TOP

Engeri gy’ozimba ennyumba n’okekkereza ssente z’osaasaanya

By Musasi wa Bukedde

Added 5th June 2017

ABANTU abasinga balina ekirooto ky’okuzimba amayumba bawone obupangisa n’okubasindiikiriza.

Pala1 703x422

N’ennyumba ng’eno osobola okukekkereza. Mu kifo ky’okuyiwa bbiimu, okozesa byuma okwetooloola ennyumba yonna.

Osobola okutandika n’akatono k’olina kyokka oluusi kikwetaagisa okusooka okukuηηanya ssente eziwera n’okugula ebyetaagisa ebisinga okutandika okuzimba.

Wabula engeri ssente gye zifuuse akasente nga n’ebyenfuna byongera kukaluba, abantu abasinga bayiiya engeri gye bayinza okufuna ekintu ekirungi kyokka nga bakekkereza.

Bwe batyo abamu ku bazimba ennaku zino beekutte Yusufu Kazibwe nnannyini kkampuni ya ‘’Nana Corp Ltd’’ akozesa tekinologiya w’okuzimba ng’akozesa ebyuma okukekkereza ssente n’ebizimbisibwa.

Agamba nti bw’oba obadde ogenda kuzimba ennyumba ya bukadde 30, osalako ebitundu 35 ku 100 ng’era ejjumbiddwa abantu mu bitundu by’e Kira, Ssonde, Najeera, Bweyogerere, Buziga n’ebitundu ebirala mu ggwanga.

EBIRUNGI BY’ENZIMBA ENO

 Kazibwe agamba nti enzimba eno ekekkereza enkozesa ya siraabu ne kkolomu ezisibwa ku kizimbe. Bino bimanyiddwa nti bitwala seminti mungi n’amayinja nga mu kifo awaandibadde ebintu bino bakozesa byuma eby’ekika kya IBM ng’era bw’obalamu ogenda okulaba ng’okekkereza nnyo. Teweetaaga kugula makisipaani, embaawo, emisumaali ne seminti omungi ng’oyiwa siraabu naddala ku bazimba kalina. Kyokka bw’oba ozimba kalian ng’okozesa enkola enkadde, ebintu bino olina okuba nabyo mu bungi.

 Enzimba eno teyeetaaga bakozi bangi. Kino kimanyiddwa nti buli lw’otandika okukozesa tekinologiya, okendeeza ku bantu b’okozesa ku sayiti ng’ate n’emirimu gikendeezebwako. Okugeza awagenda emitayimbwa ng’osibako bbiimu, okozesa embaawo n’ebyuma. Jjukira nti bw’oba oyiwa siraabu mu nkola enkadde, weetaaga emitayimbwa mingi, enkokoto, emiti egiwanirira n’ebirala. Naye bw’oba okozesa enzimba ya Nana, obeera tobyetaaga.

 Eno enzimba etwala obudde butono okusinziira ku ya bulijjo gy’olina okusooka okuwummulamu enkokoto n’ebisenge okuguma. Wano osooka kusimba byuma ebiwanirira buli kimu okuviira ddala mu musingi ng’ate okekkereza.

 Enzimba eno teyeetaaga kukozesa bwongo bungi kubanga we bayiwa siraabu okozesa mbaawo n’ebyuma. Kyokka mu nzimba enkadde, olina okusiba embaawo, bbuliti, okuluka emitayimbwa ng’aluka omukeeka n’okuteekamu obukugu ng’oyiwa enkokoto. Bino byonna kitegeeza kukendeeza ku ssente z’okozesa, abantu n’ebikozesebwa.

 nnyumba ezimbibwa nga bakozesa ebyuma kekkereza ssente nebizimbisibwa Ennyumba ezimbibwa nga bakozesa ebyuma. Ekekkereza ssente n’ebizimbisibwa.

 Kazibwe yategeezezza nti enkola eno ekendeeza ku buzito bw’ekizimbe ne ssente. Wano okekkereza ebitundu 35 ku 100 bw’ogeraageranya ku nzimba enkadde. Enkola eno oyinza okuzimba kalina zonna z’oyagala olw’ebyuma okuwewuka nga bw’olaba mu nsi z’ebweru.

 Bw’omala okuyisaamu ebyuma by’ekika kya IBM, kikwetaagisa bbulooka ntono nnyo okugatta ebisenge bw’ogeraageranya ku nzimba enkadde gye bazimba nga bbulooka ozikiika okusobola okuwanirira obuzito bwa siraabu ayiibwako.

 Ng’otandise okuzimba, kyangu okukyusa oba okuzimba dizayini yonna gy’oyagala. Kino kisoboka kubanga ebyuma bino osooka kubyokya ng’era kyangu okwongerako oba okubisalako ekitasoboka ng’okozesa bbulooka mpozzi ng’omenya ebisenge ebimu ate kino kireetera ennyumba okukendeeza ku bugumu bwayo n’efuuka ey’obulabe gyoli.

 Bw’oba ozimba ennyumba naddala kalina ng’okozesa enkola eya bulijjo, weetaaga ebintu nga ‘wheel order’ n’ekyuma ekitabula omusenyu kyokka Kazibwe agamba ku enzimba eno ey’ebyuma ebyo tebyetaagisa ssente ze wandiwaddeyo n’ozikolamu ebintu ebirala.

 Enzimba eno esinze kwettanirwa abo abatambula n’omulembe n’oluusi abatambuddeko mu nsi z’ebweru olw’obutayagala kwonoona ttaka gye yatandikira era y’esinga okukozesebwa. Ate ennyumba eno ogizimbira mu bbanga ttono nnyo ng’omuntu ne bw’aba avudde ku kyeyo, asobola okugizimbira mu myezi ng’ebiri n’eggwa n’addayo n’awona abantu okumuliira ssente ze.

TEKINOLOGIYA KI GWE BAKOZESA?

 Nana tekinologiya kika kya nzimba mwe bakozesa ebyuma bya Steel ebiyitibwa I-Beams biyite IBM.

 Bwe baba bayiwa siraabu, bakozesa embaawo, ebyuma bya Steel, obutimba bwa BRC n’enkokoto. Siraabu zibeera n’ebituli wakati ebiremesa eddoboozi okuyitamu n’okukendeeza ku buzito bwa siraabu.

 Ekizimbe kyonna kizimbibwa n’ebyuma bya Steel ebiyitibwa I-Beams n’enkokoto ebigumya ekizimbe.

ENZIMBA ENO EKEKKEREZA ETYA?

 Tetukozesa mitayimbwa egifuula okuzimba okw’ebbeeyi.

 Tetwetaaga miti okuwanirira siraabu n’embaawo.

 Ate tuteekako enkokoto ntono okusinziira ku nzimba eya bulijjo.

OBUWANGAAZI BULI BUTYA?

Yusufu Kazibwe agamba nti engeri ekizimbe kyonna gye kijjudde ebyuma okuviira ddala wansi, ennyumba eno kizibu okutawaanyizibwa kibuyaga ne musisi ng’ayise.

Agamba nti ebizimbe bino bisobola okuwangaala emyaka egisoba mu 100.

Enzimba eno okusinga eri China, Dubai, Egypt n’amawanga amalala agalina ebizimbe bya kalina ebisinga obuwanvu.

OMUNTU ASOBOLA OKUSASULA EKIBANJA MPOLA?

Tekinologiya ono akusobozesa okuzimba ennyumba mu bitundutundu nga bw’onoonya ssente mpolampola kubanga enkuba ne bw’etonnya teweeraliikirira nnyo nti eyinza okuyiika.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kkooti1 220x290

Poliisi eremeddwa okutwala fayiro...

POLIISI eremeddwa okutwala fayiro eriko omusango gw’okutemula eyali omwogezi wa poliisi, Andrew Felix Kaweesi mu...

Luwum 220x290

Abattakisi beegugunze olw’okuggala...

ABAGOBA ba takisi mu ppaaka enkadde abakozesa omulyango oguli ku Luwum Street bavudde mu mbeera ne bateeka akaziko...

Namanve 220x290

Ab’e Namanve balaajanidde ab’ekitongole...

ABATUUZE b’e Namanve (Kireku leerwe) abali ku ttaka ly’ekitebe ky’eggaali y’omukka, balaajana oluvannyuma lw’ekitongole...

Remassebunnya 220x290

Eyeekiika mu bba wa Rema aggyeeyo...

OMUSAJJA eyavaayo ne yeesimba mu bba wa Rema, abamu kye baataputa ng’ayagala okugootaanya emikolo gy’okwanjula,...

Brian 220x290

Mukula atutte Bryan White mu kkooti...

BRYAN White, ebibye bibi. Kkampuni ya Capt. Mike Mukula emututte mu kkooti lwa kumuguza mmotoka ku doola 120,000...