TOP

Abaana 6 naye mmalako lwa dduyiro !

By Musasi wa Bukedde

Added 3rd September 2016

Maama bbebi kola dduyiro naawe odde buto

Enzaalo 703x422

GRACE Nalukenge mutuuze w’e Bulenga, musuubuzi, asiba enviiri era aluka n’ebyemikono. Muzadde w’abaana 6 afaayo eri abaana be ne balabika bulungi ate naye n’asigala nga yeerabirira. Annyonnyodde engeri gy’akolamu emirimu gye n’okwerabirira.

Olunaku olutambuza otya?

Buli ku makya olumala okukola dduyiro nga ntandika okulongoosa ennyumba. Bwe mmaliriza nga nfumba ekyenkya kye ndya n'abaana bange oluvannyuma ne njolekera ekibuga gye nkolera.

Ate emirimu gy’okukola ebyemikono ogiddukanya otya?

Emirimu egyo nagiwa Lwakusatu mpozzi na buli kawungeezi nga nkomyewo okuva mu saluuni e Kampala gye nkolera. Omulimu gw’okusuubula engoye ngukola buli Mmande. Nkeera mu kibuga ne nsuubula engoye ne nzitwala mu dduuka lyange e Busega. Eno nateekayo omuwala annyambako wabula mmulambulako buli kawungeezi nga nnyinyuse okuva gye nkolera.

Ofuna ddi obudde obulabirira abaana ?

Abaana bange mbawa obudde buli kawungeezi. Mbategeka ku makya nga bagenda ku ssomero ate buli wiikendi mbatwalako ku bbiici ne basanyuka. Wabula nfuna n’obudde obubabuulirira okweyisa obulungi.

Mu biseera byo eby’eddembe okola ki?

Buli wiikendi naddala ku Ssande nkyakalira ku bbiici ne mikwano gyange. Bwe siba eyo mba mu kuyimba ennyimba z’eddiini n’okusoma butabo kubanga kye kisanyusa omutima gwange.

 alukenge ngakola dduyiro mu maka ge Nalukenge ng’akola dduyiro mu maka ge.

 

Biki by’okola okukuuma omubiri gwo n'olususu?

Ndya bulungi n’okunywa. Ndya nnyo ebibala okuli ovakkedo, amapaapaali ne Apo ebinnyamba okunyirira n'okulabika obulungi. Okwo kwe ngatta okukola dduyiro buli ku makya ku ssaawa 12. ηηenda mu jjiimu buli luvannyuma lwa wiiki bbiri ku Lwomukaaga. Nfuba okwesiiga ebizigo ebigendera ku lususu lwange nga tebyerusa era nakyo kinnyamba okulabika obulungi.

Misono ki egy’enviiri gyosinga okusiba?

Nsiba buwiivu ne penso kubanga bundabisa bulungi. Nfuba okulaba nga nkyusa enviiri buli luvannyuma lwa mwezi gumu. Osinga kwambala misono ki egy'engoye. Nnyambala empale ezibeera ku mulembe n’ebiteeteeyi.

Obulamu bw’okubeera obwomu nga tolina musajja obusanze otya?

Obulamu mbusanze bulungi kubanga bumpa emirembe, sibeera mu kweraliikirira kubanga nkola ne nneebeezaawo era ne nneetuusaako buli kye njagala.

Kusoomoozebwa ki kw’ofunye mu bulamu?

Waliwo abafere abanzibira ku mikutu gya yitanenti ssente z'omwana wange ez’ebisale by’essomero.

Wandyagadde kubeera otya mu myaka ebiri mu maaso?

Njagala mbeere ne ssente zange nga nze omu ku bakyala ab’amaanyi mu Kampala era nga banneegomba.

Bakyala banno obawa magezi ki?

Bakole nnyo ate bafeeyo nnyo eri obulamu bwabwe balabirire ne famire zaabwe nga nze bwe nkola.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Visionagmndijjo2 220x290

Abalina emigabo mu kkampuni ya...

Abalina emigabo mu kkampuni ya Vision Group basiimye enkulaakulana etuukiddwaako omwaka guno.

Muteesa14 220x290

Mutesa yaggulawo enkolagana ya...

Okufuuka Pulezidenti, Ssekabaka Mutesa yalondebwa Palamenti, n’amyukibwa Sir. William Wilberforce Nadiope Kajumbula...

Gira 220x290

Ssentebe bamukutte lubona ng'asinda...

Ssentebe wa LCI akwatidwa lubona ng'anyumya akaboozi k'ekikulu ne muk'omutuuze.

Muteesa1 220x290

OKUJJUKIRA SSEKABAKA MUTESA II;...

Essimu gye yankubira lwe yakisa omukono nkyagijjukira

Sisiri 220x290

Siisiri w’abakazi bamukubyemu ttooci...

ABAKUGU bazudde ng’abakazi okuyimba siisiri mu buliri kijja lwa butonde. Bagamba nti kiva ku bwagazi omukazi bw’afuna...