TOP

By’olina okukola kati Ssekukkulu ekusange ng’awaka washanana

By Musasi wa Bukedde

Added 1st December 2018

By’olina okukola kati Ssekukkulu ekusange ng’awaka washanana

Lop2 703x422

SSEKUKKULU lwe lumu ku nnaku enkulu olusinga okukuzibwa buli mwaka mu Uganda n’ensi yonna okutwaliza awamu. W’osomera bino ng’ebula wiiki ssatu lutuuke era abantu batandise dda okulwetegekera.

Buli muntu alwetegekera lulwe kyokka ali mu muzigo ng’opangisa n’eyazimba buli omu afuba okwegogola lumusange ng’amaka ge gatemagana. Ate abazimba ennyumba empya bali mu kukubirira okulaba nga Ssekukkulu ebasanga bayingidde bawone okulya olunaku ng’eno bwe beeraliikirira balandiroodi okubakonkona kyokka n’abalina enkadde bali mu kuziddaabiriza.

Okubeera ne ssente ennyingi si kye kikulu ku lunaku luno wabula endabika y’ennyumba yo wabweru ne munda wamu n’ebintu ebirimu ebikuwa emirembe.

Biyinza okukuwa oba okukumalako essanyu ssinga totandika kwefaako.

BY’OYINZA OKUKOLA KATI OKUKYUSA ENDABIKA Y’AWAKA

OKUSIIGA LANGI Omwaka muwanvu naddala ng’osula kumpi n’oluguudo. Kino kye kiseera okugulayo langi osiige ku nnyumba yo otuuke ku lunaku ng’erabika bulungi.

Omulimu guno oyinza okugwekolera obutasaasaanya nnyo oba okufuna omukugu n’akuyambako.

Waliwo ebifo by’olina okutandikirako ng’eddiiro, awatuula abagenyi n’olubalaza kyokka bw’oba olina ssente oyinza okusiiga ennyumba yonna. Funa langi ezinaakuwummuza ebirowoozo mu ggandaalo lya Ssekukkulu.

OKUDDAABIRIZZA EBIBAJJE

Omwaka gugenda okuggwaako naddala ng’olina abaana ng’ebintu ebimu mu nnyumba byonoonese. Okugeza entebe, emmeeza, kabada n’ebitanda nga kikwetaagisa okubiddaabiriza oba okugula ebipya.

Ngaga Mukama waffe Yesu Kristu, kino kye kiseera ekituufu okubikolako. Engoye z’entebe bwe ziba zaayulika n’okuguba zikyuse, oyinza okufuna abazooza wamu n’okuziddaabiriza. Jjukira kino kiseera kya kukyaza bagenyi. Bajja kusanga ennyumba yo nga ncaafu mu kifo ky’okunyumirwa obugenyi badde mu kukugeya.

ENDABIRWAMU ZIKYUSE

Waliwo abalina endabirwamu nga ne bw’ozikuuta tezikyasobola kutukula nga n’ezimu zaayatika. Zino oyinza okuzikyusa n’oteekamu empya. Kyokka okunyuma kyetaaga nga ne langi wataddeko endala ne bikwatagana bulungi.

EMPYA MUZIFEEKO Ekiseera kye tuyingiddemu kya musana ekitegeeza nti enfuufu egenda kubeera nnyingi. Bw’oba olina ssente oluggya oyinza okulusiba amayinja, pevaazi oba okuluyiwa enkokoto. Ate mmwe abalinako obulimiro bw’ebimuli, mubulime bulungi, mufeeyo okubifukirira n’okubisalira birabike bulungi.

Jjukira nti oluggya lulinga kyenyi buli muntu waatuukira noolwekyo weetaaga okululabirira obulungi.

SIRIINGI GIKOLE Abalina ennyumba ezitaliimu siriingi n’enkokoto oba ttayiro wansi buno bwe budde obutuufu okwetereeza. Bino byetaagamu ssente era olina okuba nga weetegese bulungi mu by’ensimbi omulimu okunyuma.

ATALINA MASANNYALAZE N’AMAZZI

Ennaku enkulu tezinyuma kukeera mugga oba okuliira ekyeggulo mu nzikiza. Okyalina obudde okusaba amazzi n’amasannyalaze n’ogafuna bw’oba olina ebyetaagisa. Ate mmwe abagalina kino kye kiseera okuyonja ttanka zammwe mukuume amazzi ge mukozesa nga mayonjo obutalwala.

AMABAATI GASIIGEKO LANGI OBA OKUGAKUUTA

Abalina amabaati agatonnya oba agasiiwuuse okyalina obudde okugakuuta oba okusiigako langi. Tekigasa kulongoosa bisenge n’ennyumba munda nga waggulu ekutte enfuufu n’enkonge. Ate kiruma okukeera ku Ssekukkulu ng’ogenda okusaba ate n’odda mu kutegula ebintu ng’enkuba etonnya.

ABAKUGU BAWABUDDE

James Lubuulwa owe Kajjansi agamba nti abantu tebalina kwerumya mitwe nga banoonya ssente z’okugula ebintu by’omu nnyumba ebipya naddala nga bye balina by’akolebwa mu miti emirungi. Agamba nti abantu ababitunda balina obukugu okubirongoosa ne bidda buggya. Kyokka kino kyanguwa ng’olina ebiwandiiko kwe wabigulira okwewala ebizibu ssinga mubaamu ebibbe.

 Ying. Fred Jjuuko Wavammuno owa Jjuuko Construction Uganda Ltd agamba nti Ssekukkulu lwe lunaku olukuzibwa buli muntu mu nsi yonna awatali kusosola mu nzikiriza kubanga emirimu gya Gavumenti n’egy’abantu ba bulijjo giyimirira okumala akabanga. Engeri gye lubeera olunaku lw’okusanyuka,

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bobi 220x290

Bobi Wine akukkulumidde Poliisi...

OMUBAKA Robert Kyagulanyi amanyidwa nga Bobi Wine ayombedde e Kayunga olwa kye yayise effujjo lya poliisi okumuwendulira...

Gololaweb 220x290

Golola awonye akatebe

Edward Gololawonye akatebe, bw'aweereddwa omulimu mu Kitara FC eya Big League

Manya1 220x290

Ebyayambye Abenakyo okussaawo likodi...

NNALULUNGI wa Uganda Quiin Abenakyo atikkiddwa engule ya Nnalulungi wa Ssemazinga wa Afrika mu mpaka za Nnalulungi...

Kccaplayers 220x290

KCCA FC yeesasuzza Vipers

KCCA FC ewangudde Vipers ne yeenywerezza ku ntikko y'ekibinja mu liigi ya FUFA Juniors League

Yaya 220x290

Maama wa Muhangi atunuulidde Gavt....

ANGELLA Komuiziire Rwankoore, maama wa Charles Muhangi asabye Gavumenti okubeera enneesimbu, ebizimbe bya mutabani...