TOP

Engeri gy’ogula ettaka ettuufu ne batakufera

By Ponsiano Nsimbi

Added 27th August 2017

ETTAKA kye kintu ekisinga okubeera eky’ettunzi ku mulembe guno.

Waba 703x422

Abapunta nga bapima ettaka Hajjati lye yaguza Kagoma.

Wadde biri bityo, teryeyongerako ng’ate obwetaavu bweyongera buli olukya.

Bangi battiddwa olw’emivuyo n’entalo ezeekuusa ku ttaka ssaako okwonoonera abantu ebyabwe.

Okugezaako okwanukula okukaaba kw’abantu, Gavumenti yataddewo akakiiko akakulirwa omulamuzi Bamugemereire okunoonyereza ku mivuyo gy’ettaka mu ggwanga.

OKOLA OTYA OKUGULA ETTAKA ETTUUFU

Olina okusooka okumanya ekika ky’ettaka ly’ogula, emitendera gy’oyitamu ng’oligula, amateeka n’obukwakkulizo obuliriko.

Ebika by’ettaka kuliko: Erya mayiro, liizi, eryobwannannyini n’ensikirano.

Nga tonnaba kugula ttaka lyonna, kyandibadde kirungi n’osooka okola okunoonyereza okwekyama ku ttaka lino nga weeyambisa Abataka, abakulembeze b’ebyalo ne baliraanwa. Bwe liba ery’ekyapa, olina okugenda mu ofiisi y’omuwandiisi w’ebyettaka n’okebera nnannyini lyo omutuufu. Osasula mu bbanka 10,000/- . Oyinza n’okukeberera ku ssimu yo, kyokka kino kya bulabe kubanga ebyapa ebimu bifu.

EMITENDERA GY’OYITAMU ERYENSIKIRANO

Mannya ettaka ly’ogenda okugula.

  • Funa ebiwandiiko ebikwata ku ttaka lino okuva eri atunda okumanya obwannannyini okugeza endagaano, ekiraamo, ekyapa n’ebirala.
  • Bwe liba lya famire manya enteeseganya ezaasembayo mu nkiiko ezaatuula.
  • Lambula n’okumanya ensalo z’ettaka lino nga tonnasasula ssente.
  • Ssinga libeerako ennyumba, ebirime oba abasenze fuba okumanya ani abasasula bw’oba oliguze lyonna.

ERYOBWANNANNYINI

  • Twala obudde okulirambula n’okumanya byonna ebirikwatako.
  • Mannya nnannyini ttaka omutuufu n’ebimukwatako.
  • Funa ebiwandiiko ebikakasa obwannannyini ku ttaka lino okugeza ekyapa kyokeseemu, endagaano kwe yagulirako, ekiragiro kya kkooti ssinga liba litundibwa ku bukwakkulizo bwa kkooti. Weeyambise abakulembeze b’ekyalo n’Abataka okukakasa obwannannyini, obugazi n’ensalo.
  • Bwosanga enkulaakulana ku ttaka ly’oyagala okugula faayo okumanya nnannyini bintu ebiriko.
  • Kola obuwandiike osabe okunoonyereza ku kyapa ky’ettaka lyoyagala okugula mu ofiisi y’ebyettaka nga by’otolina kubuusa maaso mulimu bbulooka nnamba ne poloti nnamba.
  • Ssente z’okukola okunoonyereza kuno olina kuzisasula mu bbanka ne bakuwa lisiiti gy’otwala mu ofiisi y’akola ku nsonga z’ettaka mu kitundu ekyo.
 amuel tulage ngalaga be yaguza ettaka poloti yaabwe weeyita ku kyapa lina okuyita mu mitendera egyenjawulo okufuna ekyapa Samuel Ntulage ng’alaga be yaguza ettaka, poloti yaabwe weeyita ku kyapa. Olina okuyita mu mitendera egy’enjawulo okufuna ekyapa.
  • N’erya mayiro oyita mu nkola y’emu okuzuula ekituufu.

ABAKUGU MU BY’ETTAKA BATANGAAZIZZA

Samuel Ntulage owa Ba- Mukisa Property Consulatants abagula n’okutunda ettaka e Kyengera agamba nti omuntu yenna nga tannaba kugula ttaka alina okusooka okukola okunoonyereza.

  • Kikulu okusooka okugenda mu ofiisi ekola ku nsonga z’ettaka okuzuula oba ddala ekyapa gyekiri nga tonnasasula ssente zo.
  • Agamba nti Gavumenti ekoze kinene okutumbula obubbi bw’ettaka ng’eyita mu kuwa kkampuni ezitalina bisaanyizo olukusa okugula n’okutunda ettaka. lYawadde abantu amagezi okwegendereza abantu ne kkampuni ze bakolagana nazo okubafunira ettaka naddala abatalina ofiisi za nkalakkalira.
  • Era yalabudde abagula ettaka obutabuusa bakulembeze ba byalo n’Abataka amaaso kubanga be basinga okumanya ebitundu. Wadde abamu tebakyalina bwesigwa mu bakulembeze b’ebyalo olw’okwenyigira mu mivuyo gy’eby’ettaka, si kirungi kubabuusa maaso.
  • Ku ttaka ly’abooluganda olina okubamanya bonna n’okukakasa nti bakkirizza okutunda okwewala enkaayana. Ssinga ettaka lye batunda nnyini lyo yafa, faayo okumanya eyakwasibwa obuvunaanyizibwa okulirabirira.

BY’OLINA OKWEKENNEENYA KU KYAPA

  • Ntulage agamba nti ebintu ebitalina kubula ku kyapa kuliko: Block nnamba, Poloti nnamba, essaza, disitulikiti, obugazi, amakubo n’ebirala.

OMWOGEZI WA MINISITULE Y’EBY’ETTAKA

Omwogezi w’ekitongole ky’eby’ettaka mu ggwanga, Dennis Obbo, agamba nti ekibba ttaka ekyeyongedde mu ggwanga kivudde ku bakayungirizi (babbulooka) abakolera emirimu ku masimu.

  • Agamba nti olina okusasula 10,000/- mu bbanka onoonyereze ku kyapa mu ofiisi y’eby’ettaka mu kitundu kyo. Okkirizibwa okuweebwa fayiro yonna ne weekennenya ebirimu omuli emikono ku ndagaano n’obufaananyi wabula eky’obufaananyi kikola ku byapa ebyafuluma oluvannyuma lwa 2009.
  • Olumala okukakasa obutuufu bw’ekyapa, wandibadde osasulirawo ssente ekyapa ne kikyusibwa ne kidda mu mannya go oba okuteekako kaviyeti.
  • Teri muntu alina bukugu kukakasa bwannannyini bwa ttaka okuggyako omuwandiisi w’ebyapa (registrar) era nga kino kikolebwa omaze okuyita mu mitendera egiragiddwa waggulu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lob2 220x290

Omukuumi attiddwa n’asattiza ab’ebyokwerinda...

Omukuumi attiddwa n’asattiza ab’ebyokwerinda

Ndo1 220x290

Omusawo asimattuse okugajambulwa...

Omusawo asimattuse okugajambulwa

Gub1 220x290

Balwanidde tikiti z’Omutujju

Balwanidde tikiti z’Omutujju

Web3 220x290

Bobi, wasigazzaamu ku doola ompeeyo?...

Bobi, wasigazzaamu ku doola ompeeyo?

Tub1 220x290

Hoo...ataakulaba

Hoo...ataakulaba