TOP

Engeri gy’oyambala engoye ezikoleddwa mu ‘leather’ n’onyuma

By Musasi wa Bukedde

Added 5th June 2017

MATIIRIYO ya leather y’emu ku zisinga okulaga ebbeeyi era nga buli kintu ekigikolebwamu nakyo kitwalibwa okubeera nga kya bbeeyi.

Pa 703x422

Nansamba mu ngoye za ‘leather ze yettanira.

Engoye ezikoleddwa mu matiiriyo eno nazo ziba za bbeeyi era nga okwawukanako n’engoye endala, engoye zino teziggwa ku mulembe.

Sybella Nansamba owa Ella Faces ono nga mwolesi wa misono era ng’ayooyoota ffeesi agamba nti omuntu ategeera era ayagala ennyo omulembe yandibadde afaayo okulaba nga yeefunirayo olugoye lwa ‘leather’ gamba ng’empale, akakooti, ensawo oba bbulawuzi. Agamba nti matiiriyo eno nnungi kubanga;

1 Lulaga ebbeeyi. Kizibu okwambala olugoye lw’ekika kino ne bakuyisaamu amaaso kubanga lulaga ebbeeyi era ne bw’oba olutobese n’olugoye olutali lwa bbeeyi ya waggulu abakulaba balaba ng’oyambadde eby’ebbeeyi ennene.

2 Obugumu n’obuwangaazi. Engoye ezikoleddwa mu matiiriyo ya ‘leather’ ziba ngumu era nga mpangaazi okusinga ku matiiriyo endala. Wabula oteekeddwa okwekkaanya obutagula ‘leather’ wa bicupuli kubanga ono ayanguwa okwonooneka.

3 Matiiriyo ya ‘leather’ teva ku mulembe, era buli lw’ogyambalira ekulaga nti ebyokwambala obitegeera bulungi.

ENGOYE ZA ‘LEATHER’ OZAMBALA DDI

Si buli kiseera nti osobola okwambala olugoye lwa matiiriyo ya ‘leather’. Nansamba agamba nti engoye zino ziba nzito nnyo era nga zirina ebbugumu lingi.

Noolwekyo, ssinga omuntu abeera asazeewo okulwambala okugeza nga akakooti, kyandibadde kirungi n’akambala mu biseera ebitali bya bbugumu gamba nga mu nkuba oba akawungeezi okwewala ebbugumu okukuyitirirako.

ENDABIRIRA Y’ENGOYE ZA LEATHER

Okwawukana ku ngoye endala, matiiriyo ya ‘leather’ eyozebwa mu ngeri ya njawulo. Tolukunya osiimuulako busiimuuzi n’akagoye akaweweevu okwewala okuzikalabula n’okuzivungavunga ekiyinza okulwonoona.

Ekirala tolina kululwisa mu musana ng’olwanise kuba omusana gulunafuya n’ekivaamu kuyulika.

Bw’oba osazeewo okugolola olugoye olukoleddwa mu matiiriyo ya ‘leather’, kakasa ng’omuliro gwa ppaasi gy’okozesa mutono ddala okwewala okulwokya kubanga matiiriyo ey’ekika kino ewulira mangu omuliro.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Looya1 220x290

Lukyamuzi ne Bwanika basabye kkooti...

EYALI omubaka Ken Lukyamuzi atutte akakiiko k’ebyokulonda mu kkooti Enkulu ng’ayagala ekalagira kayise ekiragiro...

Kasimba 220x290

Abeddira akasimba basonda za kuzimba...

Yategeezezza nti ekika kirina enteekateeka y’okuzimba ekizimbe gaggadde ekituumiddwa 'Akasimba Plaza' okukolerwa...

Seb1 220x290

Hanson Baliruno akubye abawagizi...

Hanson Baliruno akubye abawagizi be omuziki ne yeebaza Katonda olw'ekirabo eky'obulamu

Cot1 220x290

Abalamuzi bayimirizza akeediimo...

ABALAMUZI bakyusizza obukodyo bw’okusaba Gavumenti ebongeze emisaala ne bayimirizza n’okwekalakaasa kwe babadde...

Fdc1 220x290

Salaamu Musumba alangidde ababaka...

OMUMYUKA wa Ssabawandiisi wa FDC Salaamu Musumba alangidde ababaka ba Palamenti ‘’obufere’’ n’ategeeza ng’ekibiina...