TOP

Ayagala okuzimba mu 2019 abakugu bakuwadde amagezi

By Musasi wa Bukedde

Added 29th December 2018

KU nkomerero y’omwaka oba nga gutandika, abantu abasinga balina ebintu bye basalawo okukola mu mwaka omupya.

Kwendi 703x422

Ennyumba bw’oba ogituusizza ku mutendera nga guno giyingire ogimalirize ng’oli munda.

Muno mwe muli okugula poloti, okuzimba oba okumaliriza ennyumba ze baatandikako. Eri abo abaagula edda poloti, kino kye kiseera okukoleramu embalirira yebyetaagisa okuzimba n’okukuba pulaani z’ennyumba ze baagala okukozesa ssaako okutema empenda z’okukung’aanya ssente ze bagenda okukozesa.

Wabula bino byonna ng’obirowoozaako, olina okusooka okutunuulira ennyingiza yo n’amakubo g’ogenda okweyambisa okufunamu ssente.

Kyokka naawe atannaba kukola nteekateeka yonna tolina kuggwaamu maanyi. Osobolera ddala okutetenkanya n’ozimba ennyumba n’owona omuzigo mu 2019.

Kino kitegeeza nti olina okwerumya, okukendeeza ku masanyu ssaako okugaziya amakubo agaleeta ssente kubanga buli ssente gyoteeka ku nnyumba tezza magoba.

ABAFUMBO

  • Muyinza okusalawo okwekubira oba okukubisa bbulooka, okugatta ssente eri abakola ne mufuna ekintu kye mukolako buli mwezi. Muyinza okusalawo okutandika n’ennyumba entonotono mwetegule olubabu lw’okupangisa n’oluvannyuma mulowooze ku nnyumba ennene n’ebirala.
  • Abafumbo ssinga mukkiriza okukolera awamu n’okwenyigira mu kuzimba, temujja kusigala mu muzigo muwone okubakonkona mu 2019.
  • John Kalema ow’e Kyengera agamba nti ekisinga okulemesa abantu okuzimba kwe kwagala okwemalirira n’obuteebuuza. Wabula olina okusunsulamu b’obuuza kubanga abamu tebaagaliza era ajja kukuwa amagezi agagenda okukulemesa mu kifo ky’okugenda mu maaso.

Ate olina kwebuuza ku balina obukugu mu mulimu guno ogw’okuzimba abasobola okukuwa ekifaananyi ekituufu olyoke okole embalirira entuufu.

ABAKUGU BAWABUDDE

  • Agamba nti ssinga yatandika ne ssente ze yalinawo osangayandibadde alina w’atuuse.
  • OKWAGALA OKUZIMBA OMULUNDI OGUMU KWANNEMESA OKUZIMBA
  • lAgamba nti pulaani y’ennyumba etandikira mu mutwe gw’omuntu era bw’asalawo okugiteeka ku lupapula abeera alina n’okutunuulira engeri y’okukung’aanyamu ssente z’okuzimba.
  • lFred Lutaaya omuzimbi mu bitundu by’e Naggalama Mukono agamba nti omuntu yenna ayagala okuzimba mu 2019 alina okusooka okutunuulira ennyingiza ye, obunene bwa famire gy’alina n’ekifo w’oyagala okuzimba naddala eri abo abaagula edda poloti.
  • lLutaaya agamba nti omuntu eyagula edda poloti okuzimba kwakumwanguyira naddala ssinga afuna omuzimbi omutuufu n’amukolera ekibalo ku byetaagisa ne ssente zaabyo nga tannatandika kuzimba. lAgamba nti olw’enkyukakyuka y’emiwendo gy’ebizimbisibwa kizibu okufuna ekibalo ekituukiridde kyokka ofuna ekifaananyi ekikuyamba okukuhhanya ssente. Wabula ono agamba nti ekikulu kya byonna mu bino kutandikako n’ekitono ky’olina naddala eri abantu abeekozesa.
  • Dan Kato ow’e Bujuuko agamba nti yakung’aanya ssente n’agula poloti. Yazzaako okuyiwa omusenyu ne bbulooka ng’ayagala okusitula ennyumba omulundi gumu wabula yafuna obuzibu bizinensi n’emucankalanako ne ssente ne ziggwaawo nga tannatandika musingi.
  • Yategeezezza nti eby’okumala okukung’aanya ssente yabivuddeko era 2019 agenda kutandika n’ekitono ky’alina.

AYAGALA OKUZIMBA MU 2019 KOLA BINO

  1. Enkola ennyangu ye y’okusasula ssente ku dduuka eritunda eby’okuzimba n’obiggyayo ng’otuusizza okuzimba.
  2. Oluvannyuma wandibadde ofuna omukugu n’akubaliramu n’omanya ssente ze weetaaga okusinziira ku bunene n’ekikula ky’ennyumba gy’oyagala omanye n’engeri gyogenda okuzikung’aanyamu bw’oba tozirina. Katende agamba nti eno y’engeri yokka ennyangu ey’okutemamu empenda z’okukuhhaanya ssente z’okuzimba n’okusalawo engeri gy’ogenda okuzimbamu.
  3. Ying. Vincent Katende owa Treasure Consult agamba nti omuntu ayagala okuzimba mu 2019 nga tannalowooza ku kya kugula poloti yandibadde asooka kufuna kirowoozo kya kuzimba.
  4. Agamba nti pulaani y’ennyumba etandikira mu mutwe era kino bwe kiggwa ng’ofuna omukubi wa pulaani n’akuwabula ku ngeri gy’ogenda okukozesaamu poloti yo.
  5. Omuntu ayinza okusalawo okugula ebikozesebwa mpolampola oba n’okuzimba ennyumba mu mitendera okusinziira ku nyingiza ye obutamenyeka nnyo.
  6. Ying. Jeffer Musisi agamba nti abantu tebasaanye kweteeka ku misaalaba na kwekubagiza nti okuzimba kugaanye omwaka guno babiveeko kubanga gyokoma okulwawo n’okweteekateeka obulungi n’okwewala okukola ensobi. Kyokka olina okukimanya nti gy’okoma okulwawo n’ovubunaanyizibwa okweyongera. Ono agamba nti oluusi ekisinga okulemesa abantu bano okuzimba kwe kwagala okukwasaganya ebintu ebingi omulundi gumu. Okugeza waliwo abalina poloti ennyingi nga zonna baagala bazizimbemu mu kiseera kye kimu ng’ate oluusi tebeteeseteese bulungi gye biggweera nga zonna zibalemye. Ono agamba nti kirungi omuntu okuzimba ennyumba egya mu nfuna ye.

EBIRALA BY’OYINZA OKUKOLA OKUZIMBA

  • Weeyigirize okutereka n’okukendeeza ku nsaasaanya yo eya buli lunaku. Okugeza bw’oba olina obusobozi obufuna ssente eza buli lunaku funa ekibiina kyoyingiramu kikuwalirize okubaako ssente z’otereka oba oyinza okufuna bbanka eri okumpi ne w’okolera w’oyinza okuterekanga ssente buli lunaku.
  • Zimba ennyumba egya mu nfuna yo ne sayizi ya famire yo. Tekiyamba omuntu alina famire ey’abantu abana okusitula kalina ng’ate ssente zikwekubya mpi. Zimba ennyumba entonotono eggwe osooke ogaziye enfuna yo oluvannyuma ozimbe ennyumba y’ekirooto kyo.
  • Ennyumba bw’etuuka ku mutendera ng’osobola okugiyingira yadde tennaba kuggwa bulungi, giyingire ogimalirize ng’oli munda. Kino kikuyamba okukozesa ssente z’obadde osasula okupangisa okuzongera ku nnyumba. Okugeza bw’oba obadde osula mu nnyumba ya 450,000/-, kitegeeza nti buli mwezi osobola okugula obusawo bwa seminti 15 obukola omulimu omunene.
  • Afuna omusaala oba omukozi wa gavumenti oyinza okwewola mu bbanka n’ozimba ennyumba omulundi gumu olwo n’okozesa z’obadde osasula landiroodi okusasula ebbanja.
  • Lifuule tteeka okubaako ssente z’otereka buli mwezi kikuyambe okukuhhaanya ssente z’okuzimba.
  • Weenyigire mu mirimu egimu okugeza oyinza okwekubira bbulooka, okwekimira amazzi, okuweereza nga bazimba n’ebirala n’okendeeza ku nsaasaanya. Kozesa ebintu ebikekkereza ng’ozimba okugeza oyinza okukozesa emiti gya kalittunsi okusereka mu kifo kya bbuliti.
  • Oyinza n’okukolayo bizinensi evaamu ssente eza buli lunaku kikuyambe okugayiza ennyigiza yo ne bw’oba ofuna 5,000/- buli lunaku ojja kwesanga ng’omwezi oterese emitwalo 15.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Namu 220x290

Tuzudde enfo ya Mugisha eyattaowa...

Bosco Mugisha eyakwatibwa ku katambi ne Young Mulo nga batuga owa bodaboda, abadde n’enfo mu Ndeeba w’abadde asinziira...

Youngmulo 220x290

Akabinja ka Young Mulo kabadde...

AKABINJA ka Young Mulo, mu myezi mukaaga gyokka kabadde kaakatta abantu 11 mu Makindye ne Lubaga wokka!

Siiga 220x290

Boogedde ebifo gye batunda pikipiki...

Omwogezi wa Poliisi mu ggwanga, Fred Enanga yagambye nti Mulo ne banne baabagambye nti pikipiki ze babadde babba...

Yomba1 220x290

Aba Flying Squad bakutte omulala...

AB’EKITONGOLE kya poliisi ekya Flying Squad Unit bongedde okukwata abagambibwa okutta ababodaboda n’okubabba. Ku...

Dybala 220x290

Juventus etaddewo obukwakkulizo...

ManU eyagala kugula Dybala wabula Juventus egamba nti erina okutuukiriza obukwakkulizo bwonna bw'eba yaakumutwala....