TOP

Omusono gw'akamuli gukutte abawala omubabiro

By Musasi wa Bukedde

Added 27th August 2017

ABAYIIYA emisono buli olukya baleetayo ekipya ekikwata abambazi omubabiro.

Kamuli 703x422

Pauline (ku kkono) ne Nisha (ku ddyo) mu misono egy’enjawulo okuli akamuli ka ‘Gucci Flower’ akacaase ensangi zino.

Ennaku zino omulembe gw’akamuli gwe gumu ku gikutte abawala omubabiro era ku bawala 10 b’osanga naddala mu bifo ebisanyukirwamu, 6 ku bo ojja kwesanga nga bambadde engoye eziriko obumuli.

Engoye zino zitungibwako ebimuli bibiri era Milly owa Milly’s Botique e Nakulabye ne Nisha Kaweesi owa Nisha Botique e Kasubi abategeera eby’okwambala ebiri kumulembe bakunnyonnyola ebimu ku bikwata ku munono guno.

Omusono guno baguyita batya? Omusono guno guyitibwa “Gucci Flower” era engoye zino zijjidde mu mpya zokka.

Zisangibwa mu langi ki? Ziri mu langi ez’enjawulo ng’osobola okulufuna mu bbulu, emmyuufu, enjeru, enzirugavu n’endala.

Wabula langi z’ekimuli zitera kubeera mu mmyuufu ne kiragala. Omusono guli mu kika ki eky’engoye? Gusangibwa mu biteeteeyi ebimpi n’ebiwanvu, empale za jjiini, bbulawuzi, tulakassuuti n’ebirala. Zigula ssente mmeka?

Emiwendo gikyukakyukamu katono okusinziira ku kifo w’oluguzz okugeza

  • Tulaaka suuti eri wakati wa 60,000/- ne 70,000/-.
  • Sikaati eri wakati wa 35,000/- ne 50,000/-.
  • Bbulawuzi za 25,000/- ne 40,000/-.
  • Ebiteeteeyi bya 60,000/- ne 80,000/-.
  • Empale 30,000/- ne 50,000/-
  • Enkoofi ira 20,000/- ne 30,000/-.

Zijjira mu matiiriyo ki?

Engoye zino zitungibwa mu matiiriyo ez’enjawulo omuli ppamba, ‘shiffon’, siriki, kapiira ne jjiini.

By’ogoberera ng’ozambala.

Bw’oba oyamba engoye zino fuba okulaba ng’obumuli bw’oyambadde bukwatagana kuba wadde ebimuli bisinga kuba mu langi ya kiragala n’emmyuufu, waliwo abalina engoye eziriko ekimuli ekiri mu langi ez’enjawulo naddala ebyozeseemu, naye fuba okulaba ng’ekimuli kigwatagana na buli ky’oyambadde okuli engatto essaawa, ensawo n’enkoofiira.

Era ekimuli kino kinyuma nnyo ng’olugoye lukukutte kubanga ekimuli kiba kisobola okwerambika obulungi ku mubiri.

Ekirala weegendereze lipusitiiki gw’osiiga ku mimwa naddala ayambadde ekimuli nga kiri mu kifuba oba ku kibegabega bireme butakwatagana.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Yop1 220x290

Bannaddiini balabuddwa ku mulugube...

Bannaddiini balabuddwa ku mulugube gw'obukulembeze

Hub2 220x290

Ekibadde mu MTN Maratho 2017

Ekibadde mu MTN Maratho 2017

Kub1 220x290

Nkozi etikkidde abayizi 1200 Ssekandi...

Nkozi etikkidde abayizi 1200 Ssekandi n'abasaba okubeera abakozi abalungi

Bod1 220x290

Eyazze okukuba owa boda akatayimbwa...

Eyazze okukuba owa boda akatayimbwa akubye bbali owa boda n'amunyweeza; Amukubye kata amutte!

Lop1 220x290

Namukadde awangudde omudaali mu...

Namukadde awangudde omudaali mu MTN Marathon