettaka n’amayumba mu Kira n’atandika okukola nabo nga bamuwaayo obusente obutono.

Nga nkung’anyizzaawo ssente entonotono, nazimba ennyumba mu Kito-Kira ku Mmamerito Rd nga yamalawo obukadde 200 okuli n’okugula poloti kwe yazimbibwa.

Ennyumba eyasooka yagiguza eyali kkapiteeni wa ttiimu ya Uganda Cranes, Ibrahim Ssekajja eyagigula ku bukadde 300 era kino kyamwongera amaanyi okugenda mu maaso n’omulimu guno.

Ssente yazigulamu poloti eziriraanye ennyumba eno nga zino okuzigattagata zaaweramu yiika 3 olwo n’azimbako ennyumba endala.

Agamba nti bw’aba azimba ennyumba zino ye kennyini yeenyigiramu n’abeerawo ku sayiti okulondoola emirimu bwe gitambula.

Agamba nti ennyumba azizimba mu ngeri ya mulembe ate n’akola omulimu nga mulungi okwewala abeekwasa obusongasonga.

Ennyumba aziteekamu ebintu eby’omulembe ng’ebinaabiro, kaabuyonjo, ekiyungu, amataala n’ebirala.

Lukwago agamba nti buli mayumba g’amaliriza aleka ayiye koolansi okuva ku kkubo erigenda ku nnyumba zino nga kino kiyamba ku kukula kw’ekitundu.

Abamu ku bagula ennyumba zino basasula ku kibanja mpola singa asooka n’asasulako ebitundu 60 ku buli 100.

Agamba nti waneesimbirawo mu 2021 ku bubaka bwa palamenti obwa Kira munisipaali ayagala ekitundu nga kirimu amayumba ag’omulembe.

Okusomoozebwa

  • Bakasitoma abamu tebasasula ssente kuzimalayo naddala nga bayingidde ennyumba era abamu ensonga ziggweera mu kkooti kyokka nga nayo watwala ssente.
  • Ebbeeyi y’ettaka erinnye nnyo nga kino kirinnyisa ebbeeyi y’ennyumba kw’eggweera.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Seb2 220x290

Mulunde ebyennyanja - Museveni...

Mulunde ebyennyanja - Museveni

Naki 220x290

Grace Nakimera akomyewo na maanyi...

Grace Nakimera akomyewo mu nsike y'okuyimba abadde yawummulamu asooke atereeze obufumbo

Kibowa13webuse 220x290

Abakyala mwekolemu ebibiina mufune...

Abakyala b'e Mukono bakubiriziddwa okwekolamu ebibiina bafune ku ssente za Gavumenti ezitaliiko magoba n'okuwagira...

Acaya1webuse 220x290

Omuyizi akoze mmotoka ne yeewuunyisa...

Omuyizi Francis Ocaya akoze mmotoka ne yeewuunyisa Ababaka ba Palamenti ne bamusuubiza omulimu

Abamukubamusigansimbiabataddemuensimbiokuzimbazikabuyonjongabawayaamunabamukubaanawebuse 220x290

Temusimbira nkulaakulana kkuuli...

Abagirimaani bazimbidde essomero ly'e Ntenjeru kaabuyonjo ey'omulembe