TOP

Engoye z’emivumba nazigoba

By Musasi wa Bukedde

Added 23rd March 2019

ABAWALA bangi babeera ne ssente ezisobola okwambala ne banyuma kyokka ng’ekizibu kye balina kufuna kituufu kye balina okwambala. Kino si bwe kiri ku Tianah Nakawuki ow’e Namasuba. Ono alina ekyuma ekikola ayisikuliimu era y’omu ku bawala abafaayo okwambala ebiri ku mulembe. Agamba nti anoonyereza nnyo ebiba bizze ku katale n’abigula. Bino n’ebirala yabinnyonnyodde PATRICK KIBIRANGO.

Worthy 703x422

Nakawuki mu musono gw’empale ne bbulawuzi ebinyuma ku mukolo. Ate ku ddyo, Zino zinyuma mu biseera eby’eddembe.

ENGOYE

Sirina lugoye lwe nnyambala ne lutannyumira, wabula nga nsinga kwettanira empale empanvu ezambalwa mu ofi isi n’ebiteeteeyi. Nfaayo okumanya engoye empya eziri ku katale era kiba kizibu okumpitako.

Ennaku zino, engoye ezijjira mu ‘two piece’ ng’oluusi ebeera sikaati ne bbulawuzi, empale empanvu ne bbulawuzi oba empale ennyimpu ne bbulawuzi bye bimu ku biriwo, era tebindese mabega.

Zino nzirina mu misono egy’enjawulo era nga nnina edduuka e Kibuye mwe ngula engoye.

Zino nzigula okuva ku 40,000/- okudda waggulu. Engoye nnyambala mpya, emivumba sitera kugyettanira kubanga gikaddiwa mangu ate teginyirira bulungi.

ENVIIRI

Mu biseera by’omusana ntera kusiba wiivu nnyimpi okwewala ebbugumu. Bwemba nsibye nsaasaanya 65,000/- oluusi n’okusingawo okusinziira ku kika kyemba nguze. Ate mu biseera by’enkuba ng’eriyo empewo, ntera okusiba dukeedi nga zino zimmalako 120,000/-.

Zino nzimazaayo wakati w’emyezi etaano n’omunaana, ne ndyoka nzikola oba okusiba omusono omulala.

ENGATTO

Nsinga kwettanira engatto z’obukondo obuwanvu naddala mu langi enzirugavu kubanga bunyumira kwenkana ku buli musono. Ekirala langi enzirugavu teboola lugoye.

Zino nzigula okuva ku 70,000/- okudda waggulu. Wabula n’obugatto bwa fulaati nabwo mbwambala, naddala ekika kya ‘craft’.

Buno bunyuma mu biseera eby’eddembe naddala nga ηηenzeeko ku bbiici okuwummuza ebirowoozo n’okulya ku bulamu. Buno mbugula 20,000/- okuva mu bifo ebibutunda.

OLUSUSU

Olususu lwange Katonda yannyamba kubanga si lwa ntondo ate nga lulungi noolwekyo sitera kulumalirako nnyo budde okuggyako okulunaaba ne ssabbuuni wa Culter Natural Soothing alukuuma nga luweweevu ate ne lusigala ku langi yaalwo.

Bwemba njagala okwekolako okugeza nga ηηenda ku mukolo, nnina ebintu byange bye nkozesa omuli ‘foundation’ ‘concealer’ , ekkalaamu, ‘bronze powder’ ne lipusitiiki.

FFIGA

Ffiga yange ya kigero era okugikuuma nga tetaataaganye, nfaayo ku ndya yange naddala okufuba okulaba nga sikyusakyusa budde bwe ndiiramu. ηηenda mu jjiimu buli lwa Ssande ng’oggyeeko ezimu lwe nnemererwa.

Kuno ngattako n’okunywa amazzi agabuguma nga mulimu enniimu. Gano nganywa ku makya okusobola okusala amasavu naddala mu lubuto. Enjala nazo nzikolako ne zirabika bulungi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lab2 220x290

Ekibiina ekigatta bannannyini mawoteeri...

Ekibiina ekigatta bannannyini mawoteeri kivuddeyo ku bye bbibiro lya Murchion Falls

Afiiriddemukkanisa3 220x290

Afiiridde mu kkanisa

Poliisi y’ekitundu ereese kabangali okutwalirako omulambo mu ggwanika kyokka abagoberezi ne bagiremesa nga bagamba...

Dsc8388 220x290

Weewale okukuba endobo mu mmotoka...

N (Neutral) baagiteeka mu mmotoka si kugikozesa kukuba ndobo wabula kwawula D (Drive) ne R (Reverse).

Abasubuuzingabatunuliraemaaliyabweeyayidde2 220x290

Omuliro gusaanyizzaawo ekibanda...

Bano balumiriza omukulu w’essomero lya Biral P/S, Tekana Bruhan erisangibwa e Bwaise okuba emabega w’okwokya ekibanda...

Lop2 220x290

Ssebo Square Milez omukono teguwaba...

Ssebo Square Milez omukono teguwaba