TOP

Langi efaanana olususu tekka bbeeyi

By Musasi wa Bukedde

Added 23rd March 2019

BULI muntu awulira bulungi ng’ayambadde olugoye, engatto oba okukwata ensawo nga buli akulabako atendereza nga bw’olabise obulungi, era olunaku olwo lukunyumira bya nsusso.

Wano 703x422

Omuwala mu langi efaanana olususu.

BULI muntu awulira bulungi ng’ayambadde olugoye, engatto oba okukwata ensawo nga buli akulabako atendereza nga bw’olabise obulungi, era olunaku olwo lukunyumira bya nsusso.

Ivan Muwanguzi, omukugu mu by’emisono owa Ivan The Designer mu Mukwano Arcade agamba nti emisono mingi egizze ne gigenda naye omusono gw’ebintu ebya langi ya ‘nude’ oba eyitibwa langi efaanana n’olususu buli w’okyambalira obeera ku mulamwa.

Langi eno eri wakati wa kitaka ne ppinka ow’amazzi era buli lw’ogyambala oba okukwata ensawo eri mu langi eno, toyinza butanyuma ne bw’obeera muddugavu.

Esinga kwettanirwa beeru, wadde nga n’omuddugavu bw’agyambala era emulaga nti ddala wa bbeeyi era n’ebyokwambala abitegeera.

NGYAMBALA NTYA?

Olw’okuba langi eno ebeera nzikivu, olina okwambalirako langi eyaka okusobola okugicamula obulungi. Weewale okugyambala ku nkuba naddala ng’ogyambadde mu mpale empanvu, sikaati oba engatto.

Olina okugyambala nga weegendereza kuba eddugala mangu ng’era kyonna ekigikoonako naddala ettaka likwata mangu ate nga lirabika.

Langi zino teziboola era osobola okuzambalirako langi ez’enjawulo nga bw’oyagala n’olabika bulungi.

Wabula bw’oba oyambalirako langi enjeru oba eya kyenvu, engatto, ensawo, sikaati oba ekintu kyonna ky’oyagala okwambalirako kirina okuba nga zitobekebwamu langi ezisukka mwemu, ojja kunyuma.

Teziboola ngatto era osobola okugyambalirako buli langi oba ekika ky’engatto okusinziira ku bw’oyagala okufaanana ne gy’olaga.

Ate teboola myaka nga n’abakulu abatambula n’omulembe basobola okugyambala era ne banyuma, kasita oyambalirako ebiginyumisa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mknmu21 220x290

Ababadde batwala omulambo batuuyanye...

Abatuuze ku kyalo Nassuuti mu munisipaaali y’e Mukono baasitaanye okufuna ebiwandiiko ebitambuza omulambo gwa munnaabwe...

1bc8d9398e5f4a07a3307fdfeb1d90ad 220x290

Kasujja omukulu w'ekika ky'Engeye...

OMUTAKA Hajj Mohamood Minge Kibirige Kasujja abadde akulira ekika ky’engeye obulwadde bwa sukaali ne puleesa bimugye...

Mkncov11 220x290

Ab’e Mukono batandise ekifo aw’okukuumira...

Ab’e Mukono batandise ekifo aw’okukuumira abateeberezebwa okuba ne Coronavirus

414009d1dd2349e0bd6b4678886a42d21 220x290

Kabaka awaddeyo obukadde 100 okuyamba...

KABAKA Ronald Muwenda Mutebi II addukiridde Bannayuganda n’obuyambi obw’enjawulo obubalirirwa obukadde 100 ng’ensimbi...

Lop2 220x290

Omusumba Bp. Silvester Kisitu asabye...

Omusumba Bp. Silvester Kisitu asabye Bannayuganda okubeera abaweereza abalungi