TOP

Black azzeemu okulaga kaasi

By Musasi Wa

Added 8th December 2012

OLWAVUDDE ku kkooti yalinnye mmotoka Double Cabin eyabadde evugibwa kizibwe we Eddie Kirabira n’emutwala mu maka ge e Munyonyo.

2012 12largeimg208 dec 2012 134502197 703x422

Bya MUSASI WA BUKEDDE


MWANA MUWALA Bad Black olwavudde ku kkooti yalinnye mmotoka Double Cabin eyabadde evugibwa kizibwe we Eddie Kirabira n’emutwala mu maka ge e Munyonyo.

Eno tebayabandaddeyo era olwatuuse yakyusizza ngoye n’ayingira ekibuga. Yasibidde ku luguudo lwa Wilson ku kizimbe kya Zainab Aziz kwe yalina edduuka eritunda engoye.

Yasookedde mu dduuka eritunda essimu era bakira akebera nga bw’abuuza abaliwo bamutegeeze eri ku mulembe gy’aba agula.


Oluvannyuma lw’okwekebejja essimu eziwerako yasazeewo kugula ekika kya Sum Sung Galaxy Tab ya bukadde bubiri. Olwamulamulidde yasiseeyo akasawo ke n’aggyamu kaasi n’asasulirawo.

Bw’atyo Bad Black nga kati yeeyita Paasita bwe yamaze essaawa ze ezaasoose nga yaakafuluma ekkomera ly’e Luzira.
Okuva awo yalinnyelinnye amadaala n’agenda mu saluuni gye yateranga okukolera enviiri ne bamuyooyoota.

Bakira Black atambula adigida nga tayagala kumanya ng’enjogera y’ennaku zino, wabula obwedda abamuyita abawa kajjambo ne kasimayiro akatonotono.

Ekika ky’essimu Black gye yaguze ku bukadde bubiri.

Oluvannyuma lw’omuyooyoota yagenze n’egimu ku mikwano gye omwabadde Maysean (omuvubuka gw’agamba nti ye muganzi we) ne bagenda ku wooteri ya Serena gye baalidde ekyegulo nga bwe banyumyaamu.

Emboozi yasinze kwetoloolera ku mbeera y’ekkomera ate nga Black bw’ababuuza ebikwata ku gyali mikwano.

Black ng’ali ne muganzi we Mention gye buuddeko.

Wadde Black yasoose kutegeeza nga bw’agenda okusula mu kusaba mu kkanisa y’omusumba Tom Sembera e Nsambya wabula teyalinnyeeyo. Black yagambye nti yalokoka era eby’amasanyu yabyenenya.

Black azzeemu okulaga kaasi

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Thursday991633393 220x290

Abalenzi baleebezza abawala mu...

EKITONGOLE ekivunaanyizibwa ku bigezo mu ggwanga ekya UNEB kifulumizza ebyavudde mu bibuuzo bya PLE ebiraze nti...

105190074ibraronepa 220x290

Zlatan acoomedde Ronaldo: 'Tolina...

ABAALIKO ba Sitta ba Man U batabuse omu n’acoomera munne okweyita kafulu nga talina ttiimu nafu mwe yali azannyidde....

Babuweb 220x290

Abeebikonde beebugira mpaka za...

Ttiimu z'ebikonde ez'enjawulo ziri mu keetalo nga zeetegekera okwetaba mu mpaka za National Boxing Open Championship...

Mugoodaweb 220x290

Bamusaayimuto banattunka mu mizannyo...

Bamusaayimuto e Jinja oluwummula baakulumalako nga basanyufu nga battunka mu mpaka za 'Go Back to School Gala'...

Bampa 220x290

Ekyakonzibya ebikonde bya Uganda...

KIZIBU munnabyamizannyo yenna okukkiriza kati nti omuzannyo gw’ebikonde gwatuusaako Uganda mu kifo ekyokusatu mu...