TOP

Engeri y’okwekuba ddikini n’atakulukuta

By Musasi Wa

Added 24th July 2013

OKULABIKA obulungi kirooto kya buli mukazi, wabula oluusi kisinziira ku ngeri gye yeekozeeko.

2013 7largeimg224 jul 2013 090338973 703x422



Bya MUSASI WAFFE

OKULABIKA obulungi kirooto kya buli mukazi, wabula oluusi kisinziira ku ngeri gye yeekozeeko.

Sharif Baale abangi gwe bayita Little Apex omukugu mu kukola ku bakyala ng’akolera ku Hotel Jokers e Bweyogerere agamba nti bino bye bimu ku by’olina okugoberera nga weesiiga make up oba dikini.

1Ky’osooka ku lususu: Ebizigo oba pawuda gw’osooka ku lususu bw’aba omulungi, bye weekozeeko tebiggwaako mangu n’olabika bulungi olunaku lwonna.

“Mu mbeera eno, ‘makeup’ wa Johnson pawuda bw’omusoosa ku lususu, bye weekozeezo tebiggwaako mangu kubanga akwata ebirala bye weeyongerako.

2 Okulongoosa olususu: ‘Makeup’ obutakulwako oluusi kiva ku kwekolako ng’olususu lujama ekiruleetako okufulumya amasavu oba okutuuyana buli kiseera ekyonoona bye weesiize. N’olwekyo kisaana n’osooka olongoosa olususu n’amazzi g’enniimu okumalako obucaafu bwonna.

3 Bye weesiimuza mu maaso: Bw’otuuyana n’oteefaako bulungi oyinza okwesanga nga bye weesiize bikulukuse ekikulabisa obulala.

N’okwekyo ebintu bye weesiimuuza mu maaso ng’omaz  okwekolako bye biremesa ‘makeup’ okulwako. Abamu bakozesa bibatu, obutambaala, sipongi n’ebirala.

Baale agamba nti kirungi weesiimuuze bulaasi enkalu naddala ng’otuuyanye kubanga erina sipongi eyingiza ‘makeup’ obulungi ku lususu n’alema kwonooneka.

4 Akkaatiriza bw’oba ogula dikini ow’okwesiiga kakasa nti mulungi. Ekirala weewale okwekuba ‘make up’ omungi alabika bubi.

Engeri y’okwekuba ddikini n’atakulukuta

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Thursday991633393 220x290

Abalenzi baleebezza abawala mu...

EKITONGOLE ekivunaanyizibwa ku bigezo mu ggwanga ekya UNEB kifulumizza ebyavudde mu bibuuzo bya PLE ebiraze nti...

105190074ibraronepa 220x290

Zlatan acoomedde Ronaldo: 'Tolina...

ABAALIKO ba Sitta ba Man U batabuse omu n’acoomera munne okweyita kafulu nga talina ttiimu nafu mwe yali azannyidde....

Babuweb 220x290

Abeebikonde beebugira mpaka za...

Ttiimu z'ebikonde ez'enjawulo ziri mu keetalo nga zeetegekera okwetaba mu mpaka za National Boxing Open Championship...

Mugoodaweb 220x290

Bamusaayimuto banattunka mu mizannyo...

Bamusaayimuto e Jinja oluwummula baakulumalako nga basanyufu nga battunka mu mpaka za 'Go Back to School Gala'...

Bampa 220x290

Ekyakonzibya ebikonde bya Uganda...

KIZIBU munnabyamizannyo yenna okukkiriza kati nti omuzannyo gw’ebikonde gwatuusaako Uganda mu kifo ekyokusatu mu...