TOP

Engoye ezikwata omubiri zinkolera

By Musasi wa Bukedde

Added 6th May 2019

REMMY Nayiga 22, ow’e Makindye nga muyimbi muto ate nga mufumbi wa keeki y’omu ku bawala gwe basinga okugeya mu kitundu olwendabika ye n’okwemanya obulungi. Ng’oggyeeko eky’obulungi bwe amanyi okulonda engoye ezimunyumira. Yayogedde ne LAWRENCE MUKASA n’amunnyonnyola ebintu by’akozesa n’alabika bulungi.

Wano1 703x422

Nayiga ng’alaga emisono egimunyumira.

Nkimanyi nti omuntu afaayo okutambula n’omulembe bamulabira ku ngoye z’ayambala. Nze nnyinza okusiiba enjala naye nga nnyambadde ne nnyuma.

Omuwala ng’olina olususu olucamufu, weetaaga engoye eza langi ez’enjawulo naddala ezitayaka nnyo, ojja kulabika bulungi. Nze ntera okwambala ebiteeteeyi ebinkwata eziyitibwa ‘body hugging’ ate nga si mpanvu.

Engoye ez’ekika kino bwe nzambala ziggyayo bulungi ffi ga yange. Zino nzigattako sikaati nazo nga zinkwata omubiri olwo ne ndyoka nnyuma okukamala. Abawala abasinga balina embuto nnene ate ng’oluusi tebabeera na bubina.

Ab’ekika kino bwe bambala omusono guno tebayinza kunyuma kubanga kiba kizibu okwawula mu maaso n’emabega olw’enkula yaabwe.

Engoye nzigula mu maduuka ag’enjawulo agatunda engoye empya nga zitandikira ku 50,000/-.

FFIGA

Okunyuma kw’omuwala yenna omwambazi kiva ku nkula ya ffiga ye. Omuwala ffi ga ye bweba si nnungi ne bw’ayambala akateeteeyi akalungi kizibu okunyuma.

Nze omubiri gwange ngukozesa emirimu mingi ne gutabeera mu kifo kimu.

Nettanira nnyo okuzina mpozzi n’ebyemizannyo ng’okubaka n’okudduka ekinnyamba okutuuyana n’okugoba omugejjo.

OLUSUSU

Kino kye kimu ku bisinga okumpalanya bawala bannange kubanga nange olumu mmanyi okwetunuulira mu ndabirwamu ne neesunako, ebitali bya kwewaana.

Nze ensiri ne bw’ennuma kizibu kya kumanya, ku lususu lwange nsiigako ka lotion ka Coco Pulp Cream era kano ke kannyambako omusana ne bwe gunjokya nsigala neeyagala.

Kano kannyamba okugonza olususu n’okuluweweeza ate nga kakuleka ku bbala lyalwo okuggyako okucamula olususu lwo ne lwongera okwaka.

Abawala abamu bakagattako woyiro waako olwo ne bapeeruuka ne bakusobera. Kano nkagula 30,000/- mu maduuka agatunda ebizigo mu Kikuubo.

ayiga ngalaga emisono egimunyumiraNayiga ng’alaga emisono egimunyumira.

ENVIIRI

Obulungi bw’omuwala yenna busookera ku nviiri awo ne bulyoka busaasaana omubiri gwonna.

Ekimu ku bisinga okunneeyagaza kwekuba nti Katonda yampa omutwe ogunyumira buli kika kya nviiri ky’omanyi eky’omulembe wano mu ggwanga.

Obuviiri nga ‘human hair, soft kink n’obulala bunkolera nnyo mu nsonga z’okunnungiya. Zino nzisibira 150,000/- n’okudda waggulu okusinziira ku kika ky’enviiri ze njagala era nga zino nzisibira Makindye ewa Ibra.

ENGATTO

Wano nawo mu njogera ennyangu ndabika nawamba wo kubanga siri wakusabirwa bwe kituuka ku ngatto.

Buli lw’oyambala olugoye olw’ebbeeyi n’oyambalirako ekigattogatto awo obeera oyiye obubonero. Njagala nnyo engatto z’akakondo akawanvu kubanga zino zimpa entambula, zimpa siyizi, zimpa kiraasi ate nga zigendera ku buli lugoye lwe nnyambala.

Engatto zino nzigula okuva ku 70,000/- n’okudda waggulu. Zino nzigula ku kizimbe kya Skylight.

EBYOKWEWUNDA

Wano abawala abasinga we basingira okusuula obubonero ate nze ne mbubakukumbako kumpi kububamalako. Omuwala ng’obulungi bwo tebukwoleka ku mikolo gyokka teweetaaga kwemetta ‘make up’ wenna n’otuuka okufaanana ekisenge kye basiize langi.

Nze ebyo sibikola. Ku mimwa nsiigako lipusitiiki omusaamusaamu olwo ku bisige ne nsiigako ekkalaamu nga biwedde.

Ku mukono kasita nsibako essaawa ebeera emmala, obukomo sitera kubujjumbira kubanga ate buyinza okuyitirira.

 ayiga ngalaga emisono egimunyumira Nayiga ng’alaga emisono egimunyumira.

ENJALA

Zino nazo nziwa nnyo obudde kubanga bw’otozirabirira zikuswaza n’otuuka okufaanana ng’omulimi.

Zino tezimpa obuzibu okuyonja era kasita nzisiigako ka ‘henna’ nga kiwedde. Ekinjagaza ‘henna’ lwakuba alabisa bulungi enjala n’engalo ate nga muwangaazi.

Osobola okumusiiga ku njala n’amalako omwezi n’okusoba ate ng’akyalabika bulungi, ekitali ku cutekisi, kubanga obeera olina okumukyusa kyenkana buli wiiki. Ekirala, ‘henna’ tagubya njala ate nga si wa bbeeyi nnene.

Nze bwe musiiga nsasula 20,000/- ate ng’amalako omwezi mulamba n’okusoba.

ENSAWO

Siri mwetissi wa migugu naye ate waliwo engoye ezimu nga tezeetaaga kutambulirawo nga tolina nsawo.

Ekisooka ensawo eweesa ekitiibwa era omuwala agikutte bw’agenda ku mikolo waliwo ekifo ekyenjawulo we bamuteeka kubanga babeera bamutunuulira nga muntu wa buvunaanyizibwa.

Ensawo nkwata ekika kya Gucci bags kubanga zino mpangaazi ate nga nnyangu za kukwata.

Zino nzigula ku kizimbe kya Ham grounds mu Kampala era nga nzigula okutandikira ku 50,000/- n’okwambuka waggulu, okusinziira ku sayizi gyemba nguze.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssematimba1 220x290

Peter Ssematimba atudde ebigezo...

Omubaka wa Busiro South Paasita Peter Sematimba atandise okukola ebigezo bye ebya S6 ku ssomero lya Minister JC...

Zab1 220x290

Muzaata alabudde abasajja abakandaaliriza...

Muzaata alabudde abasajja abakandaaliriza abakazi; Tujja kubabaggyako tubawe abeesobola

Nam1 220x290

Laba engeri Rema gye yafaananye...

Laba engeri Rema gye yafaananye nga Malaika ng'ayanjula Hamza

Nabagereka11 220x290

Okwanjula kw'omuyimbi Rema Namakula...

Okwanjula kw'omuyimbi Rema Namakula mu bifaananyi

Chile1 220x290

CHILE EGOBYE ABAZANNYI

EKIBIINA ekifuga omupiira mu Chile kigobye abazannyi 20 mu nkambi lwa kuwagira bannansi abeekalakaasa nga baagala...