TOP

Nneeyoteza n’enniimu okukuuma olususu

By Musasi Wa

Added 1st March 2014

NZE Josephine Faith eyakazibwaako erya Maama Uganda abeera Lubaga era muyimbi. Ye yakuyimbira ‘Nfudde kataala’ ate ng’azannya ne firimu z’ebinnayuganda. Kuno kw’agatta okutunda engoye e Makindye.

2014 3largeimg201 mar 2014 132348200 703x422



NZE Josephine Faith eyakazibwaako erya Maama Uganda abeera Lubaga era muyimbi. Ye yakuyimbira ‘Nfudde kataala’ ate ng’azannya ne firimu z’ebinnayuganda. Kuno kw’agatta okutunda engoye e Makindye.

Azaalibwa Bukomansimbi era agamba nti y’omu ku bantu abataagala kwefeebya.Yayogedde ne PHILLIP KAGGWA ku bimukuumira ku mulembe.

“Ebintu bingi ebinnyamba okwekuumira ku mulembe ne njaka omuli;

FFEESI:
Kino kye kimu ku bintu ebisinga okunsanyusa. Emimwa gyange gyakula bulungi kuba tegyetaaga musajja kumala kuginoonya ng’abadde ayagala okunkuba kkiisi, anti gyemala ate gisikiriza naddala omusajja wange.

Ebisige bya mulembe ate ssi bya kiwaani nga bwe guli ku bakyala abalala. Amaaso gange ate gaagenda wala kuba gakuba bangi anti gatunuza mukwano mwereere.

Ate era ffeesi yange teriimu nkovu wadde obutuluttuttu ekinnyamba okulabika obulungi.
Okukuuma ffeesi yange n’olususu nga binyirira, nneesiiga woyiro, ebizigo ssaako okunaaba ssabbuuni akola ku lususu.

Kuno kwe ngatta okukola sitiimu ne masaagi. Sitiimu oba okweyoteza nkozesa amazzi agookya ne nkamuliramu enniimu olwo ne nneeyoteza. Enniimu eggyamu oluzigozigo lwonna olwandindeetedde embalabe.

Josephine ng’alaga ezimu ku ngoye ze.

ENVIIRI:
Kino kya muwendo nnyo ku ndabika yange kuba zikwata kya ku mwanjo ku bintu ebiggyayo endabika yange. Nfuba okulaba nga nkola omusono ogundabisa obulungi. Okukola enviiri nsooka kwebuuza ku mukugu n’ambuulira omusono ogunnyumira.

Okusoboola okwekuumira ku mulembe enviiri nzikyusa buli wiiki ne nkola omusono omulala.
Okusinga nzikolera ku kizimbe kya Sun Set Arcade mu Kampala
.

Nnettanira nnyo okusiba wiivu ne penso kuba bimpa emirembe ate emisono egyo ginsobozesa okukoloa kyonna kye njagadde.

Emisono gy’enviiri ezisinga zimmalako wakati wa 60,000/-ne 100,000/- okusinziira ku musono.

Ezimu ku ngatto ze.

ENGATTO:
Emisono egisinga ginnyumira naddala eza Lady Gaga, Pump, Gladiator n’endala. Zino ze nnyambala kuba ziraga kiraasi yange anti za bbeeyi. Nzigula ku Freedom City ng’ekitono ennyo omugogo ngugula okuva ku 150,000/- okudda waggulu.

FFIGA:
Eno enneeyagaza era sitoma kuba kumpi buli lugoye lwe nnyambala lunnyumira. Okugikumira mu mbeera ennungi nfuba okulaba nga nnwanyisa omubiri obuteewaggula.

Kino okukituukako nkola dduyiro mu jjiimu emu e Mengo. Kino nkikola emirundi ebiri mu wiiki okukuuma omubiri obutampaaluukako. Wabula ate saagala kukogga nnyo kusingako wano kubanga ate nnyinza obutanyuma.

Bamukola masaagi.

MASAAGI:
Ono simusuulirira kubanga buli lwe mmukola annyamba omubiri okutoowolokoka n’okugoba situleesi. Ono mmukola omulundi gumu mu wiiki

ENJALA:
Enjala kye kimu ku bintu bye nteekako essira era okuzikuuma nga zaaka nziteekamu ssente.
Nzisiiga okusinziira ku langi y’olugoye lwe ng’enda okwambala, era nzikyusa buli we nfunira ebbanga kuba saagala cuteekisi kukaddiyira ku njala, kizoonoona.


 


Nneeyoteza n’enniimu okukuuma olususu

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssaavabazigu1 220x290

Abagambibwa okubba Abachina e Nkoowe...

ABAVUBUKA abagambibwa okubbisa eryanyi nga bakozesa emmundu basimbiddwa mu maaso g’omulamuzi wa kkooti Enkulu etuula...

Sooto2 220x290

Embeera ya Ppaaka Enkadde: Okw'enkuba...

Enkuba bw'etonnya Ppaaka enkadde fuula nga kiraalo kya nte!

Kubbiri6 220x290

Olutalo lwa Ssennyonga ne Kakande...

OMUSUMBA Jackson Ssennyonga aguze ekizimbe okumpi n'ekkanisa ya Nabbi Samuel Kakande ku bbiri e Mulago, embiranye...

Kabz 220x290

Kabushenga asiimye KCCA FC

"Kino kigenda kumpaliriza okulaba emipiira gya KCCA nga ntandiika n'ogwa CAF Confederations Cup.

Kiwa1 220x290

Mukyala w’omugagga Kiwanuka omukulu...

EBYA famire ya Mohan Kiwanuka byongedde okulanda mukyala mukulu bwavuddeyo n’ata akaka ku muggya we gwalumiriza...