TOP

Engeri gy’ozimbya ebbeere ettono ne liba nga ddene

By Musa Ssemwanga

Added 3rd September 2016

OKUBIIPINGA oba kye wandiyise okusiba ebbeere kye kimu ku bintu abawala abatambula n'omulembe kye batabuusa maaso.

Pika 703x422

Omuwala ng'apise ebbeere. EKIF: MARTIN NDIJJO

OKUBIIPINGA oba kye wandiyise okusiba ebbeere kye kimu ku bintu abawala abatambula n'omulembe kye batabuusa maaso.

Sarah Ndagire owa Bra World mu Kampala agamba nti, kino abawala abamu bakikola okusikiriza abasajja.

Wabula abagoberera ebyemisono bagamba nti kino abakazi bakikola olw’okwagala amabeere okulabika nga manene gasobole okunyumira ekika ky'olugoye ky’ogenda okwambala oba omukolo gy'olaga.

Agamba nti olw'okwagala amabeere amanene, bangi beesanze bamize empeke ezigagezza gye biggweera nga bafunye n’endwadde.

Engeri ennyangu alina amabeere amatono gy'oyinza okugalabisa ng’amanene. Wettanire okukola dduyiro okugeza ng’okugenda mu jiimu,oba okukajjuza buli lunaku kuba bino ziyamba okugezza ekitundu ky'omuntu ekya waggulu.

Yambala engoye ezikutuuka, ezikunyumira wabula ekisinga obulungi nga zirina obulago obwefaananyirizaako obwetoloovu olw’ensonga nti buno buyamba ekifuba kyo okuggumira.

Ekika kya meekaapu nakyo kiyinza okukuyamba okulabika ng’alina ebbeere eddene naddala ssinga omusiiga ku bbeere nga muzikivu.

Kino tekisaana kukola buli lunaku kubanga bw'okiyitiriza kiyinza okukulabisa obubi. Akaleega akabimbya amabeere akamanyiddwa nga 'Push Up'nga kano kayamba okuwanika amabeere ne galabika ng’amanene.

Obuleega ekika kino bukolebwa nga bulina engeri ya ppamba ng’ono ayamba okusindika ebbeere waggulu okukuwa enfaanana gy'obeera oyagala.

Obuleega obulala bwebwo obw'omukka nga buno bwakolebwa okuyamba ab’amabeere amatono okulabika nga manene.

Buno ebbeeyi yaabwo ya waggulu era businga kwettanirwa bassereebu abalina ssente. Rebecca Nalunga omuwandiisi w'emisono mu New Vision agamba nti ekifuba ekinene si kibi wabula waliwo ebintu by'otolina kukola ng’ogezaako okulabika ng’alina ebbeere eddene okugeza nga:

Okuvumbika ebipapula oba ekintu kyonna mu kaleega. Kino kiswaza naddala ssinga ebipapula bivaayo ne bigwa ng’oli mu bantu oba ku mukolo gwonna.

Okwambala obuleega obusukka mu kamu okugezza amabeere. Buno bukutuuyanya n'okukumalako emirembe.

Okugenda ne bakulongoosa amabeere bagasseemu ebintu(surgery)kya bbeeyi ate ebbanga buli gye ligenda lyeyongera emikisa gy'okufuna obulwadde nagyo gy'eyongera.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kabuzi1 220x290

Uganda ekubye Malawi 2-0 n'ewaga...

MU Mupiira, waliwo enjogera egamba nti tewali buwanguzi bubi, wabula waliwo bw’otuuka ekiseera ng’olina okutunuulira...

Gendako 220x290

Engeri okwanjula kwa Hamza gye...

Ebika bibiri eky’Endiga n’Ekyolugave Rema mw’azaalwa byali tebimanyiganye era nga tebasisinkanangako.

Bwama 220x290

Rema annyonnyodde by'ayiseemu ng'anoonya...

Rema yabattottolera obuzibu bwe yayitamu ng’anoonya ekika kye. Nti olumu Rema yasisinkana Ssenga we Nabatanzi ku...

Laga 220x290

Rema yasoose kukolebwako mikolo...

E Kyengera mu wiiki eddirira emikolo, Rema yasoose kukolebwako mikolo gya buwangwa okwanjula Hamza, Rema yali ne...

Buuza 220x290

Embaga ya Rema eriko ebibuuza

Kirumira yagasseeko nti ennaku z’omwezi baakuzitegeeza abantu mu kiseera ekituufu; n’annyonnyola nti enteekateeka...