TOP

Emmere eng’anda ennyamba okunyirira - Paasita Jessica Kayanja

By Musasi wa Bukedde

Added 4th March 2019

Paasita Jessica Kayanja mukyala mumanyifu era nga mubuulizi wa njiri ku kkanisa ya Miracle Centre. Ye mukyala wa Paasita Robert Kayanja.

Record 703x422

Alina ekibiina ky’akulira ekya Girl Power Ministry nga kiddukanya emirimu egyenjawulo egikwata ku bakyala n’abawala.

Bw’omutunuulira ye mukyala ayambala obulungi era nga naawe wamusanze obeera toyagala kumuggyako maaso, ku ngeri gye yeefaako oba gy’alabika.

Bwe twayogeddeko naye yatunnyonnyodde by’akola okulabika obulungi. “ Bwe kituuka ku ky’okwambala, muwala wange Nakato Kayanja ng’ono asoma eby’emisono mu ttendekero erimu e mitala w’amayanja y’annondera emisono eginkuumira ku mutindo.

Nnyambala engoye ez’enjawulo era emisono egisinga ngyambala.

Ntera kwambala engoye ezitungiddwa mu matiiriyo ezaffe ez’ekiddugavu oba “prints” nga nnyangu okufuna n’okuzikolamu ky’oyagala.

Ku mulimu gwe nkola nnyambala kakondo ennaku ezisinga ne sifuna buzibu kubanga natandika dda okwambala akakondo nga nkyasoma.

Era buli lwe njagala okunyuma nakizuula nti okuwanvuwamu ko kulina kye kunnyongerako n’okulabika nga ndi wa mulembe era kimpa emirembe bwemba nzambadde.

Mu kiseera kino emisono gikyuse nnyo kubanga kati omuntu okunyuma talina kwetimba nnyo oba kwambala bimasamasa nga bwe gwalinga edda.

Bwe kituuka ku ky’okukuuma olususu lwange, nakizuula nti emmere eyaffe eηηanda nga lumonde ne muwogo birimu ekiriisa ekisinga omugaati n’etayonoona mubiri.

Noolwekyo nfuba nnyo okulya nga bajjajjaffe bwe baalyanga ne nkuuma olususu lwange.

Ekirala olususu luddaabirizibwa ebibala nga ovakkedo n’ebintu ebirala okuli ekigagi n’ebikoola by’amapaapaali nga byonna bikola kinene nnyo okuzzaawo n’okukuuma olususu nga terukaddiye.

Kw’ebyo kwe ngatta ebizigo olususu bye luba lusiimye. Ekisembayo, omwami wange bw’asalawo okuntwalako awutu ng’enjogera yennaku zino bw’eri, njagala nnyo okulya ku “Restaurant” gye bayita “VERSES” ng’esangibwa e Lubaga ku luguudo lwa Nabunya kubanga emmere yaabwe ηηanda ate tebasiika.

Bino byonna mbikola okukuuma omubiri gwange wamu n’olususu ne ndabika bulungi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Capture 220x290

Gavumenti yeetaaga obuwumbi 130...

Gavumenti yeetaaga obuwumbi 130 okusasula aba LDU

Capture 220x290

Ekirombe ky'amayinja kibuutikidde...

Ekirombe ky'amayinja kibuutikidde bana

Kavuma1jpgweb 220x290

Omukazi yanfera omukwano

Nze Abdurrahman Musingunzi 25, mbeera Kalerwe. Twasisinkana n’omukazi mu ttendekero erimu eryobusomesa e Ibanda...

Mwana2jpgweb 220x290

Abazadde basobeddwa olw'omwana...

Abazadde basobeddwa olw'omwana waabwe okuyubuka olususu buli olukya naye nga tebamanyi kimuluma. Bagamba nti omwana...

Kadaga 220x290

Kadaga alabudde abakozesa obwana...

Sipiika wa Palamenti, Rebecca Kadaga asabye gavumenti okussaawo amateeka amakakali agakangavvula abakozesa abaana...