TOP

Genderera bino ng’ozigula amaaso

By Musasi wa Bukedde

Added 23rd March 2019

OMUKYALA bw’agenda akula, olususu olwetoolodde amaaso oluusi luzigama, afuna enkanyana ne wansi w’amaaso okuzimba (eye bugs) n’atalabika bulungi. Era abakyala abatambula n’omulembe obuzibu buno abasinga babubikka ne dikini gwe beesiiga ayitibwa ‘concealer’ naye obuzibu buba tebuvuddeewo.

10429864beautifulyoungafricanamericanwomanapplyingmakeupusingeyeshadowbrushwithacosmeticscomp 703x422

ENGERI GY’OGAZIGULA

 Gamasaaginge

Bryan Ssemanda owa Bryan’s Naturals / Beauty Tips omukugu mu kuzigula abakyala agamba nti amaaso gayinza okuleetera okulabika obubi ssinga gabeera gamyuse olw’omwenge oba nga tofuna tulo ekikuleetera okufuna ebisawo wansi w’amaaso n’olabika bubi.

Ate olw’okuba olususu olwetoolodde amaaso lwa luwewere, bw’ofuna ebisawo bino wansi w’amaaso bireeta n’enkanyanya.

Ng’oyagala amaaso go galabike bulungi, sooka ozigule olususu olugeetoolodde.

Kozesa ebizigo oba woyiro omulungi naddala ow’ebinazi (olive oil) omasaaginge wansi ne waggulu. Ku kiriba ky’eriiso waggulu masaagingako ng’ova mu nsonda y’eriiso okulinaana ennyindo ng’ozza wabweru ku luuyi lw’amatu ne wansi okole kye kimu.

Ate tokoma ku maaso gokka, ffeesi yonna gimasaaginge ng’okozesa woyiro ono, ojja kulabawo enjawulo.

 Ate amaaso bwe gaba gaddugaaliriride, gakooye nga tokyayagala na kutunula, oyinza okukozesa cucamba, amata oba amazzi.

Funa ppamba omunnyike mu mazzi oba salaasala cucamba nga mwetooloovu. Weebake kya bugazi ozibirize n’oluvannyuma leeta ppamba oba cucamba okawummuzeeko.

Wummulamu okumala eddakiika 30. Kiyambako okuddaabulula amaaso ne gacamuka ekikuleetera okulabika obulungi.

Okwerusa amaaso. Kamula omubisi gw’enniimu ogunaabe mu maaso gumale okukubalagala kuba guyamba okwerusa amaaso n’olabika bulungi.

 Mu ngeri y’emu, oyinza n’okukozesa amata okwerusa amaaso. Teeka amata mu kasaanikira obikke ku liiso okumala eddakiika 30 gajja kutereera. Kikole buli lunaku ng’ogenda okwebaka.

 Tokwata mu maaso na ngalo kuba ogateekamu ebicaafu n’obuwuka ekiyinza okugalwaza n’olabika bubi.

Mu mbeera eno, oyinza okukozesa akatambaala oba ppamba nga biyonjo. Togalwisaako bya kwekolako kuba biyinza okugalwaza.

Kakasa nti omala kuganaaba bulungi nga tonneebaka.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Tta 220x290

Poliisi erambuludde engeri gy'okufunamu...

OLUVANNYUMA lw’omugagga Ali Jabar okuyingira n’emmundu mu ddwaaliro lya Kampala Independent Hospital n’agikwasa...

Ebibuuzo ebikyebuuzibwa ku nfa...

AMAZE ekiseera ng’atambulira mu kutya. Emirundi mingi wadde alina emmotoka nnyingi awaka, abadde azirekawo n’atambulira...

Panda 220x290

Omugagga eyakubiddwa essasi afudde...

Omwaka oguwedde, Jabar Alseyed yakwatibwa abajaasi b’ekitongole kya CMI ng’ateeberezebwa okubaako ky’amanyi ku...

Yimba 220x290

Ebipya bizuuse ku mugagga eyattiddwa...

GEN. Jeje Odongo yagenze mu ddwaaliro ng’ayagala okuzuula ekituufu ku ngeri mukwano gwe gye yakubiddwa essasi ne...

Everywarlordsfavouriteassaultrifleisgettingrebranded324bodyimage1417556752 220x290

Poliisi ekutte abazigu 9 n’emmundu...

POLIISI egudde ku kabinja k’abazigu akalala akabadde katigomya ebitundu bya Bwebajja ne Ntungamo n’ekwatako mwenda...