TOP

Ebintu 6 kw’olabira bbulooka w’amayumba afera omupangisa

By Musasi wa Bukedde

Added 27th August 2017

ENNYUMBA ez’okupangisa nnyingi mu bitundu eby’enjawulo naye kyandikubeerera ekizibu ggwe anoonya ennyumba y’okupangisa okufuna gy’oyagala.

Img6470mrge8ug8jibj46h2txc2o5tmoh9pwaisseu7aodb98 703x422

Bya RONALD MUGENYI NE JOANITA NANGONZI

Kino kivuddeko babbulooka b’amayumba okugufuula omulimu nga kumpi buli kyalo kuliko ofi isi zaabwe. Wabula mu babbulooka mulimu abalungi n’abakola obufere ne banyaga abapangisa.

Emmanuel Zaake Bugembe ono nga y’omu ku babbukooka mu kitundu ky’e Bulaga annyonnyola obukodyo babbukooka abakyamu bwe bakozesa ne bafuna ssente mu bapangisa;

1 Babbulooka abamu bapaaza ebisale by’ennyumba ng’omupangisa bw’akkiriza banguwa mangu okutemya ku nnannyini nnyumba n’amusaba enjawulo ye oba okugigabana. Okugeza ennyumba bw’ebeera ya 200,000/- , weekanga bbulooka ayongeddemu 50,000/- nga zino azikima ewa nnannyini nnyumba buli mwezi oba engeri endala yonna gye bakkaanyizza.

2 Babbulooka olw’okwagala ssente tebafaayo kuwabula mupangisa ebizibu ebibeera ku nnyumba oba ekitundu mweri. Okugeza bayinza okukusasuza ennyumba ng’ebyokwerinda byawo si birungi.

3 Abalala ennyumba ne bwe zibeera ziyingiramu amazzi mu biseera by’enkuba, babbulooka abalulunkana okufuna ensimbi tebakulabula era bangi bakifunamu kuba omupangisa bw’akizuula ayinza okusenguka olwo ate ng’alina kufuniramu mupangisa omulala.

4 Waliwo babbulooka abamu abakolagana n’ababbi ng’olumala okusenga wayitawo akaseera katono ne bakuyingirira.

5 Babbulooka abamu bapanga abantu abalala abeefuula bannannyini mayumba era bwe mukkaanya n’osasula toddamu kubalabako. Bano batera okusaba ssente entono ko olwo omupangisa n’acamuka okusasula.

6 Bugembe agamba nti omupangisa alina kusooka kwetegereza bbulooka gw’aba agenda okukozesa okwewala abafere.

Agamba nti mulimu abasigala balambuza abaagala okupangisa ennyumba kyokka nga yatwalibwa dda olwo ng’agenderera kufuna ssente ayagala okupangisa z’asasula okumulaga anju ezipangisibwa oba ziyite eza ‘search fee’.

KY’OYINZA OKUKOLA OKWEWALA OKUFEREBWA

Ssentebe wa Bugabula 2 e Kawempe, Tom Makanga agamba nti ng’omuntu edda okufuna ennyumba ey’okupangisa yayitanga mu ssentebe w’ekyalo era ng’asooka kujja n’ebbaluwa eyavanga ku kyalo gy’abadde asula.

Charles Ssentongo omu ku bakolera ku kakiiko ka LC e Bulaga B agamba nti omupangisa yandifubyenga okwebuuza ku LC okumanya nnannyini nnyumba omutuufu, amateeka agaziriko oluusi ne bakuwabula ne ku bizibu ebiziriko.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

3f74e568a3684a1eac5d6d555644365318 220x290

Magufuli alagidde abaddukanya ekidyeri...

OMUWENDO gw’abantu abaafiiridde mu kidyeri mu nnyanja Nnalubaale gwongedde okulinnya! Pulezidenti wa Tanzania John...

Sevo 220x290

Ab'e Rubirizi basabye Museveni...

ABAKULEMBEZE b’omu disitulikiti y’e Rubiriizi basabye Pulezidenti Museveni okukoma ku bajaasi ba UPDF okukendeeza...

Budgetkasaijaweb 220x290

Bawera kusimbira kkuuli enteekateeka...

ABABAKA ku kakiiko ka palamenti akavunaanyizibwa ku byobulimi bawera kusimbira kkuuli enteekateeka z’okuyisa embalirira...

Kola 220x290

Mukolerere obukadde bwammwe - Minisita...

MINISITA omubeezi ow’ebyenguudo Gen. Edward Katumba Wamala akubirizza abantu okukolerera obukadde bwabwe nga bakyalina...

42312484102150760182472974931861717081653248n 220x290

Bobi Wine eby’okutulugunya abantu...

BOBI Wine ne banne eby’okubatulugunya babitutte mu kibiina ky’amawanga amagatte (UN ), era boongedde okukungaanya...