TOP
  • Home
  • Akezimbira
  • Engeri gy’okuuma ennyumba yo mu mbeera ennungi nga tennaggwa

Engeri gy’okuuma ennyumba yo mu mbeera ennungi nga tennaggwa

By Musasi wa Bukedde

Added 1st April 2019

JUSTINE Nansasi, 45, omutuuze w’e Kawempe mu Tebuyoleka Zooni, mu ggombolola y’e Nangabo alina ennyumba gy’azimba ya bisenge bitaano.

Soma 703x422

Okuzimba ennyumba ng’eno weetaaga ssente eziwera.

Okuzimba yakutandika mu 2016 naye olw’okuba alina obuvunaanyizibwa bw’okuweerera abaana n’okulabirira famire ye, kino kiremesezza ennyumba ye okuggwa.

Yategeezezza nti azimba awummulamu olw’obuvunaanyizibwa obungi bw’alina, wabula olumu bw’afuna obudde ayitayo ku sayiti okulaba embeera ennyumba ye gy’erimu.

Agamba nti bwe yali tannaba kukiggala, lumu kyamubuukako bwe yasanga ng’omu ku baliraanwa be gwatalabangako ng’apanze bbulooka ezisoba mu 1,000 mu nnyumba ye.

Yagenda okwetegereza ng’ekisenge ky’ennyumba ye kitandise okuggyamu enjatika. Ensonga zaggwera ku LC.

Ying. Chrizestom Mayiga owa Design Technocrats Ltd agamba nti okwewala ennyumba yo okusalimbiramu abantu abakyamu, okuyiwamu kasasiro, abaana okuzannyiramu n’ebirala nga tonnaba kuyimirizaamu ku mutendera gwonna, waliwo ebintu ebikulu bye weetaaga okugoberera okukuumira ennyumba yo mu mbeera ennungi.

Agamba nti mu ntandikwa buli kimu kiyinza okutambula obulungi naye wakati ng’ozimba oyinza okufuna okusoomoozebwa omuli: ssente okuggwaawo, enkaayana z’ettaka n’ebirala.

Ensonga nga zino ziyinza okukuviirako okuyimirizaamu pulojekiti y’okuzimba ku buli mutendera gw’oba otuuseeko ng’olina n’okuwummulamu.

WANDIWUMMULIDDE KU MUTENDERA KI ng’ozimba?

Ying. Mayiga agamba nti ng’ozimba ennyumba eya kalina, kyandibadde kirungi okukoma ku siraabu ng’omaze okuyiwa enkokoto kubanga yo esobola okutangira ennyumba okukosebwa embeera y’obudde okugeza enkuba.

Azimba ennyumba eya bulijjo (bungalow), bw’oba osazeewo okuzimba mu mitendera, wandibadde owummulira ku mutendera gw’okusiba bbiimu kubanga wano obeera omanyi nti osigazza kusereka.

ENGERI GY’OKUUMAMU EKIZIMBE KYO KU MUTENDERA KW’OBA OWUMMULIDDE

  • Richard Njakasi omuzimbi mu kkampuni ya Real Estate Engineers Ltd agamba nti bw’oba onoozimba mu mitendera, olina okulaba nti ekizimbe kibikkiddwa n’ekiveera ekigumu nga kiddugavu ekya Dump Proof Course (DPC).
  • Ayongerako nti okuzimba bwe kuba kwakutwala ebbanga ddene okuddamu, osobola okukuba pulasita ew’ekiseera n’okubikkako obuveera okukuuma by’ozimbye nga tebyonooneddwa musana na nkuba.
  • Ying. Mayiga agamba nti nga tonnayimiriza mu kuzimba, olina okulowooza ku bbanga ly’osuubira okuddamu okuzimba.
  • Bw’oba omaze okuyiwa siraabu, balina okuyiwako amazzi n’omusenyu ogutaliimu sementi bw’oba ogenda okuddamu okuzimba mu bbanga eritali lyewala. Kino kiyamba okukuuma empewo eyeetagibwa okukaza enkokoto.
  • Empagi za sheedi ku lubalaza osobola okuzisibako emiti, obuveera oba amabaati okuziyiza abaana okuzesuubirako.
  • Mayiga agamba nti osobola n’okupanga bbulooka n’omusenyu nga temuli sementi mu bituli byonna eby’amadirisa n’enzigi nga ggwe wekka akikoze ggwe okimanyi abantu obutagizannyiramu. Oba oyinza okukubamu emiti oba amabaati.

BY’OKOLA NG’OZZ EEMU OKUZIMBA

  1. Ku mutendera gwonna omuntu gw’oba okomyeko, Njakasi awabula nti ennyumba terina kumala bbanga lisukka myezi mukaaga nga tennaba kuddamu kuzimbibwa kuba eyonooneka.
  2. Mayiga agamba nti okuleka ennyumba ebbanga eddene, bbulooka naddala ez’ettaka ezitaggya bulungi zimanyi okukunkumuka oba okukulukuta naddala mu biseera by’enkuba. Bw’oba oddamu okuzimba, kyandibadde kirungi kkoosi eziri waggulu n’ozikoonako ne baddamu okuzizimba.
  3. Ennyumba bw’oba wagituusa ku woolo puleeti togeza okukomererako emiti nga tonnaba kufuna mabaati. Enkuba bwekuba emiti gino ate ne gyakako omusana bigyonoona ne gikyama oba okuvunda nga giruddewo ekiyinza okukwonoonera ssente.
  4. Akaatiriza nti nga tonnaba kuddamu kuzimba, osaanye okusooka okukebera enjatika n’obuzibu bwonna bw’eba efunye. Bwe bubaamu olina okusooka okubutereeza nga tonnaba kuddamu kuzimba.

EKYANDIKOLEDDWA

  • Yagambye nti obugazi bw’ensawo ya nnannyini nnyumba n’omutindo gw’ebikozesebwa nga seminti, omusenyu, emitayimbwa n’amabatti birina okutunuulirwa ng’omukugu akola bajeti y’okuzimba.
  • Ayongerako nti enkolagana n’okuwulizigaanya wakati wa nnannyini kizimbe n’omuzimbi nakyo kikulu kubanga bonna kibayamba okutuukiriza ebigendererwa byabwe n’okumaliriza ennyumba mu kiseera kye baba balagaanye.
  • Ying. Johnson Mubiru owa God is Able Consructors Ltd, agamba nti okwewala okudda emabega, kyandibadde kirungi omuntu ategeka okuzimba okusooka okukuba pulaani.
  • Nannyini nnyumba alina okutereka ssente ezimala wadde nga tamanyi bulungi muwendo gwa ssente ogunaamumazaako.
  • Ying. Mayiga yawabudde bannannyini mayumba okukozesa abazimbi abeesimbu n’okwebuuza ku bakugu ng’abakubi ba pulaani, n’abazimbi ne kibayambako okukola ekibalo.
  • Okwetegeka nakyo kikulu, omuntu bw’ofuna ssente wadde nnyingi nga tonnaba kutandika kuzimba, olina okusooka okwetegeka obulungi. Ssente ziyinza okukubulankanako.

OSOBO LA OKULIMIRAWO NGA BW’OGIKUUMA

Micheal Kasirivu ow’e Ntaawo - Mukono yazimba ennyumba ye mu mitendera era mu myaka ebiri n’ekitundu yali agiyingidde.

Agamba nti yalina pulaani y’okusooka okuwasa mukyala we n’oluvannyuma atandike okuzimba.

Okusinziira ku ssente ze yalina, yali akibaze ng’ennyumba agenda okugivaako ng’amaze okugikomerera kyokka zaakoma ku woolopuleeti.

Oluvannyuma yalwana n’agikomerera. Kye yakola kwe kuteeka amabaati mu madirisa n’emiryango okuziyiza abantu ababi okugiyingiramu.

Engeri ennyumba eno gye yali okumpi ne we baali basula, mukyala we yasalawo okulimirawo kasooli ne lumonde mu kibangirizi ekyali kisigaddewo okulwanyisa ensiko omuyinza okwekweka abamenyi b’amateeka.

Yagenda okuteekamu enzigi, amadirisa n’endabirwamu ng’ennyumba teri mu mbeera mbi kati yeebaka.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kiruddu1 220x290

Ettaka 1 nga liriko ebyapa 2 ku...

Enkaayana z’ettaka lino okulinnya enkandaggo kiddiridde Palamenti okuyisa bbiriyooni 4 zikozesebwe okugula n’okuzimba...

Bizi 220x290

Mukama yaddamu essaala yange n’ampa...

BWE nnali nvubuka, nnawuliranga nnyo abantu nga beekokkola abaagalwa baabwe olw’emize gye babalaga era kyanneeraliikirizanga...

Ssengalogo 220x290

Ndeete omukyala omulala?

Amaanyi nnina matono ate omukyala gwe nafuna muto ddala alina emyaka 35 ate nze nnina 75.

Ow'emyaka 50 abbye omwana n'amusiba...

POLIISI y’e Kasangati ekutte n’eggalira abafumbo oluvannyuma lw’omukazi ow’e myaaka ataano okubba omwana n’amusiba...

Ssande1 220x290

Abazadde basse omwana waabwe ne...

Okukebera mu kisenge, kwe kuzuula omulambo gw’omwana nga yattibwa ne bamuteeka wansi w’omufaliso Ssande ne mukyala...