TOP

Mmanya okulonda engoye ezikunyumira

By Musasi Wa

Added 25th August 2012

Omukyala okulabika obulungi,kimwetaagisa okutwala obudde okulowooza ku bintu eby’enjawulo ebimunyumira n’okweteekamu ensimbi.

2012 8largeimg225 aug 2012 095026553 703x422

YUDAYA Musisi mutuuze w”e Makindye, wabula nga mwana nzaalwa y’e Mubende. Akola gwa kutunda ngoye z’abakazi ku kizimbe kya Mutaasa-Kafeero mu Kampala. Y’omu ku bawala abasinga okwaka ku kizimbe kino. Yayogedde ne PHILLIP KAGGWA ku ngeri gye yeekumamu ng’anyirira.
 
 
Yudaya Musisi, Ekif; Phillip Kaggwa.
Omukyala okulabika obulungi kimwetaagisa okutwala obudde okulowooza ku bintu eby’enjawulo ebimunyumira n’okweteekamu ensimbi.
 
Okugeza okuyiiya ebyambalo, emisono gy’enviiri n’ebirala ebimunyumira. N’olwekyo ensonga y’okwefaako ngitwala nga nkulu nnyo, kuba bw’oteefaako kireetera abakulaba okukutwala ng’atali wa buvunaanyizibwa.
 
Ebintu bingi ebinsanyusa ku mubiri gwange era mbitwala nga byamuwendo.
 
FFIGA: Ffiga yange ya ddala era enyumira ebyambalo. Ekirala sayizi yange ensobozesa okukola buli kye njagala nga okutambula, okudduka ne dduyiro omulala nga sifunye buzibu.
 
Ffi ga okugikuuma n’eteraluka nfuna akadde ne nkola dduyiro naddala awaka, wabula oluusi ng’endako ne mu  jjiimu.
 
Eby'okulya ebimu nabyo mbyegendereza kuba waliwo ebireeta omugejjo. Okugeza nneewaala okulya eby’amasavu ne butto, nnettanira nnyo boyiro.
 
OLUSUSU: Luno lunneeyagaza kuba lunyirivu ate luweweevu bulungi ekireetera abantu
abamu okunneegomba.
 
 Ekirala olususu lwange terulina nkovu wadde obutuluttuttu. Okulukuumira mu mbeera ennungi nnyiikira okunywa amazzi mu budde obutuufu.
 
Amazzi gannyamba okukuuma omubiri ggwange obutasiiwuuka. Ng’oggyeeko okunnywa amazzi, mu biseera byange eby’eddembe, ng’endako mu sawuna.
 
Kino nkikola omulundi gumu mu wiiki. Enkola eno ennyamba okuzibukula obutuli bw’olususu n’okufulumya obucaafu mu mubiri.
 
Kuno kwe ngatta okulya ebibala omuli emiyembe amenvu, emicungwa, Meron n’ebirala.
ENGOYE: Engoye ezisingazinnyumira olwa ffiga yangeNnyambala ebiteeteeyi, empalesikaati n’ebirala.
Okusinga nnettanira nnyo engoye z’emivumba naddala ezirabika nga ziri ku mulembe kuba kiba kizibu okusanga olugoye olufaanagana ne lw’oba oguze, ekitali ku ngoye empya ez’omu maduuka.
 
Ekirungi ky’engoye z’emivumba, ziba mpangaazi era tezitera kubera za bicupuli. Nzigula okuva ku 50,000/-. Langi ntera kwambala ezaaka nga emmyuufu, ppinki, kyenvu n’endala.
 
ENGATTO: Engatto nazo ntera kugulaeziri ku mulembe, ate nga zabukondo buwanvu. Zino zimpaentambula ate era zinyumiraku buli musono.
 
Ngula okuva ku 60,000/- okudda waggulu.Okufaananako n’engoye,engatto nazo nsinga kwambala nkadde.
 
ENVIIRI Zino nzitwala nga nsongankulu kuba kye kitiibwa ky’omukyala. Nnettanira nnyo okukola emisono egya ‘Crazy Style’ naddala mu nviiri zange kuba ginnyumira.
 
Bwe mba sikoze musono ogwo, nsiba obuviiri bwa wiivu naddala akabeera ku mulembe. Zino zimmalako wakati  wa 50,000/- ne 80,000/- okusinziira ku musono. 
 
 
m
 
Amazzi nago tagasuulirira. Ekif; Phillip Kaggwa.

Mmanya okulonda engoye ezikunyumira

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bobiwine1 220x290

Poliisi n'amagye bagumbuludde abawagizi...

Poliisi n'amagye bagumbuludde abawagizi ba Bobi Wine e Wampeewo, Luteete - Magere

Wano 220x290

Abali ku gw’okutta Magara beeyongeddeyo...

EBY’OKUTULUGUNYA Abasiraamu abagambibwa okutta Susan Magara bikyalanda. Ensonga bazongeddeyo mu kkooti enkulu y’eba...

Bobiwine 220x290

Babakutte n'emijoozi gy'abawagizi...

Eggulo abavubuka ba DP bakwatiddwa n’emijoozi egisoba mu 500 ne giyoolebwa okumpi ne ofiisi zaabwe nga kigambibwa...

Pala0 220x290

Boogedde ebikankana mu kuziika...

DR. David Mugimu eyafudde ng’alumiriza abaserikale okumunyagako obulindo bw’ensimbi, eggulo yaziikiddwa e Kagganda...

Occc 220x290

Abagagga 36 baggyiddwaako abaserikale...

ABAGAGGA mu bitundu bya Kampala, Wakiso, Mukono, n’awalala baggyidwaako abaserikale abaabaweebwa eyali akulira...