TOP

Sirina musajja ankuluusanya ke kanyiriro

By Musasi Wa

Added 18th November 2011

Marion Nakitto y’omu ku bayimbi abato wabula ng’akyali muyizi mu ssomero lya Jinja Progressive. Yayogeddeko ne MARTIN NDIJJO ku bulamu bwe n’ebimuyambye okwekuumira ku mulembe.

2011 11largeimg218 nov 2011 165114647 703x422

 

‘Sirina musajja ankuluusanya’

 

SIRI mufumbo ate sinoonya musajja. Ebiseera byange nkyasazeewo okubiwaayo okutumbula ekitone kyange n’okusoma ebitabo.  Nzaalibwa Jinja era nze muggalanda.

Wadde nga sitera kwekolako, abasajja abandaba bang’amba nti ndabika bulungi. Ekimu ku bindabisa obulungi kwe kuba nti nkuali muwala muto sirina bingi bye nkola kukuluusana wadde okunneeraliikiriza, ke kanyiriro kano.

Abawala ab’emyaka gyange b’osanga nga basiiwuuse abamu kiva ku kuba nga baayingirira ebintu by’obufumbo nga bakyali naye nze sirina musajja annumya mutwe n’okunsuza nga ntunula. 

Ekisinga okunneeyagaza ge maaso gange. Gaakula bulungi ate bwe nkutunuulira nga ndiko kye nkusiimyeko teweegomba kugakuggyako kuba gatunula galoola ng’omugole. Kuno kwe ngatta emimwa eminyirivu egikubaganya abasajja.

Olw’okuba sitera kukozesa ‘make up’ nnina omukugu mu by’ensusu ampa amagezi ku bintu eby’enjawulo bye nnina okukola okukuuma olulusu lwange nga lulabika bulungi.

Ebimu ku byo kwe kulya ebibala nga apo, ovakkedo, emiyembe n’ebirala ate amazzi nywa eggiraasi ezitakka wansi wa ssatu. 

Ng’anyumye mu lugoye lwa langi ya ppinki. Ekif: Martin Ndijjo                                                                                           

Katonda yampa ffiga ennungi era sirina lugoye lwe nnyambala ne sinnyuma. Nsinga kwambala biteeteeyi naddala ebimpi nga biraga entumbwe kuba ngirina. Oluusi nnyambala empale empanvu oba ennyimpi era ne sikaati nazo nzambala naddala ezinkwata obulungi.

Engatto nsinga kwambala za bukondo buwanvu n’ezibikka ebigere. Ebintu bye nnyambala ntera kubigula mu maduuka ag’enjawulo e Jinja naye ng’okusinga ngula mu Original Designer. Engoye nnyambala ezitakka wansi wa 200,000/-.

 Mu kagoye akakoma mu bisambi Ekif: Martin Ndijjo

Engatto nsinga kwambala za bukondo buwanvu n’ezibikka ebigere. Ebintu bye nnyambala ntera kubigula mu maduuka ag’enjawulo e Jinja naye ng’okusinga ngula mu Original Designer. Engoye nnyambala ezitakka wansi wa 200,000/-.

Sitayiro gye nsinga okwagala y’eya Rihana (enviiri ezigwa mu maaso) . Eno ennyumira nnyo engeri gye nnina ekyenyi ekiwanvu.

Enjala wadde nandiyagadde okuzikolako naye nnemererwa kuba sirina ngeri ya kuzikwekamu, wabula engalo nfuba okuzirongoosa nga nkola ‘manicure’ ne ‘pedicure’, wabula sizisiigako cutekisi.

Nakitto mu mpale emukutte omubiri. Ekif Martin Ndijjo

Ng’omuwala omuyimbi nnyumirwa nnyo omuziki era nfissaawo ku budde ku wiikendi ne ng’edako mu bifo ebisanyukirwamu ne ndya ku bulamu.

Ekimu ku bintu ebisinga okunnyiiza be bantu abeefuula nti bammannyi kyokka nga talina ky’akumanyiiko.

Sirina musajja ankuluusanya ke kanyiriro

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lab2 220x290

Engeri gy’olina okwewala okuferebwa...

Engeri gy’olina okwewala okuferebwa ku ttaka n’okufi irwa ebyobugagga byo

Hab1 220x290

Taata n’omwana bafudde lumu;Omu...

Taata n’omwana bafudde lumu;Omu bamuziise mu ntaana ya People power omulala mu ya NRM

Kab1 220x290

Dokita eyabuze akwasizza omusawo...

Dokita eyabuze akwasizza omusawo

Broronnie1 220x290

Bro. `Ronnie Mabakai alagudde bannabyabufuzi:...

OMUSUMBA Ronnie Mabakai owa ETM Church esangibwa ku Salama Road e Makindye ne Holy City e Bwerenga azzeemu okulagula...

Komerera4webuse 220x290

Abaana bazannye okufa kwa Yesu...

Abaana bazannya olugendo lw'okufa kwa Yesu ne beewuunyisa abantu e Masajja