TOP

Bakka alaze ekitta ensusu z’abawala

By Musasi wa Bukedde

Added 1st April 2019

Amanyi engeri y’okutobeka engoye n’ebintu ebirala byazambalirako n’awooma. Yayogedde ne LAWRENCE MUKASA n’amunnyonnyola ebintu eby’enjawulo ebimuyamba okwambala n’anyuma.

Gato 703x422

Bakka ng'anyumidde engoye

WALIWO enjawulo wakati w’okwambala n’okwesuulirako olugoye n’otambula. Kye tuyita okwambala ye muntu okuggunda olugoye n’atambula nga buli gw’ayitako amwenya yekka mu mutima, ate okwesuulako ye muntu okweyiwako ekigoyegoye n’akuyitako n’otofuna na maanyi gakyuka kutunula kulaba ani akuyiseeko. Ruth Bakka 22, ow’e Kawaala nga muyimbi ate ng’alina n’edduuka ly’engoye e Wandegeya y’omu ku bawala abambazi era ng’ono akuyitako ng’oli n’owewuwo n’amukwerabiza .

“OMUWALA amanyi okwambala nga tannatunuulira bulungi bwa lugoye, alina okusooka ne yeemanya enkula y’omubiri gwe, langi y’olususu lwe ne sayizi ye awo n’alyoka asonga ku lugoye olunaamunyumira.

Waliwo abawala abamu abambala engoye ez’ebbeeyi ate ne batanyuma era nga bw’omusanga oyinza okulowooza nti yalweyazise, lwali lwa mugenzi, oba nga gwe yaluguzeeko yabadde mulwadde wa maaso.

Omuwala atambula n’omulembe asooka n’amanya bwe batobeka langi n’atafuna bukuubagano mu by’ayambadde. Nze bwemba nnyambala olugoye nsooka ne ndowooza ku nviiri ze nsibye, engatto ze ηηenda okwambalirako, ensawo gye ηηenda okukwatirako awo ne ndyoka nfuluma.

Naye kino abawala abamu tebakifaako. Okugeza omuntu ssinga oyambala langi eyaka ennyo waggulu, ate wansi toyambalirako eyakaayakana, ojja kufaanana bulala. Kiba kirungi n’otobekamu langi enzikivu olwo ky’oyambadde waggulu n’evaayo bulungi era kijja kuba kizibu obutanyuma.

Nga tonnaba kwambala lugoye, sooka otunuulire ekika ky’engatto ky’ogenda okulwambalirako.

Waliwo omuwala lw’ayambala olugoye n’aluteekako ekigatto n’afaanana atamanyi by’aliko, so ng’olugoye lulungi, naye engatto n’erutta.

Eno y’ensonga lwaki kyandibadde kirungi, bw’oba ogula olugoye n’osooka weefumiitiriza oba ng’olina engatto eneerugenderako, bw’oba togirina n’ogula eneerugenderako.

Ekirala kirungi n’ogula engatto eneekuwa emirembe n’olema kutambula ng’owenyera kubanga ne bw’onooba onyumye abakulaba bajja kukuyisaamu amaaso.

EBIRALA EBIMUFUULA OW’OMULEMBE

Olususu: Akasusu kange nkasiigako akazigo ka Movit Jerry kubanga kano kaleka olususu nga lukyali ku langi yaalwo eya nacco. Tekaganya birwadde bya nsusu kululumba ate nga kampa emirembe.

Ekisinga okutta ensusu z’abawala kwe kwagala okufaanana abantu abalala kyokka ne beerabira nti omuntu bw’obeera wazaalibwa ng’oli muddugavu bwe weeyerusa olabika bulala. Akazigo ke neesiiga kammalako 10,000/- mu maduuka agatunda ebizigo.

Enviiri: Zino nazo nkulu nnyo ku ndabika y’omuwala.

Buli lw’oyambala olugoye olulungi naye ng’enviiri tezifaananika obeera ng’ayozezza n’oyanika mu ttaka.

Nze enviiri nettanira ekika kya ‘Human’ kubanga zino teziboola ngoye ate ng’osobola okuzikolamu sitayiro gy’oyagala nga n’oluusi abamu bamanyi n’okuzisibako obutambaala ne banyuma ate abalala baziteekamu ekimuli ne basukka.

Enviiri zange nzisibira ku Jay Saloon e Wandegeya era nga zitandikira ku 150,000/- nokwambuka waggulu.

Ffiga: Mu bulamu bwange seegombangako kubeera muwala munene, era ndi mumativu nnyo ne Katonda kye yampa.

Y’ensonga lwaki buli lugoye lwe nnyambala lunnyumira. Njagala nnyo okusigala nga bwendi era kwe kusalawo okwerekereza ebikoko byonna n’ebisiike era nga nze ewange tewabula mmere ηηanda nga amatooke, lumonde, ebinyeebwa, ebijanjaalo n’enva endiirwa.

Nettanira nnyo n’ebibala naddala emiyembe ne bbogoya kubanga bino bikuuma omubiri nga tegugejja.

Enjala:

Ng’omu - wala atambula n’omu- lembe sisobola kwerabira njala kubanga zino ne bw’oyambala n’onyuma nga tozifuddeeko osuula obubonero kubanga zirabika mangu eri abakulaba.

Nzisiigako kacutekisi akagendera ku ngoye zemba ηηenda okwambala wiiki eyo. Enjala bwe nzisiiga, zimala wiiki nnamba ne ndyoka nkyusa ne nsiigako omulala.

Okuziyooyoota nsasula 20,000/- oba 25,000/- okusinziira ku kifo wemba nzisiigidde.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pp 220x290

Abayimbi Bannayuganda battunse...

Abajamaica;Christopher Martin ne D-Major bakubye Bannayuganda emiziki egibaccamudde

Hse1 220x290

By’olina okumanya ng’ogula ennyumba...

Kya makulu omuntu akuguza ennyumba okukuwa ppulaani yaayo n’ogiwa omukugu nagyetegereza okukakasa nti ebiriko byagobererwa...

Ssenyonjo 220x290

Poliisi ezudde ebipya ku yatema...

POLIISI ezudde ebipya ku musajja Hamidu Ssennyonjo amanyiddwa nga Munomuno omu ku bagambibwa okuyingirira omugagga...

Mayiga 220x290

Katikkiro alaze engeri ebbula ly’amazzi...

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga ayongedde okukkaatiriza obukulu bw’amazzi mu bulamu bw’abantu n’agamba...

Bazigu1 220x290

Abazigu balumbye amaka e Munyonyo...

ABAZIGU balumbye amaka e Munyonyo ne batemaatema omukozi w’awaka Isa Birimusho n’okumusiba akandooya ne bamuleka...