TOP

Ebitengi byankwata omubabiro

By Musasi wa Bukedde

Added 22nd October 2017

JOSERINE Wamala omutuuze w’e Buloba mukyala muzadde , yasoma byabusuubuzi e Makerere.

Pa 703x422

Mukyala mukozi ate yeerabirira ekimuyambye okulabika obulungi. Yannyonnyodde engeri gye yeerabirira n’entambuza y’emirimu gye n’amaka.

Ogabanya otya obudde bw’okukola, emirimu ne famire yo?

Nnina abaana bana ababiri basoma abalala mbalabirira bulungi wabula nnina omukozi annyambako okubalabirira okutuusa akawungeezi nga nnyinyuse ku mulimu.

Ndi mukyala musuubuzi ntunda mu dduuka erisangibwa e Bulaga ku Mwenda ku lwe Mityana. Ku mulimu mbeerayo okuva ku ssaawa 1:00 ku makya okutuuka ku ssaawa 4:00 ekiro.

Ku Ssande lwe nsinga okubeera n’abaana bange kubanga sikola mbeera nabo ne mbalabirira, ne mbabuulirira ne mbayigiriza n’emirimu nga tuvudde ku kkanisa.

Otambulako ddi nabo?

Abaana bange be bampa essanyu kubanga omwami wange Mukama yamutwala omwaka oguwedde era mbawa obudde ne mbatambuzaamu naddala ku Ssande akawungeezi, wabula okusingira ddala mu biseera by’oluwummula.

Olususu olulabirira otya?

Ndi mukyala ayagala ennyo okutambulira ku mulembe era sifuluma nnyumba nga sitaddeeko mekaapu ku ffeesi. Buli ku makya olumala okunaaba nsooka kwekolako nga sinnagenda ku mulimu .

Ndya nnyo ebibala ssaako enva endiirwa ebinnyambako okulabika obulungi. Neewala okweraliikirira era nfuba okulaba nga mbeera musanyufu ekinnyambye okulabika obulungi.

Enviiri ozirabirira ddi?

Bwemba nzisibye nzikyusa buli luvannyuma lwa mwezi. Ntera okusiba wiivu empanvu kubanga zinnyumira engeri gye nnina ffeesi empanvu.

Bwemba sisibye, nzitwala mu saluuni buli luvannyuma lwa nnaku ssatu ne bazikolako ne zirabika bulungi.

Misono ki egy’engoye ezisinga okukunyumira?

Njagala nnyo okwambala ebitengi naddala nga biwanvu kubanga bimpeesa ekitiibwa, binnyumira ate bimpa emirembe. Bino ntera kubigula mu Kampala.

Ate engatto?

Ntera okwambala engatto za fulaati kubanga zimpa emirembe, wabula bwemba n’omukolo nnyambala akakondo naye era nga si kawanvu nnyo.

Abaana bo wandyagadde babeere batya mu biseera eby’omu maaso?

Njagala nnyo babeere mu mbeera ennungi nga balina emirimu y’ensonga lwaki ηηenda kufuba nnyo okubaweerera babe abantu abobuvunaanyizibwa mu nsi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Det1 220x290

Jamil Mukulu asabye okweyimirirwa...

Jamil Mukulu asabye okweyimirirwa

Nom1 220x290

Poliisi etaddewo ebiragiro ebipya...

Poliisi etaddewo ebiragiro ebipya ku bidduka

Mathiaskatamba 220x290

Katamba alondeddwa ku bwassentebe...

Katamba alondeddwa ku bwassentebe bwa Uganda Bankers Association

Multi10 220x290

Aba Multiplex bazzeemu okukola...

Aba Multiplex bazzeemu okukola lisiiti ne zinyooka

Ken1 220x290

Sipiika alagidde ministry ya Foreign...

Sipiika alagidde ministry ya Foreign affairs okuyamba Kenzo akomewo eka