TOP

Bow tie’ z’abakazi zinyumira mu ofiisi

By Musasi Wa

Added 26th October 2013

OMUSONO gwa ‘bow tie’ guluddewo wabula gwe gumu ku gitava ku mulembe. Akataayi kano kanyuma mu bifo eby’obuvunaanyizibwa singa okambala mu ngeri entuufu.Bya CHARLENE MUGALULA

OMUSONO gwa ‘bow tie’ guluddewo wabula gwe gumu ku gitava ku mulembe. Akataayi kano kanyuma mu bifo eby’obuvunaanyizibwa singa okambala mu ngeri entuufu.

ANI ABWAMBALA:

Obutaayi buno businga kunyumira bakyala abalina obulago obuwanvuyirivu kubanga awo akataayi tekalabika nga akakutuga. Kino tekitegeeza nti ow’obulago obumpi aviriddemu awo kubanga era asobola okwambala bbulawuzi eziriko obutaayi buno ate naye n’anyumira ddala.

OKAMBALA OTYA:
Obutaayi buno bwangu nnyo okwambala kubanga kajja kasibiddwa nga ky’olina okukola kwe kukambala n’okatereeza.
Bujjira mu bika eby’enjawulo ate nga waliwo ne bbulawuzi ezitungibwa nga kwe buli. Waliwo obujja nga buliko akakwanso k’otunga ku lugoye n’okatereeza.

Ekikulu kwe kumanya langi ya bbulawuzi kw’okambalidde, ssaako sikaati oba empale by’oyambaliddeko, okulaba nga bikwatagana era nga biggyayo endabika yo.

Okunyuma ng’oyambadde obutaayi buno weetaaga okutabika obulungi. Okugeza sikaati ne bbulawuzi enjeru n’enzirugavu oyinza okuteekako akataayi akamyufu oba ak’ekipaapaali osobole okwaka.  Oyinza n’okwambalirako empale n’okuba ekikalu n’onyumira ddala.

OKAMBALIRA WA:

Ekirungi ky’obutaayi buno kiri nti tebuboola mukolo. Oyinza okukambala ng’ogenda mu ofiisi, mu ssinzizo ne ku mbaga n’okyusaako n’obeera wa njawulo.

Bow tie’ z’abakazi zinyumira mu ofiisi

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kasibante2 220x290

Omubaka Kasibante atereezezza obufumbo...

MOSES Kasibante omubaka wa Lubaga North atereezezza amaka, bw’ayanjuddwa mu kitiibwa ku mukolo ogwetabiddwaako...

Jmcweb 220x290

Kyetume ekutudde JMC Hippos

Kyetume evudde emabega n'ewangula JMC Hippos mu Big League mu ddakiika ezisembayo

Joshuaweb 220x290

Cheptegei ataddewo likodi ng'awangula...

Joshua Cheptegei ataddewo likodi y'ensi yonna empya, ng'awangula kiromita 15 mu misinde gya 2018 NN Seven Hills...

2016manujoseshout1 220x290

Veron ayogedde lwaki ManU evumbeera...

Veron akubye ebituli mu kisanja kya Mourinho mu ManU.

Afcon16 220x290

Olugendo lwa Uganda Cranes okugenda...

Olugendo lwa Uganda Cranes okugenda mu AFCON2018 e Cameroon.