TOP

Okukekkereza lwe kufuuka okw’ebbeeyi ng’ozimba enju

By Musasi wa Bukedde

Added 29th January 2019

OMWAKA 2019 gwakatandika era abantu bali mu kaweefube okutuukiriza ebirooto byabwe omuli okugula poloti, okuzimba n’abamu okumaliriza ennyumba zaabwe bayingire.

Nicehouseinteriorsmallhouseinteriordesignimagessmallhouseniceinteriorsmallhouseinteriordesignideasinteriorhousepaintcolorspicturesinindia 703x422

Olw’ebbula lya ssente, mu kupapiririra abamu beesanze poloti baziguze mu bifo by’omugotteko nga banoonya ebintu ebya layisi.

Kyokka akyalina essuubi okwongera ku ssente z’olina wandibadde topapa kugula ka poloti katono kubanga ebizibu ebiyinza okuddirira okukekkereza biyinza okusinga ebirungi by’ogenda okufunamu.

Ying. James Kato yagambye nti omuntu yenna nga tannaba kugula ttaka alina okusooka okunoonyereza okwewala okugwa mu buzibu. Kino okukikola olina okuba nga weebuuza n’ebibuuzo bino wammanga.

  1. Waliwo abagula poloti nga balina essuubi ly’okugula baliraanwa kyokka olina okusooka okwebuuza okakase oba nga ddala batunda n’okumanya ekika ky’abantu b’oliraanye. Bayinza okuba nga be bano ba sita kange.
  2. Lwaki weetaaga okugula ettaka? Ettaka lyofunye lituukiriza kyoyagala okukolerawo? Ssinga ettaka lino obeera olitunze oluvannyuma osobola okufunamu ssente ezeegasa n’ebirala.
  3. Ying. Kato yagambye nti bw’oba ogula poloti olina okukimanya nti mu mateeka, poloti etaweza ffuuti 50 ku 100 okusinziira ku mateeka agafuga ebitundu kibeera kizibu nnyo okufunirako ekyapa.

EBIVIIRAKO ABANTU OKUGULA BU POLOTI OBUTONO

  • Obwavu, obutamanya n’abantu okwetundako ettaka ly’omu byalo kibaleetedde okuba nga tebakyalina buddukiro okuggyako okwekakaatika mu bufo obutono.
  • Poloti zino zibeera za layisi nnyo ng’abamu bamanyi okuzigujula ne batunda ez’obukadde obubiri okutuuka ku bukadde butaano. Zino ssente tezikaluubiriza nga n’omuntu mufunampola asobola okugigula. Kyokka bw’omugamba okugula eya ffuuti 50 ku 100 ku bukadde 15 oba 20 asanga obuzibu okukuhhaanya ssente ezo ng’ate oluusi ziyinza okumumala okugula poloti n’okuzimba.
  • Enkulaakulana y’ebibuga ebipya n’obungi bw’abantu abeeyiwa mu bitundu bino kivuddeko abantu okwenyiga ku ttaka ettono eririwo. Omuwendo gw’abantu gweyongera buli olukya kyokka lyo ettaka teryeyongerako.
  • Abantu okwagala okusula okumpi n’ebifo we bakolera kibaleetedde okugula poloti zino waakiri bateekewo omuzigo ogumu bave mu bupangisa. Kyokka entambula yeeyongedde okulongooka .
  • Bangi tebaagala kusula mu bitundu biri wala ne gye bakolera olwa jjaamu ne tulansipooti okulinnya. Kati basalawo okufuna poloti obutono okumpi n’ekibuga nga tebafuddeeyo ku bizibu ebinnaddirira.
  • Ennyumba ezisinga ezizimbibwa mu poloti zino tezibeera na pulaani. Mu nzimba eya pulaani, ennyumba ey’amaka erina okutwala ebitundu 40 ku 100 naye wano osanga omuntu ng’azimbye poloti yonna n’agimalayo.

OBULABE OBULI MU KUGULA N’OKUZIMBA POLOTI ENTONO

  • Ne bw’oba otunda kizibu okufuna omuntu akuwa ssente ezeegasa. Abalina ssente tebaagala kusenga mu bitundu bwe bityo. Weesanga ng’osigazza kuguza abateesobola era bano bagula ssente ntono nnyo.
  • Obucaafu obuva ku bufunda bw’ekifo n’enzimba ya kaabuyonjo ekintu ekiyinza okuvaako endwadde ez’obulabe. Abaana basanga obuzibu awaka nga tebalina kifo kigazi we bazannyira wadde okuwummulira mu biseera by’eddembe.
  • Poloti zino tezigabirwako kyapa nga kino kiyinza okukaluubiriza okufuna omuntu akuwaamu ssente eziwera ng’ogitunda. Kizibu nnyo okufuna pulaani y’ennyumba eyakakasibwa okuva mu bakugu. Kato agamba nti mu mateeka poloti entono tebaziyisiza pulaani. Kyokka abamu bakola ensobi ne bazimba poloti yonna ne bagimalayo.
  • Abantu gye bakoma okugujula poloti, kitegeeza nti awandibadde wazimbibwa ennyumba emu, zigendawo ssatu oba bbiri. Omujjuzo gw’abantu guno gujjirako ebizibu ng’obubbi, obucaafu n’entalo ezitatadde.
  • Kizibu okubeerako omulimu omulala gw’okolera awaka. Bwe waba awanene osobola okusimbawo ebikolo by’ebitooke oba n’olundirawo embuzi n’enkoko. Poloti entono ebeera ekufiirizza omukisa guno.

AMAGEZI ERI ABAAMALA OKUZIMBA

  • Kirina okukubeera mu bwongo nti kino ekifo si wosaanidde okuwangaalira. Ssinga kikuyingira mu bwongo, ojja kwekubiriza okukola ennyo osobole okwewala embeera embi. Oluvannyuma osobola okugitunda n’ofuna endala.
  • Okwewala entalo n’okufuna twekisize wandibadde oyiiya mangu n’ozimba bugwe ku nnyumba nga bukyali. Kino kikuyamba okwewala ennyombo ezitatera kuggwa ku bantu abali awamu ennyo.
  • Bwoba tonnaba kuzimba ng’ofunye poloti, waakiri zimbawo ennyumba z’abapangisa, kuba bw’onaazimbawo amaka, olubeerera ojja kusigala ng’olinga apangisa.

ENGERI Y’OKUFUNAMU ETTAKA EDDENE

Kituufu ssente oyinza okuba ng’olina ntono ezitakusobozesa kugula poloti nnene ku kibuga. Kyokka ekibuga n’ebitundu ebikyetoolodde wakula misana na kiro. Omuntu asula mayiro 15 okutuuka ku 25, akyasobola okufuna poloti ya fuuti 50 ku 100 ku bukadde butaano okutuuka ku musanvu.

Bw’obeera onoonya ettaka kiweemu ekiseera weewale okupapa. Waliwo abantu abalina poloti nga bazitunda ssente ntono, kyokka olw’okuba wabeerawo ba bbulooka weesanga nga balyongezza.

Kkiriza enkulaakulana ekusangeyo, bwebeera nga tennaba kujja. Ebitundu ebitaliimu bintu ng’amakubo amalungi poloti tebaziseera.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bim1 220x290

kkooti ewadde ekiragiro ku mpaka...

kkooti ewadde ekiragiro ku mpaka z'obubina

Lop1 220x290

Eyawambye omwana ku ssomero n'asaba...

Eyawambye omwana ku ssomero n'asaba ssente poliisi emukutte

Kis1 220x290

Omulimu gw'okuzimba ekisaawe kya...

Omulimu gw'okuzimba ekisaawe kya Nakivubo gutambula bulungi

Sarangabaagaembuzinekikondekyekunokwebayitaokugikubaekikondeweb 220x290

Ntunda mitwe gya mbuzi okuweerera...

Emitwe gy'embuzi gye nsasulwa mu kuzibaaga mwe mpeeredde abaana n'okwongerako emirimu emirala.

United1 220x290

Kiikino ekizembe kw’olabira Dubai...

DUBAI eyongedde okussaawo likodi! Ku kizimbe ekisinga obuwanvu mu nsi yonna, egasseeko ekizimbe ekyakulanga “Fuleemu”...