TOP

Obugoye obunkwata buggyayo ffi ga yange

By Musasi wa Bukedde

Added 4th May 2019

Obugoye obunkwata buggyayo ffi ga yange

Tam1 703x422

Nayiga ng’alaga emisono egimunyumira.

REMMY Nayiga 22, ow’e Makindye nga muyimbi muto ate nga mufumbi wa keeki y’omu ku bawala gwe basinga okugeya mu kitundu olwendabika ye n’okwemanya obulungi. Ng’oggyeeko eky’obulungi bwe amanyi okulonda engoye ezimunyumira.

Yayogedde ne LAWRENCE MUKASA n’amunnyonnyola ebintu by’akozesa n’alabika bulungi. Nkimanyi nti omuntu afaayo okutambula n’omulembe bamulabira ku ngoye z’ayambala. Nze nnyinza okusiiba enjala naye nga nnyambadde ne nnyuma.

Omuwala ng’olina olususu olucamufu, weetaaga engoye eza langi ez’enjawulo naddala ezitayaka nnyo, ojja kulabika bulungi. Nze ntera okwambala ebiteeteeyi ebinkwata eziyitibwa ‘body hugging’ ate nga si mpanvu.

alt=''

Engoye ez’ekika kino bwe nzambala ziggyayo bulungi ffi ga yange. Zino nzigattako sikaati nazo nga zinkwata omubiri olwo ne ndyoka nnyuma okukamala. Abawala abasinga balina embuto nnene ate ng’oluusi tebabeera na bubina.

Ab’ekika kino bwe bambala omusono guno tebayinza kunyuma kubanga kiba kizibu okwawula mu maaso n’emabega olw’enkula yaabwe.

Engoye nzigula mu maduuka ag’enjawulo agatunda engoye empya nga zitandikira ku 50,000/-. FFIGA Okunyuma kw’omuwala yenna omwambazi kiva ku nkula ya ffi ga ye.

Omuwala ffi ga ye bweba si nnungi ne bw’ayambala akateeteeyi akalungi kizibu okunyuma. Nze omubiri gwange ngukozesa emirimu mingi ne gutabeera mu kifo kimu. Nettanira nnyo okuzina mpozzi n’ebyemizannyo ng’okubaka n’okudduka ekinnyamba okutuuyana n’okugoba omugejjo.

 

OLUSUSU Kino kye kimu ku bisinga okumpalanya bawala bannange kubanga nange olumu mmanyi okwetunuulira mu ndabirwamu ne neesunako, ebitali bya kwewaana. Nze ensiri ne bw’ennuma kizibu kya kumanya, ku lususu lwange nsiigako ka lotion ka Coco Pulp Cream era kano ke kannyambako omusana ne bwe gunjokya nsigala neeyagala. Kano kannyamba okugonza olususu n’okuluweweeza ate nga kakuleka ku bbala lyalwo okuggyako okucamula olususu lwo ne lwongera okwaka.

Abawala abamu bakagattako woyiro waako olwo ne bapeeruuka ne bakusobera. Kano nkagula 30,000/- mu maduuka agatunda ebizigo mu Kikuubo.

ENVIIRI Obulungi bw’omuwala yenna busookera ku nviiri awo ne bulyoka busaasaana omubiri gwonna. Ekimu ku bisinga okunneeyagaza kwekuba nti Katonda yampa omutwe ogunyumira buli kika kya nviiri ky’omanyi eky’omulembe wano mu ggwanga.

Obuviiri nga ‘human hair, soft kink n’obulala bunkolera nnyo mu nsonga z’okunnungiya. Zino nzisibira 150,000/- n’okudda waggulu okusinziira ku kika ky’enviiri ze njagala era nga zino nzisibira Makindye ewa Ibra.

ENGATTO Wano nawo mu njogera ennyangu ndabika nawamba wo kubanga siri wakusabirwa bwe kituuka ku ngatto. Buli lw’oyambala olugoye olw’ebbeeyi n’oyambalirako ekigattogatto awo obeera oyiye obubonero. Njagala nnyo engatto z’akakondo

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Luwum 220x290

Abattakisi beegugunze olw’okuggala...

ABAGOBA ba takisi mu ppaaka enkadde abakozesa omulyango oguli ku Luwum Street bavudde mu mbeera ne bateeka akaziko...

Namanve 220x290

Ab’e Namanve balaajanidde ab’ekitongole...

ABATUUZE b’e Namanve (Kireku leerwe) abali ku ttaka ly’ekitebe ky’eggaali y’omukka, balaajana oluvannyuma lw’ekitongole...

Remassebunnya 220x290

Eyeekiika mu bba wa Rema aggyeeyo...

OMUSAJJA eyavaayo ne yeesimba mu bba wa Rema, abamu kye baataputa ng’ayagala okugootaanya emikolo gy’okwanjula,...

Brian 220x290

Mukula atutte Bryan White mu kkooti...

BRYAN White, ebibye bibi. Kkampuni ya Capt. Mike Mukula emututte mu kkooti lwa kumuguza mmotoka ku doola 120,000...

Owoyesigire 220x290

Ababbi balumbye Klezia ya Yowana...

ABABBI basatu balumbye ekifo awaterekebwa ebirabo ku Klezia ya Yowana Maria Mzee ku Lubaga Road n’amajambiya nga...