TOP

Engeri abazimba n’abapangisa gye bagenda okukosebwa bajeti empya

By Kizito Musoke

Added 12th June 2017

BAJETI y’eggwanga eyasomeddwa ku Lwokuna etiisizza abazimba n’abapangisa olw’emisolo emiggya egiteekeddwa ku seminti n’ebizimbe ebipangisibwa mu kaweefube w’okwongera ku bungi bwa ssente ezikung’anyizibwa Gavumenti.

Rata1 703x422

Abakola ebibajje wano e Uganda balidde. Wabula balina okwongera ku mutindo. Lawrence Tunatinde ow’e Busega ng’asiiga obumeeza vanisi.

Mu bajeti ya 2017/18, minisitule y’Ebyensimbi erina emisolo emiggya gyereese egisuubirwa okukosa bbeeyi y’ebintu omuli ebizimbisibwa, bbeeyi y’ebibajje by’omu nnyumba ebiva ebweru w’eggwanga n’ebirala.

Emisolo emiggya n’enkola y’okuggya emisolo ku bintu ebimu byeyolekera mu Income Tax (amendment) Bill 2017, Excise Duty (amendment) Bill 2017 ne VAT (amendment) Bill 2017.

EBIKOZESEBWA EBIVA EBWERU BITEEREDDWAKO EMISOLO

Gye buvuddeko Gavumenti yatongoza enkola ya ‘Buy Uganda Build Uganda’ (ekitegeeza ‘‘Gula Uganda, zimba Uganda’’.

Enkola eno eruubiriddwaamu okuwagira Bannayuganda okugula n’okukozesa ebintu ebikolebwa mu ggwanga.

  • Ebibajje ebikozesebwa mu nnyumba ng’entebe, emmeeza, kabada ebiva ebweru w’eggwanga naddala China ne Malaysia bigenda kuteekebwako omusolo gwa bitundu 20 ku 100. Kyokka byo ebikolebwa mu ggwanga tekuli musolo guno. N’ebikozesebwa okuva ebweru ne bipangibwa wano bibalibwa ng’ebikoleddwa ebweru w’eggwanga era birina okuwa omusolo guno.

Kino we kijjidde ng’ababazzi bazze beemulugunya olw’ebintu ebiyingizibwa mu ggwanga ebibamazeeko akatale ate nga nabo bakola ebintu ebiri ku mutindo wadde nga tebayambiddwa kimala.

Ababazzi b’e Nsambya, kino baakitegeeza Pulezidenti Museveni bwe yabakyalira omwaka oguwedde.

  • Godfrey Kayemba omubazzi w’entebe n’emmeeza e Katwe yasanyukidde ekirowoozo kya gavumenti n’ategeeza nti kyakubayamba nnyo okutunda ebintu bye bakola ku miwendo egya wansi bisobole okuvuganya n’ebiva ebweru ebisuubirwa okulinnyisibwa.
  • Ying. Vincent Katende yagambye nti abasuubuzi abatunda ebibajje bya Uganda balina okukola ennyo okulaba nga balinnyisa omutindo.

Ebibajje ebiva ebweru ne bwe banaabirinnyisa omusolo kyokka ne bisigala nga birungi era abantu bajja kubyettanira. Yagambye nti obuzibu n’ebibajje ebitundibwa mu Uganda nga bikoleddwa mu miti emirungi bya buseere. Kino kiva ku kubeera nti emiti bagitemye nnyo mu ggwanga, nga mu kiseera kino emivule egisinga bagiggya mu Congo. Olubaawo olumu we lutuukira mu ggwanga balutunda 30,000/-.

Ekirungi kye ky’ebibajje ebikoleddwa mu Uganda biwangaala nnyo bw’obigeraageranya ne ‘chip boards’ eziva ebweru w’eggwanga. Kyokka waliwo obuzibu bw’okubikola mu miti egitali migumu. Kino kye kimu ku kireetera abantu okugula eby’ebweru, kuba wo ogula ky’olabako.

SEMINTI YANDIRINNYA EBBEEYI

  • Amos Lugoloobi, ssentebe w’akakiiko ka Bajeti aka Palamenti yagambye nti ekirungo kya ‘Clinker’ ekiteekebwa mu seminti kiteereddwaako omusolo. Omusolo guno gugenda kukosa abo abakiggya ebweru w’eggwanga ng’e Kenya kyokka ekikolebwa wano mu ggwanga tekigenda kuggyibwako musolo. ‘Clinker’ gabeera mayinja ge bakoona ne baggyamu obuwunga obukola seminti.

Ekirungo kikola ebitundu 90 ku 100 ku birungo ebibeera mu seminti atundibwa. Lugoloobi yagambye nti bulijjo ‘Clinker’ abadde aggyibwako musolo k’abeere asimibwa mu Uganda wadde ggwe bajja ebweru.

Yagambye nti waliwo kkampuni nga Tororo Cement agabadde gakolagana n’amalala e Kenya ne bayingiza ekirungo kino. Yagambye nti okuggyako nga bettanidde asimibwa mu ggwanga, bajja kuwalirizibwa okwongeza emiwendo gya seminti.

  • Caroline Kezaabwe, omwogezi wa kkampuni ya Hima, yagambye nti bo tebajja kukosebwa kuba ‘Clinker’ gwe bakozesa bamwekolera wano mu ggwanga.
  • Kyokka Ying. Vincent Katende yagambye nti kkampuni nnyingi zibadde zimuggya bweru era abantu bajja kwesanga nga seminti bamugula ku buseere.

SSENTE Z’OKUYINGIZA AMASANNYALAZE ZIVUDDEWO

Pulezidenti Museveni bwe yabadde ayogerako eri eggwanga ku Lwokubiri mu ‘State of Nation Address’ yagambye nti abaakola endagaano n’abaddukanya Bujagaali baakola ensobi ne bategeeraganira ku bbeeyi eya waggulu.

  • Ruth Nankabirwa, Nampala wa gavumenti yategeezezza nti gavumenti erina entegeka y’okuggya omusolo ku Bujagali Hydro Power Plant okutuukira ddala mu mwaka gwa 2033.

Kino kigendereddwamu okukendeeza ku bbeeyi y’amasannyalaze obutalinnya nnyo. Kino ssinga tekikolebwa amasannyalaze agakolebwa e Bujagali gajja kuva ku doola 0.11 cents buli unit, gatuuke ku doola 0.16 buli unit. Kino kigenda kukaluubiriza abantu okugakozesa olw’obuseere.

  • Irene Muloni, minisita w’amasannyalaze n’eby’obugagga eby’omu ttaka, yagambye nti Gavumenti egenda kuggyawo ssente abantu ze babadde basasula okuyingiza amasannyalze.

Kino kikoleddwa okusobozesa amaka, ebizimbe n’amakolero okufuna amasannyalaze.

  • Steven Illungole, omwogezi w’ekitongole kya UMEME yagambye nti emisoso gy’okufuna amasannyalaze egisinga gya kusasulirwa Gavumenti ya wakati n’abagabi b’obuyambi naddala mu bitundu ebiri mu byalo.
  • Yategeezezza nti UMEME y’ejja okutambuzanga emiti gy’amasannyalaze mu bitundu eby’enjawulo. Be bajja okuvunaanyizibwa okulaba nnannyini ttaka awagenda okusimbwa omuti n’okumuliyirira. Obadde osasula 98,000/- okukuyungako.
  • Ssinga omuntu yeetaaga okufuna amasannyalaze okuva ew’omuntu alina omuti amuliraanye, bujja kubeera buvunaanyizibwa bwa Gavumenti okumutegeeza nga bwe bagenda okuyunga omuntu omulala ku muti gwe. Abantu bano babadde balina enkola y’okusasuza abantu ssente.
  • John Amanya, akolanga omwogezi w’ekitongole kya Uganda Electricity Distribution Company Ltd. yagambye nti baluubirira okulaba nga ssente 1,200,000/- ezibadde zisasulwa omuntu atalina muti nga zissibwa okutuuka ku mitwalo 30.
  • Muloni yasuubizza nti gavumenti yaakugenda mu maaso n’okuwa abantu amasannyalaze mu byalo ku bwereere ng’eyita mu nkola ya Grid Based Out Based Aid Project. Mu kiseera kino Disitulikiti nnya zokka okuli: Buvuma, Kotido, Kaabong ne Buyende ze zitannaba kufuna masannyalaze.

MINISITA AWEEREDDWA OBUVUNAANYIZIBWA OKUGEREKA EMISOLO KU BIZIMBE

Mu bbago ly’etteeka erya Income Tax amendment Bill, mulimu akawaayiro akawa minisita obuyinza bw’okugereka ssente amayumba ze gateekeddwa okusasula mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo. Kino bakikoze mu kaweefube w’okumalawo omuze gwa bannannyini bizimbe okulimba ekitongole ky’emisolo ku ssente ze basolooza mu mayumba. Bannannyini bizimbe babadde balangirira ssente ntono ku ze basolooza.

Mwanje Katamba, omusuubuzi w’omu Kikuubo yagambye nti wadde gavumenti etunuulidde nnyo ssente, kyokka minisita bwateebereza kijja kuba kizibu okumanya emisoso nnannyini kizimbe gyayitamu okusobola okufissa ssente z’alowooza ze bafuna.

Bannannyini bizimbe kye balina okukola kwe kutereeza ebitabo byabwe nga balaga ssente ze basolooza ku bapangisa, nga kuliko lisiiti entuufu. Bino bye bijja okusinziirwako okugereka ssente ekizimbe kye zirina okusasula.

Lugoloobi yagambye nti kino kigendereddwaamu okuyamba ekitongole ky’emisolo okwongera ku ssente ze babadde bakuhhanya. Babadde basanga obuzibu olwa bannannyini bizimbe abalaga ssente entono ze basolooza. Kyokka yalaze okutya nti bannannyini bizimbe akazito bwe kanaabasukako boolekedde okukateeka ku bapangisa nga babasaba ssente ezisukkiridde.

BANNANNYINI BIZIMBE BALABUDDE OKULINNYISA SSENTE  Z’OBUPANGISA

  • Godfrey Kirumira, ssentebe w’ekibiina ky’Abagagga Kwagalana yagambye nti gavumenti erina okujjukira nti ensi gye tutambuliramu ebyenfuna byateebwa ng’abantu bakkirizibwa okweteerawo emiwendo ku bintu bye batunda.
  • Ekya minisita okumuwa obuyinza okuteebereza ssente ezikuhhanyizibwa mu bizimbe buli mwaka, kijja kulemesa bizinensi y’okuzimba ebizimbe efe. Abantu abazimba bamala kwewola ssente era ng’okuzizzaayo bateekamu amagoba.
  • Bannannyini bizimbe bajja kuwalirizibwa okwongeza ebizimbe bwe banaanyigirizibwa ennyo. Kino kyandituusa n’abapangisa okulemwa okubisasulira, ekiyinza okuleetera bizinensi nnyingi okugwa kikose gavumenti kubanga bajja kuba tebakyasobola kusasula misolo.
  • Ku kya doola, yagambye nti gavumenti erina okukimanya nti abasuubuzi beewolera mu doola era enkola y’okuyingirira buli kimu nga tewali kusooka kuteesa ne be kikwatako, ejja kutta bizinensi nnyingi mu ggwanga.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Visionagmndijjo2 220x290

Abalina emigabo mu kkampuni ya...

Abalina emigabo mu kkampuni ya Vision Group basiimye enkulaakulana etuukiddwaako omwaka guno.

Muteesa14 220x290

Mutesa yaggulawo enkolagana ya...

Okufuuka Pulezidenti, Ssekabaka Mutesa yalondebwa Palamenti, n’amyukibwa Sir. William Wilberforce Nadiope Kajumbula...

Gira 220x290

Ssentebe bamukutte lubona ng'asinda...

Ssentebe wa LCI akwatidwa lubona ng'anyumya akaboozi k'ekikulu ne muk'omutuuze.

Muteesa1 220x290

OKUJJUKIRA SSEKABAKA MUTESA II;...

Essimu gye yankubira lwe yakisa omukono nkyagijjukira

Sisiri 220x290

Siisiri w’abakazi bamukubyemu ttooci...

ABAKUGU bazudde ng’abakazi okuyimba siisiri mu buliri kijja lwa butonde. Bagamba nti kiva ku bwagazi omukazi bw’afuna...