TOP

Sukaali alongoosa olususu mu basajja

By Musasi Wa

Added 28th April 2012

ABASAJJA abafaayo okulabika obulungi bafuba okukola ku nsusu zaabwe. Wadde abamu bakyakitwala nti abakazi be bateekeddwa okuyooyoota ensusu, abasajja abasinga endowooza eno bagenda bagikyusa.

Bya MUSASI WAFFE

ABASAJJA abafaayo okulabika obulungi bafuba okukola ku nsusu zaabwe. Wadde abamu bakyakitwala nti abakazi be bateekeddwa okuyooyoota ensusu, abasajja abasinga endowooza eno bagenda bagikyusa.

Omusajja naye okulabika obulungi alina okukola ku lususu n’aluggyamu embalabe, olusolo ne ‘black heads’.

Olususu lw’abasajja nalwo lulumbibwa embalabe olw’okukwatako enfuufu. Enfuufu eno bw’erwako eyingira mu butuli bw’omubiri, n’ekivaamu kufuna mbalabe.

Singa olususu lumanyiira okuba n’embalaba lufuna ebikuyiro n’enkovu okukkakkana ng’eyandibadde omweru oba ow’akatakketakke ate afuuse muddugavu ttibittibi. Eno y’ensonga lwaki n’omusajja ateekeddwa okukozesa ‘scrab’ okukola ku lususu lusobole okulabika obulungi.

Ekirungi nti waliwo ebintu  ebikozesebwa awaka ebikola obulungi ku nsonga eno;
Omuceere singa ogusekula ne musigalamu empulunguse ntonotono n’ogugatta mu mata ne weesiiga, gukola nnyo ku lususu lw’omusajja.

Byesiige mu ffeesi ne mu nsingo obirekeko okumala eddakiika 15 - 20, oluvannyuma onaabemu.

Bino bijja kuyamba okumalamu oluzigozigo mu ffeesi era bizibukule obutuli bw’omubiri gusse bulungi.

Bw’oba tokoze kino kozesa  sukaali n’amazzi g’enniimu. Funa akajiiko ka sukaali ogatte mu mazzi g’enniimu weesiige. Enniimu erimu asidi atangira obuwuka okusigala ku lususu, ate sukaali bw’omuyisa ku lususu aggyako olususu olufudde.

Ovakkedo ne kaawa nabyo bikola nnyo ku lususu lw’abasajja. Sala ovakkedo omusotte agonde, oluvannyuma ogattemu kaawa, osiige ku lususu okumala akaseera, oluvannyuma onaabemu.

Ekirungi kya kaawa, ne bw’omala okumunaaba ku lususu asigala akuwunyako.

Osobola  okukozesa ebikoola bya ‘neem’tree’. Binnyike mu mazzi, oluvannyuma oganaabe mu ffeesi. ‘Neem tree’ alimu ekirungo ekitta obuwuka.

Sukaali alongoosa olususu mu basajja

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lungujja 220x290

Ab'e Lungujja bafunye Ssentebe...

Kyaddaki Ssendawula zooni e Lungujja mu munisipaali y'e Lubaga efunye ssentebe

Kiibi 220x290

Fr. Kiibi avumiridde abakulisitu...

FAAZA Deo Kiibi asinzidde mu Kitambiro kya Missa gyayimbye mu kisomesa ky'e Kasangati, n'alabula abatanawasa okusooka...

Takoze 220x290

Waswa Bbosa takoze nkyukakyuka...

OMUTENDESI wa ttiimu y’eggwanga eyabatasuussa myaka 23 afulumizza ttiimu etandika egenda okuttunka ne South Sudan...

Cahill 220x290

Tim Cahill akaabye, ng'asiibula...

Cahill yali muwuwuttanyi wa ntomo, ateeba ggoolo era nga yeesigamwako ttiimu y'eggwanga eya Australia mu mupiira....

Mutebile2 220x290

Mutebile aleese ebiwandiiko ebitakwatagana...

Ebiwandiiko ebimu obwedda biteereddwako emikono gy'abantu (signature) kyokka nga tekuli mannya gaabwe nga kino...