TOP

Ensobi ezikolebwa abazimba ennyumba ne zibalemerera

By Kizito Musoke

Added 2nd July 2017

Bannayuganda bangi balina ekirooto ky’okuzimba amayumba gaabwe ne bagamaliriza. Wabula abamu bafuna ebizibu ebiteebereka ne bagakomya wakati era ennyumba z’ekika kino nnyingi mu bibuga n’ebyalo okwetooloola eggwanga.

Hehe 703x422

Ennyumba eno baagikomererako bbuliti ng’omwaka gumu oguyise kyokka nnannyini yo ekyamulemye okumaliriza

Ku nnyumba 100 ezitandikibwa, ebitundu 40 bye bizimbibwa ne ziggwa bulungi ate 60 ku 100 zikoma ku lupapula okwakubwa pulaani oba okukoma wakati.

Ying. Katende owa Treasure Consults yagambye nti okuzimba ennyumba olina kuyita mu mitendera okuli okukuba pulaani, okugula ebikozesebwa n’okuzimba.

N’olwekyo ennyumba esobola okukulemera ku mutendera gwonna bw’oba ofunye obuzibu. Katende yategeezezza nti ku mutendera gw’okukuba pulaani, abantu abamu ebintu bibatabukako.

Babeera ne pulaani nnyingi mu birowoozo ne balemwa okulondako kye baagala.   ying. Katende yagambye nti  ebintu bingi ebiviirako abantu okulemwa okumaliriza ennyumba ne zikoma mu kkubo. l agamba nti waliwo abazimba ennyumba nga tebalina pulaani gye bagoberedde.

Kino kibateeka mu buzibu kuba baba tebalina mbalirira ntuufu ya ssente eyeetaagisa okumaliriza omulimu. Omuntu yeesanga ssente ze yali asuubira nga zikomye ku madirisa.

l Abamu balina omuze nga bw’atandika okuzimba ate ayongeramu ebintu bye yali tabaliridde. Olumu ayinza okuba nga yabalirira nga ssente zijja kumala kyokka olukyala awantu n’alaba ekimusanyusa naye n’ayagala akyongere mu yiye nga tasoose kulaba wa ssente gye zivudde. 

l Abantu abamu babeera ne ssente ntono kyokka n’alowooza nti nnyingi nnyo oluusi ayinza okuba ng’alina we yaziteebye omulundi gumu n’akyamuka n’agugumula ennyumba ennene okukakkana nga ziweddewo ate n’amulema okumaliriza.

l Abamu bafuna ebizibu nga bali mu kuzimba. Omuntu ayinza okuba ng’azimba  bbanka n’emusuubiza okumuwa ssente oba okuyambibwako
mukwano gwe kyokka oluvannyuma ne bamwefuulira. abalala ayinza okufuna emisango oba okulwaza okukkakkana nga ssente zimugenzeeko.

l Oluusi abazimbi oba ba kontulakita bayinza okukubbako ssente oba ebizimbisibwa. Omuntu eyali alowooza nti ssente zaategese zijja kumumala yeesanga ziweddewo ng’omulimu teguwedde.                

l Abamu batandika ebizimbe ebinene ennyo nga mu mazima byetaagisa ssente nnyingi ekiyitiridde. Oluba okufuna ekizibu yeekanga omulimu guyimiridde ate n’alemwa okuddamu okuyunga. Katende agamba nti ssinga omuntu ono yazimba ennyumba ntonotono, osanga we yandifunidde ebizibu ng’ewedde.

l  Abantu bamu batuula wansi ne bakuba pulaani n’okukung’aanya ssente z’okuzimba kyokka ne batwala ebbanga ddene nga beeteekateeka. Bagenda okutandika okuzimba ng’ebintu byalinnya dda ssente ne zigaana okumala.

ALEMEREDDWA OKIKOLA OTYA? 

l Ying. Katende yagambye nti ekikulu ye muntu okusooka okubalirira ssente z’ennyumba ng’okimanyi bulungi nti ennyumba osobola okugizimba mu mitendera gya mirundi esatu. Osobola okugiyimiriza ku musingi, ku lingi bbiimu oba ku woolo puleeti. ne bwoddamu okufuna ssente sooka weekebejje nti bye wasooka okuzimba bikyali bigumu. Olumu biyinza okuba nga we wakoma emitayimbwa gyatalagga oba nga kikwetaagisa okumenya ebitundu ebimu obitereeze.

l Ku ngulu ku bisenge we wakoma okuzimba bikkako ekiveera ku ngulu. Kino kikuyamba okutangira enkuba okuyingira ennyo mu matoffaali. Kyokka kino nakyo kirina okuba nga kya kiseera kigere.

Bwoba ng’olina ekyapa w’ozimbye, ennyumba eyo esobola okukola ng’omusingo mu bbanka ne bakuwa ssente n’ogimaliriza. Ssente ze wandibadde okozesa okupangisa ate z’okozesa okusasula ebbanja lya bbanka.

l Bw’oba obadde mwesigwa kirungi okuyitaayita mu booluganda n’emikwano. Kyangu okufunayo omuzirakisa asobola okukuwola ssente ate n’omusasula mpolampola oluvannyuma. Si kirungi kuttira ssente mu nnyumba eyagaana okuggwa.

l Bw’oba obadde ozimba nnyumba z’abapangisa ng’ate ziri walungi, kyangu okunoonya abapangisa abakuwa ssente n’omaliriza ennyumba. Oluvannyuma mubalagana mpolampola nga baziyingidde ate eby’okufuna amagoba n’obirowoozaako luvannyuma.

l  Muhamad nsereko, omukubi wa pulaani yagambye nti omuntu bw’abeera ng’akolaganye bulungi n’abakugu bayinza okumukolera ennyumba ye nga bamaliriza mu bitundu nga basooka ne bazimbako ebisenge nga bibiri n’oyingira n’owona okupangisa. Bwoba ng’obadde olina amaanyi nga tolina ssente, osobola emirimu egimu okugikozesa emikono gyo. Okugeza tewali kikugaana kwekubira bbulooka, okukuba amayinja  n’okuweereza ng’ozimba. 

l Osobola n’okweyambisa ebizimbisibwa ebiva mu kitundu mw’obeera. Bino biyinza okuba nga si bya mutindo gwa maanyi, kyokka nga bisobola okukola omulimu ogw’efanaanyirizaako ate ne kiba kirungi. Okugeza oyinza okuzimbisa olufuufu mu kifo ky’omusenyu.


More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Muteesa14 220x290

Mutesa yaggulawo enkolagana ya...

Okufuuka Pulezidenti, Ssekabaka Mutesa yalondebwa Palamenti, n’amyukibwa Sir. William Wilberforce Nadiope Kajumbula...

Gira 220x290

Ssentebe bamukutte lubona ng'asinda...

Ssentebe wa LCI akwatidwa lubona ng'anyumya akaboozi k'ekikulu ne muk'omutuuze.

Muteesa1 220x290

OKUJJUKIRA SSEKABAKA MUTESA II;...

Essimu gye yankubira lwe yakisa omukono nkyagijjukira

Sisiri 220x290

Siisiri w’abakazi bamukubyemu ttooci...

ABAKUGU bazudde ng’abakazi okuyimba siisiri mu buliri kijja lwa butonde. Bagamba nti kiva ku bwagazi omukazi bw’afuna...

Ganja2 220x290

Ebintu 15 by’okola n’oganja ewa...

Edith Mukisa omukugu mu kubudaabuda abaagalana n’abafumbo akuwa ebintu 15 byoyinza okukola okusobola okuganja n'okunyweza...