TOP

Engeri nnakawere ow'omulembe gye yeerabirira ne bbebi we

By FORTUNATE NAGAWA

Added 15th May 2017

FARHA Adams mutuuze w’e Kisaasi mu Zooni I. Mu kiseera kino alina bbebi atannaweza mwaka wabula obwannakawere tebumulemesezza kulabika bulungi.

Photo1 703x422

Farha Adams ng’azannyamu ne bbebi we gye buvuddeko.

Mukyala mufumbo era abumazeemu emyaka mukaaga. Mukyala musuubuzi era addukanya edduuka lya ALMAKTOUM eritunda eby’okwewunda eriri e Muyenga.

Alaze engeri gy’asobodde okwerabiriramu ne bbebi we, omwami, amaka ate n’atuukiriza n’ebimusuubirwamu ku mulimu;

Olunaku olutandika otya?

Nzuukuka ku ssaawa 12:00 ez’oku makya ne ntegekera omwami wange ekyenkya ate olwo ne ntandika okukola ku mirimu gy’awaka n’okutegeka omwana, nsobole okutuuka ku dduuka ku ssaawa 3:00.

Ssaawa 1:00 ey’akawungeezi ensanga ntuuse awaka okusobola okuttaanya eby’awaka.

Obulamu bw’obuzadde obusanze otya?

Bw’ofuna omwana ebintu ebikyuka, okugeza nze ebiseera ebisinga ndowooza ku mwana wange kye nva nkola naye. N’ekirala kati nakula mu birowoozo kubangga ndi maama.

 arha dams ne bbebi we gye buvuddeko Farha Adams ne bbebi we gye buvuddeko.

Okuzaala tekulina ngeri gye kukukosezzaamu naddala mu ndabika yo?

Nze ndaba nasigala kye kimu kubanga omubiri gwange ngufaako. Okugeza sirya bisiike era n’awaka sisiika.

Omwana osobodde otya okumukuuma ng’anyirira?

Ekisookera ddala mmuyonsa buli kiseera engeri gye nkola naye era seeganya kuyonsa ng’abakyala abamu. Amabeere bwe gaba tegamumaze mmugabirira amata.

Ekirala mmukuuma nga muyonjo. Engeri gyali omulenzi simusiibya nnyo mu ppampa kubanga ziyinza okumukosa. Bwemba mmusibye ppampa ngikyusa buli luvannyuma lwa ssaawa bbiri.

Omwana osuubira kumuggya ddi ku mabeere?

Bw’anaaweza omwaka gumu n’ekitundu nga mmuggya ku mabeere.

Bw’otobaawo omwana omukuuma otya?

Nnina omuwala gwe natendeka annyambako wabula sitera kuva wali mwana wange kubanga alinga kitundu ku bulamu bwange.

Osuubira kumutandisa ddi okusoma?

Nandyagadde atandike nga wa myaka ebiri mu ‘Daycare’.

 gasuddemu akateeteeyi akampi akamunyumira te ku ddyo ngalaga akatanda ka bbebi akomulembe ke yeebakamu emisana Ng’asuddemu akateeteeyi akampi akamunyumira. Ate ku ddyo, ng’alaga akatanda ka bbebi ak’omulembe ke yeebakamu emisana.

 

Olususu lwo olukuuma otya okulabika obulungi?

Nnywa nnyo amazzi kubanga nkimanyi galongoosa olususu n’okwewala okulya ebisiike mpozzi ne ‘mekaapu’ gwe neesiiga owa ‘Mac’ ayogera ku ndabika yange.

Weesiiga bizigo ki mu feesi?

Neesiiga ‘Fair and White gold.

Kyama ki kye wazuula mu nviiri ennyimpi?

Zikekkereza ssente, ziwa emirembe ate tezitwala budde.

Weekuba buwoowo ki?

Ntera okwekuba ‘Channel blue, Womanity ne Missoni.

Misono ki egy’engoye gy’oyambala?

Nsinga kwambala biteeteeyi.

Obufumbo wabuyingira okyali muwala muto kusoomoozebwa ki kw’obusanzeemu?

Okusoomoozebwa okusinga bye bigambo by’abatabuzi naye nasalawo kufumba ebirala sitera kubitunuulira.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lob2 220x290

Omukuumi attiddwa n’asattiza ab’ebyokwerinda...

Omukuumi attiddwa n’asattiza ab’ebyokwerinda

Ndo1 220x290

Omusawo asimattuse okugajambulwa...

Omusawo asimattuse okugajambulwa

Gub1 220x290

Balwanidde tikiti z’Omutujju

Balwanidde tikiti z’Omutujju

Web3 220x290

Bobi, wasigazzaamu ku doola ompeeyo?...

Bobi, wasigazzaamu ku doola ompeeyo?

Tub1 220x290

Hoo...ataakulaba

Hoo...ataakulaba