TOP

Ebintu bye tubuusa amaaso ne bitta ekitiibwa ky’ennyumba gy’ozimbye

By Musasi wa Bukedde

Added 15th May 2017

OMUWALA omulungi atalina kugulu oba omukono afuuka mulema. N’omuntu azimbye ennyumba ey’omulembe kyokka n’alagajjalira ebintu by’ateekamu ng’emmeeza, kapeti, endabirwamu n’ekifo w’otereka engoye ebeera erina ky’ebulako.

Panda 703x422

Eddiiro nga lino linyuma otaddemu kapeti entono ng’eno erimu. Osobola n’okufunayo ey’oku mulyango.

BYA MARY NAMBWAYO NE PAUL KAKANDE

...............................................................................

Olina okujjukira nti ebifo ebimu ng’eddiiro gwe mutima gw’ennyumba abagenyi we batuukira era bwe bagisanga nga yeefanaanira etyo bakugeya olw’okulemwa okutambula n’omulembe naddala ng’ennyumba gye wazimba ya mulembe okusinga ebintu bye wateekamu.

Irene Kajubi omukugu mu by’okutegeka ennyumba mu Nina Interior Designers akulaze engeri gy’oyinza okuteekateekamu n’okulabirira ebintu by’obuusa amaaso oba by’oyita ebitono awaka ne wanyirira n’okukuweesa ekitiibwa.

EMMEEZA

Kajubi agamba nti emmeeza ze bakolera wano zibeera ngumu olw’emiti gye bazikolamu nga Mahogany, emivule, enkalati, emisambya n’emirala kyokka ezimu tezinyirira bulungi olw’abantu abazikola.

Eziva mu mawanga g’ebweru zibeera zirabika bulungi ng’era bw’ogiteeka mu nnyumba ebeera eshanana newankubadde ezimu teziwangaala n’okuba ez’entondo nga teyiibwako mazzi oba oyisaako ssabbuuni.

Bw’oba ogula emmeeza zino olina okumanya ekika kye weetaaga, ky’ogenda okugikozesa, w’ogenda okugiteeka na bantu ki abagikozesa.

ENKOZESA Y’EMMEEZA N’EBIKA BYAZO EY’OKU MULYANGO:

Omuntu ow’obuvunaanyizibwa yandibadde n’akameeza ku mulyango oguyingira mu ddiiro kyokka nga katonotono ate nga kakoleddwa mu lubaawo.

Akameeza kano kayamba okutuukizaako ebintu ebitonotono nga essimu, ebisumuluzo, obusawo bw’omu ngalo n’ebirala osobole okuggyamu engatto. Kino kikuyamba n’okuzuula by’olese mu mmotoka oba by’osudde.

EMMEEZA Y’OMU DDIIRO:

Mu ddiiro ery’omulembe mulina okubeeramu emmeeza entonotono gy’oteeka wakati. Eno eyawukana ku gye muliirako emmere kubanga yo ebeera nnene okusinziira ku bantu b’olina awaka. Akameeza kano oyinza okufuna ak’endabirwamu bw’oba tolina baana baddalu abayinza okugizannyirako n’eyatika. Ate eriirwako obunene bwayo businziira ku nnamba y’abantu b’olina awaka.

EMMEEZA Y’OMU KISENGE:

Buli kisenge ekisulwamu kyandibadde kiteekebwamu akameeza. Kano tekaba kanene nga kakuyamba obutasuulasuula buntuntu mu kisenge n’oluusi okuwandiikirako mu biseera ebyo eby’eddembe.

AKAMEEZA K’OMU LUKUUBO:

Ssinga obeera n’olukuubo nga luwanvu oba nga lugazi, kirungi nawo n’oteekawo akameeza w’oteeka obuntu obumu bwe mukozesa mwenna awaka ng’ebisumuluzo, eddagala erisenya amannyo, ttooki n’ebirala.

EBIKA by’emmeeza ebiriko :

Abantu ensangi zino basinze kwettanira mmeeza ezipangibwa olw’okuba tezitawaanya kutambuza naddala eri abakyapangisa. Ate abantu baagala nnyo emmeeza ennyimpi nga kirabika baakoowa ez’okukunuukiriza.

ENKUUMA Y’EMMEEZA:

Emmeeza okugikuuma obulungi olina okuteekako bu ‘‘table mart’’ nga buno buyamba okuziyiza ebintu ng’amazzi obutagyonoona.

Weewale n’okutuula ku mmeeza n’okuteekako ebintu ebyokya.

Bw’oba ogula emmeeza eno buuza omukugu omanye biki by’otolina kukozesa ng’ogirongoosa nga ssabbuuni.

Weewale okusiimuuza ebintu ebikalabula emmeeza ebiyinza okwonoona obulungi bwayo.

Emmeeza ey’embaawo naddala ezikolebwa wano oyinza okugiddaabiriza ng’ofuuyirako ‘vanish’.

KAPETI

Kapeti bye bimu ku bintu by’oyinza okuteeka mu nnyumba okulabika obulungi. Wabula ennaku zino abantu bettanira nnyo kapeti entono ezibeera wakati w’eddiiro okutuuzibwa obumeeza obutakalabula tayiro ne seminti.

Kajubi agamba nti newankubadde abantu bangi bakyakozesa kapeti zino tezikyali nnyo ku mulembe olw’engeri abasinga gye bazimba amayumba gaabwe nga galimu tayiro.

EBIKA BYA KAPETI

Kajubi agamba nti kapeti tezirina nnyo bika. Waliwo eza pulasitiika ezitera okukozesebwa bamufunampola ng’era teziwangaala n’ez’ebyoya. Kyokka kapeti zino okuzaawuula kisinziira ku ndabika, obunene n’enkula yaayo. Waliwo obutono obuteekebwa ku mulyango ne mu binaabiro.

LWAKI KAPETI TEZIKYAKOZESEBWA

l Kapeti zikozesebwa mu bifo ebyobunyogovu okusobola okukuuma ebbugumu mu nnyumba kyokka ennaku zino engeri n’ebbugumu gye lyeyongedde mu nsi, abantu abasinga bakozesa tayiro.

l Kapeti n’addala ez’ebyoya zirina emize egyenjawulo omuli okutereka enfuufu, okuwunya naddala nga ziyiiseeko amazzi oba okukukula.

l Kapeti z’ekyoya nzibu za kulongoosa kuba zitwala obudde bungi ng’okuzikuuta ne bbulaasi.

l Ku bantu abalina endwadde za alajje kapeti zino zibakosa nnyo era abasula mu nnyumba zino batera okukeera okwasimula.

ENDABIRWAMU

Endabirwamu kye kimu ku bintu eby’omugaso ebiyinza okubeera mu nju eri ku mutindo kubanga abantu batono abayinza okuva mu nnyumba nga tebeerabye bwe bafanaana n’okunyuma.

l Zino zibeera mu bifo eby’enjawulo omuli: Eddiiro we mutuula. Eno si yakweraba wabula kulabisa bulungi eddiiro. Mu buli kisenge mwandibaddemu endabirwamu abantu ze bakozesa okweraba. Kino kiyamba obutatawaanya bannaabwe mu bisenge ebirala.

l Mu kinaabiro: Muno mulina okubeeramu endabirwamu ng’eno yeeyambisibwa omuntu amaze okunaaba obutaswala.

l Endabirwamu y’omu lukuubo ekozesebwa okwetereeza ssinga obeera ofuluma mu kisenge naddala ng’olina gyogenda.

EZIRI KU MULEMBE

Endabirwamu eziri ku mulembe ze bayita (dressing mirrors) abasinga baziteeka mu bisenge.

Bazikola ng’olina ne w’otuula nga weekolako n’osobola okunyumirwa by’okola. Kyokka olina okugirongoosa ng’ogisiimulako enfuufu okulabika obulungi.

Olina okugiteeka mu kifo ekirungi awatatuuka baana kubanga bayinza okugizannyirako ne bagyasa.

Bw’oba ogirongoosa olina okukozesa ssabbuuni ow’amazzi, amazzi n’akagoye n’oyisa ku ndabirwamu okusobola okugiyonja obulungi.

‘KULOZETI’

Kulozeti kye kifo ekizimbiddwa, kabada oba ekintu ekirala ekikoleddwa okuterekebwamu engoye.

Kulozeti ez’omulembe osobola okuzizimbira mu nnyumba era tezirina ng’eri gye zikosaamu bugazi bwa kisenge kyo. Kulozeti zino ziyinza okuba nga zikoleddwa mu miti oba mu ngoye kyokka zino zisinziira ku ssente n’obugazi bw’ekisenge. Omukugu mu kutegeka ennyumba okuva mu Ricardo Furniture City e Najjanankumbi akulaze ebika bya kulozeti wamu n’engeri gy’ozikwatamu.

KULOZETI ENTUUFU YANDIBADDE ETYA

Kulozeti ey’omulembe esinziira ku kika omuntu ky’ayagala kuba zirimu ebika ebyenjawulo naye kulozeti yonna ey’omulembe yandibaddeko ekiggala okukuuma engoye obulungi, awateekebwa ebintu nga wazimbe bulungi wamu n’okubeera ne hanga okuteekebwa engoye.

ENZIMBA YA KULOZETI

Kulozeti y’omu kisenge okugizimba olina okukozesa omukugu. Balina okugizimba obulungi ne bakubamu embaawo n’okuwanikamu emiggo (rods) oluvannyuma oteekeko enzigi nga kuliko n’ebisumuluzo ng’osobola okusibawo.

Osobola okugyawulamu ekitundu ne kibeera kya ngoye ate waggulu n’oteekayo ebintu nga kkeesi obutabeera na mujjuzo mu kisenge. Zirimu ebika omuli: Walk in Closet ezimbiddwa mu kisenge. Eno bagiteera mu nnyumba nnene.

ENDABIRIRA YA KULOZETI

Omuntu okukuuma kulozeti nga nnyonjo kyandibadde kirungi n’oteeka ebintu by’osinga okukozesa okumpi w’obirabira amangu ate by’otokozesa nnyo n’obiteeka ewala.

EBIFAANANYI

Ebifaananyi nabyo bikulu nnyo mu nnyumba. Era omuntu bw’ayingira mu ddiiro, amaaso gatuukira waggulu nga bw’ageetoolooza okubyetegereza.

Wano bwe baba bayise babiri n’okusingawo ogenda okuwulira nga batandise okukubaganya ebirowoozo, okusonga ku bifaananyi ebyanyuma oba ebibajjukiza emyaka egyedda oba embeera yonna. Ennyumba yo okusigala ng’erabika bulungi, olina okufuna omubazzi n’akukubirayo obubaawo kw’obiteeka.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lum1 220x290

LUMAAMA Francis alabudde abantu...

LUMAAMA Francis alabudde abantu okukomya okwetundako ebinja

Seg1 220x290

Omusibe afiiridde mu kaduukulu...

Omusibe afiiridde mu kaduukulu asattiza Poliisi y'e Namanve

Mus1 220x290

Eyasibidde omwana we mu kabuyonjo...

Eyasibidde omwana we mu kabuyonjo Polisi emunoonya

Kub1 220x290

Omugagga Cameroon Gitawo ayogedde...

Omugagga Cameroon Gitawo ayogedde ekibadde kimubuzizza

Mob1 220x290

Omukozi wa Gavumenti bamuyimirizza...

Omukozi wa Gavumenti bamuyimirizza ku mulimu lwa kwambala mmini