TOP

Ennyambala y’abakyala ebatambuza n’omulembe

By Musasi wa Bukedde

Added 4th March 2019

LWA March 8 lunaku lw’abakyala mu nsi yonna. Mu kisaawe ky’emisono, waliwo abakyala abafaayo okutambula n’omulembe, era nga kizibu okumusanga nga tatuukiridde mu by’ayambadde n’engeri gye yeeyooyooseemu. MARY NAMBWAYO yatuukiridde abamu ku bakyala abeekuumira ku mulembe mwaka ku mwaka ne bannyonnyola engeri gye bakikolamu.

Jubilee 703x422

Desire Luzinda mu misono egimunyumira.

DESIRE LUZINDA Ono y’omu ku bayimbi abambala emisono egimunyumira. Ekirungi nti ffi ga ye enyumira buli ky’ayambala ate ng’afaayo okwenyiriza.

Ayambala emisono mingi era buli musono omupya ogujja afuba okugwambala asobole okutambula n’omulembe. “Okwambala nkuwa ekitiibwa kubanga abantu bangi abandaba era bye nnyambala birina okuba nga binnyumira.

Nnyambala ebiteeteeyi, ‘jump suit’, gomesi, empale za jjiini wabula ng’olugoye lwe nnyambala lusinziira ku mukolo gwe ηηendako.

Ate engeri gye nina ffi ga ennungi ntera okwambala engoye ezinkwata ffi ga yange esobole okuvaayo bulungi,” Luzinda bw’agamba.

1 Agattako nti; Gomesi nzambala kubanga ndi mukyala Muganda ate nkyenyumirizaamu nnyo era zino nzambala ηηenda ku mikolo gy’obuwangwa ng’okwanjula, okukyala wamu n’emikolo gy’ekikungu.

2 Ebiteeteeyi nnyambala ebinkwata era mbyambala mu langi ez’enjawulo ate nga bye biriko mu kaseera ako ate nga bya mutindo. Bino mbyambala ku mbaga, obubaga ne bwemba ku mirimu gyange egy’okuyimba.

3 ‘Jump suit’ nnyambala za kiraasi era nga zimpeesa ekitiibwa. Zino nzambala mu kaseera konna wamu ne ku mikolo gyonna. Ate empale nzambala bwe mba ηηenda okuyimba naye nga ntera kuzambala kiro naddala nga nina ekivvulu kuba zinkolera.

Luzinda agamba nti abantu abamutungira engoye bangi, wabula akozesa abo abalina ekitone mu by’okutunga kubanga baba bafuna engeri ez’enjawulo empya ez’okutungamu engoye ze naddala engoye z’ayambala ku mikolo gya ‘red carpet’. Mu bamutungira mulimu Kaivo Collection, Sham Tyra, ssaako Lillian Sheila amutungira ez’emikolo gya ‘red carpet’.

Matiiriyo z’ayambala zirondebwa abatunzi ababeera bagenda okumutungira olugoye. Wabula ayagala nnyo matiiriyo z’engoye ezinaanuuka nga ηηumu kubanga zibeera nnungi ku muntu alina omubiri oguli awamu.

“Bwe kituuka ku ngatto, njagala nnyo engatto z’akakondo akawanvu kubanga zimpa obuvumu ate zinnyamba okwambala obulungi, zirabisa bulungi n’ekintu ky’oba oyambadde n’osobola okunyuma.

Okusinziira ku mulimu gwange nsobolera ddala okwambala akakondo akawanvu kubanga nazimanyiira okuviira ddala nga naakamaliriza okusoma siniya era awo we neeyigiririza okwambala obukondo obuwanvu.”

Luzinda agamba nti mu kaseera kano ekisaawe ky’emisono kyongedde okubeera ekirungi kubanga abantu bangi abajja ate nga balina ebirowoozo eby’enjawulo okubeera nga kitambula bulungi.

Dizayini nnyingi ezizze, matiiriyo nnyingi ate ennungi mu katale ekiyambye abantu okusobola okwekulaakulanya ate nga basobola okukola engoye.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Funa 220x290

Eyantwala ku yunivasite yanzitattana...

NZE Jennifer Alwoch 26, mbeera ku kyalo, Adyel mu Lira. Bazadde bange bampeererako okutuuka mu S6 naye ssente ezinyongerayo...

Ssenga1 220x290

Lwaki mpulira sirina maanyi ga...

SSENGA mpulira nga sirina bulungi maanyi ga kisajja. Naye bwe neegatta amaanyi ngafuna bulungi naye ndowooza nti...

Ssenga1 220x290

Ensundo ya muganzi wange entiisa...

SSENGA nnina omuwala gwe njagala naye alina ensundo empanvu ku kisambi. Mugamba agende mu ddwaaliro agamba nti...

Buget 220x290

Palamenti eyisizza bajeti ya 2019/20...

PALAMENTI eyisizza bajeti y’omwaka gw’ebyensimbi ogujja ogwa 2019/2020 nga ya Tuliliyooni 40 (Bwe buwumbi emitwalo...

Note 220x290

Omugga Ssezzibwa guwagudde ne gutwala...

OMUGGA Ssezibwa gubooze ne gutwala omwana abadde agenze ne banne okuwuga. Omwana amazzi gwe gaatutte abadde agezaako...