
Abawala mu biteeteeyi ebitungiddwa mu butimba obw’enjawulo. Zuena (owookusatu) n'ekiteeteeyi ekiriko akatimba ne Daniella mu bbulawuzi y’akatimba.
ENGOYE z’obutimba ziruddewo naye bangi bakyazettanira. Zisinga kwambalwa mu bifo ebisanyukirwamu mpozzi ne ku bubaga.
Ekimu ku biremezzaawo omusono guno kwe kuba nti obutimba bwa njawulo era nga kizibu okusanga abambadde ng’akatimba kafaanagana.
Ekirungi ky’omusono gw’akatimba buli lw’ogwambala kizibu obutanyuma era obeera wanjawulo.
Kizibu okwambala olugoye lw’akatimba ng’oli ku mukolo omuntu n’akuyisaamu amaaso kuba kalina engeri gye kalagamu akambadde nti ddala wa bbeeyi.
Wabula oluusi ensobi abambala omusono guno gye bakola bwe butayambaliramu bugoye munda, olwo omubiri gwonna ne gusigala ebweru.
Bw’oba waakwambala lugoye olw’akatimba, sooka obikke ebitundu by’ekyama n’amabeere.
Ebitundu ebisigadde ne bw’obireka ne birabika si nsonga, kasita oba nga gy’olaga tojja kubeesittaza.
Wabula omusono guno tegunyumira mu ofi isi ne mu ssinzizo.