TOP

Buubuno obulombolombo bw’abazimbi oluusi obutiisa abantu okuzimba amayumba

By Kizito Musoke

Added 11th June 2016

ABANTU abasinga bwe baba bazimba ennyumba oba ebizimbe bya bizinensi bamanyi okubisalira mu ngeri y’okusaddaaka ebintu ng’enkoko, embuzi, endiga, ente, endogoyi mu kaweefube w’okulaba nga ziggwa bulungi n’abazirimu okufuna emikisa.

Mala 703x422

Ennyumba ya kalina ng’eno kigambibwa nti olina okusooka okusendawo nga tonnaba kuzimba mu kifo ky’okusala enkoko.

ABANTU abasinga bwe baba bazimba ennyumba oba ebizimbe bya bizinensi bamanyi okubisalira mu ngeri y’okusaddaaka ebintu ng’enkoko, embuzi, endiga, ente, endogoyi mu kaweefube w’okulaba nga ziggwa bulungi n’abazirimu okufuna emikisa.

Ebisalibwa bisinziira ku bunene bw’ennyumba ne ssente azimba z’alina. Mu buwangwa, ennyumba baagisaliranga enkoko nga batandika okusima omusingi ne ku mitendera emirala nga woolo puleeti, nga basereka n’okugiyingira.

Omusaayi bagumansira mu musingi n’ebifo ebirala olwo ennyama ne bagikuba ejjiiko ne bagirya.

Ebintu bino abamu babikola misana kyere buli omu n’alaba nti basaze nkoko era baasalanga nkoko yokka si mbuzi oba nte.

Mulimu abalina okukkiriza nti bw’otosalira nnyumba osobola okufuna obuzibu n’esalamu ggwe kyokka ng’abamu babiwakanya nti guba mululu gwa bazimbi kwagala kweriira ku nkoko.

Bo bannaddiini bakiyita kweraguza ekikontana n’enzikiriza ez’enjawulo. Tom Lwanga ow’e Mukono agamba nti yasaba omugagga gwe baali bazimbira enju abagulireyo embuzi n’agaana. Gye byaggweera ng’omu ku muzimbi amenyese omukono.

Richard Katamba ow’e Buloba eyasangiddwa ng’asalira ennyumba ye enkoko yagambye nti obuwangwa tebukyuka era ababuwakanya batera okufuna obuzibu.

Yagambye nti ennyumba nga yazimbiddwa mu kifo awaaziikibwa omufu, ne bwe babeera bakutenda teyinza kuggwa.

Ssebo kino abagagga bakimanyi bulungi y’ensonga lwaki bwe baba bazimba basooka kuleeta guleeda ne zisenda n’okusima ettaka okusobola okuziikula ebyawongo n’ehhumbagumba z’abafu eziyinza okuba wansi mu ttaka.

Katamba akiggumizza nti ennyumba ezisinga z’olaba teziwedde kiva ku bannannyini zo okugaana okuzikolera emikolo.

Bwe ziba ziwedde abamu tebazisulamu oba okubasala ne bafa. Kye mulina okumanya ennyumba kye kimu ku bintu bye basinga okulogeramu n’okusiraanya bannaabwe.

Bannange abantu bangi bajjudde ffitina n’effutwa ng’ate ne Uganda engeri gy’ebaddemu entalo ennyingi, kyangu okuzimba ku bafu ne bakutawaanya.

Okumanya nga Katamba yamatira okusaddaaka, yagambye nti waliwo omusajja eyazimba ennyumba ku kyalo kyokka buli kiro ekintu kijja ne kimugamba nti yakizimbako era yafundikira ennyumba agitunze.

Yayongeddeko nti ennyumba bw’ogimaliriza olina okugimansiramu olweza n’ebbombo. Bino biyamba abagibeeramu okubeera abafunyi.

YINGINIYA AYOGEDDE EKIBASAZISA ENKOKO

Ying. Vincent Katende yagambye nti okusalira ennyumba tekirina kakwate ku bugumu bwa nnyumba.

Ennyumba ewangaala okusinziira ku ngeri gy’eba etegekeddwa okuva mu musingi, okukozesa ebizimbisibwa ebirungi n’okukozesa omuzimbi ategeera omulimu.

Nze ku myaka 15 gye mmaze nga nzimba sisalirangako ku nnyumba kyokka bangi be mmanyi abakikola.

Yagambye nti kino yagenda okukyetegereza nga kirimu ekigendererwa ky’okuzzaamu abazimbi amaanyi. Abakozi abo bwe balya ku kintu kye baagala kibawa amaanyi okuzimba obulungi.

Eno y’ensonga lwaki abamu bagisalira ku mimitendera egy’enjawulo. Katende alowooza nti ekigambisa nti ennyumba eyinza okusala abantu nga tebagisalidde, babeera bamanyi nti omugagga ayinza okugaana okugulira abazimbi enva ennungi nga batandika.

Abalala bateekamu ebintu ebirala nga ssappule, kulaani n’ebirala ennyumba zifune omukisa. Ku ky’abagagga okuleeta guleeda ne bayiikuula ettaka nga bagenda okuzimba, Ying. Katenda agamba nti kituufu abagagga bakikola kyokka nga babeera tebayiikuula bafu oba byawongo.

Jjukira abagagga abasinga enju ze bazimba zibeera nnene ez’obuwangaazi nga kalina.

Noolwekyo kya buvunaanyizibwa okusenda ettaka erigonda batuuke ku limmyufu eriguma okusobola okuwanirira obuzito.

Sheik h Sulaiman Gugg wa, ImAam wa Faiba h ku Luwum Street: Yategeezezza nti Obusiraamu buvumirira ebikolwa by’okusalira ennyumba.

Omuntu okusala enkoko oba ekintu ekirala kyonna abeera agasse ku Katonda ekintu ekirala, era abeera akikoze tagenda kusonyiyibwa kuba lino ezzambi ddene.

Yagambye nti wadde nga kituufu nti abantu balina fitina n’abataagaliza bangi, olina kusaba Allah akutangire abantu abakyamu n’ennyumba yo esobole okuggwa obulungi. Bw’oba tosobola kusaba bulungi oyinza okuyita Imaam oba Sheikh n’alombera ennyumba yo dduwa.

Imam Quswayy u Muga lu, omusomesa w’eddiini ku Bilaal Islamic e Bwaise, yagambye nti okuzimba ennyumba kye kimu ku byengera Allah byagaba era okuzannyira ku kyengera kino ng’ogisalira obeera ojooze Katonda agikuwadde.

Yaku- birizza abantu okusaba nga batandika okuzimba awamu n’okwebaza Katonda nga bamalirizza okuzimba, kuba Allah akubiriza abantu okumwebaza (Quran, Surat Ibrahim 14:7).

Rev. James Kityo Ssem uyaba , ow’e Mityana yategeezezza nti enjigiriza y’Ekkanisa ya Uganda tekkiriza muntu yenna kusalira nnyumba era abeera akikoze bamuboola.

Yategeezezza nti omusaayi gwa Yesu ogwayiika gwamala nga tewali mulala gwetaagisa. Azimba olina okusaba Katonda ng’oyita mu ssaala n’okwewaayo okwa namaddala.

Yagambye nti tewali ddogo litasobola kuwangulwa ssaala, era abantu balina okukimanya nti Katonda y’asinga byonna singa obeera omwekutte.

Kyokka wadde abantu basomye era nga bangi balina n’eddiini, akalombolombo k’okusalira ennyumba nga bagitandika, bagizimba oba nga bamaliriza kakyalemeddewo nga bagamba nti eddiini tebalemesa bya buwangwa.

Msgr . La wren ce Kanyike , bwanamukulu w’ekigo kya St. Joseph e Kyengera agamba nti okusalira ebizimbe enkoko kamu ku bulombolombo bw’Abaganda akatasaanye kubuusibwa maaso.

Abantu balina okumanya nti ne Bayibuli eyogera ku byobuwangwa n’obulombolombo era bano ababuvvoola n’okubukozesa mu bukyamu bakikola ku lwabwe era bakoze kinene okulowoozesa ensi nti bikyamu.

Ayongerako nti okusala enkoko oba embuzi ng’omuntu atandika ennyumba kaabanga akabonero k’okusanyuka n’okweyozaayoza.

Mu ngeri endala kwabeeranga kukuuma bwasseruganda n’enkolagana ne bannaffe nga tubagabula ekijjulo wabula agamba nti ensangi zino abantu bavudde ku mulamwa ne batuuka n’okusaddaaka abantu. Kino kisinga kuwulirwa mu bagagga abazimba kalina.

Wabula agamba nti kino tekirina we kikwataganira na buwangaazi kubanga ebizimbe ebigwa okunoonyereza okukolebwa obuzibu butera okuba nga buvudde ku nzimba embi, seminti, emitayimbwa ne bayinginiya abatamanyi kye bakola.

Sheik h Alawi Kam ulegeya ow’e Nsangi : Ono agamba nti abantu balina okukomya okukuliriza mu bintu ebitaliimu nga bino kubanga tebirina makulu gonna.

Awadde abantu amagezi okukozesa ebintu ebituufu n’abantu abategeera kye bakola bwe baba baagala okuzimba ebintu eby’obuwangaazi wabula si kuyiwa musaayi.

Agamba nti ebintu bino eby’okusalira ennyumba edda baabikozesanga kuyigiriza bantu mpisa nnungi, okugaba n’okussa ekitiibwa mu buwangwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pi3 220x290

Apass ajereze Kenzo ne Fik Fameica....

Apass ne Eddy Kenzo bawakana ani asinga okwesala emisono wabaluseewo olutalo lw'ebigambo

Sev2 220x290

Pulezidenti asisinkanye abagagga...

Pulezidenti asisinkanye abagagga abalwanira ebizimbe mu Kampala

Muh1 220x290

Abasuubuzi basattira olw’obukwakkulizo...

Abasuubuzi basattira olw’obukwakkulizo Muhangi bw’abataddeko

Hop2 220x290

Abayizi boogedde eyabookezza

Abayizi boogedde eyabookezza

Bah3 220x290

Don Bahat akomyewo ku maapu.

Don Bahat awangudde engule mu mpaka za baseerebu e South Africa ne yewaana “abangoba bakongojja…”